LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w09 12/15 lup. 3
  • Okyajjukira?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okyajjukira?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Laba Ebirala
  • Yakuwa Katonda Ayogera eri Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Yakuwa Yamuyita ‘Mukwano Gwe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 12/15 lup. 3

Okyajjukira?

Onyumiddwa okusoma magazini za Omunaala gw’Omukuumi ezaafulumizibwa gye buvuddeko awo? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

• Katonda ayinza kukugaggawaza mu ngeri ki?

Mu biseera by’edda, Yakuwa yawa omukisa abantu nga Ibulayimu ne Sulemaani ne bagaggawala. Naye obugagga Abakristaayo bwe basinga okwetaaga era Katonda bwayinza okubayamba okufuna mwe muli okukkiriza, emirembe, obumativu, n’essanyu.​—10/1, olupapula 12-15.

• Kiki kye tuyiga mu kuba nti Yesu yawonya Peetero okubbira mu nnyanja? (Mat. 14:28-31)

Bwe tulaba ow’oluganda ng’anafuye mu kukkiriza, mu ngeri ey’akabonero tusobola okugolola omukono gwaffe ne tumuyamba okunyweza okukkiriza kwe.​—9/15, olupapula 8.

• Buzibu ki Yakuwa bwe yayitamu okutununula?

Yakuwa yalina okugumira okulaba Omwana we ng’abonyaabonyezebwa era ng’avumibwa. Era Ibulayimu okuba nti yali mwetegefu okusaddaaka omwana we kiraga engeri Yakuwa gye yawuliramu ng’Omwana we attibwa ng’omumenyi w’amateeka.​—9/15, olupapula 28-29.

• Lwaki ekitabo ekiyitibwa Vatican Codex kya muwendo?

Kino kiwandiiko kya Luyonaani ekyawandiikibwa nga tewannayita myaka giwera 300 bukya Baibuli emalirizibwa. Kirimu kumpi Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya n’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byonna. Kye kimu ku bitabo abeekenneenya ba Baibuli bye bakozesa ennyo okumanyira ddala ekyali mu Byawandiikibwa ebyasooka.​—10/1-E, olupapula 18-20.

• Kiki kye tuyiga mu Engero 24:27?

Omusajja ayagala okuwasa alina okwetegekera obulungi obuvunaanyizibwa obwo. Kino kizingiramu okuba ng’asobola okulabirira ab’omu maka ge mu by’omubiri ne mu by’omwoyo.​—10/15, olupapula 12.

• Lwaki si kituufu kuyita Bajulirwa ba Yakuwa Bapolotesitante?

Eddiini z’Ekipolotesitante zatandikibwawo mu Bulaaya mu kyasa 16 okugezaako okutereeza eddiini y’Ekikatuliki. “Abapolotesitante” beebo abalina ekigendererwa eky’okuleetawo enkyukakyuka. Kituufu nti n’Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiriza nti ppaapa y’alina obuyinza ku nsi eno era Baibuli bagitwala nti ye nsibuko y’amazima. Naye waliwo ebintu bingi Abapolotesitante bye bayigiriza ne bye bakola bye batakkiriziganya nabyo olw’okuba bikontana ne Baibuli.​—11/1-E, olupapula 19.

• Okusobola okutegeera Baibuli omuntu alina okuyiga Olwebbulaniya n’Oluyonaani?

Nedda. Okumanya ennimi ezo ku bwakyo tekiyamba muntu kutegeera bubaka bwa Baibuli. Omuntu amanyi ennimi ezo aba akyetaaga okukozesa enkuluze n’ebitabo ebiziyigiriza. Okuba nti Yakuwa yakakasa nti ebigambo by’Omuweereza we omukulu bikuumibwa okuyitira mu kuvvuunulwa mu nnimi endala kiraga nti omuntu asobola okuyiga amazima okuva mu Baibuli eziri mu nnimi eziriwo leero.​—11/1-E, olupapula 20-23.

• Yakuwa ne Yesu baateekawo batya ekyokulabirako mu kuba n’empisa ennungi?

Wadde nga Yakuwa y’asingayo obuyinza, ayisa bulungi abantu era abawa ekitiibwa. Bwe yali ayogera ne Ibulayimu ne Musa yakozesa ekigambo ky’Olwebbulaniya ekiraga nti yali abasaba busabi mu kifo ky’okubalagira. (Lub. 13:14; Kuv. 4:6) Katonda awuliriza abantu. (Lub. 18:23-32) Yesu naye bw’atyo bwe yakola, era yali mwetegefu okuyamba abalala, nga bangi ku bo yabayitanga mannya gaabwe.​—11/15, olupapula 25.

• Lwaki Abakristaayo ab’amazima tebeenyigira mu bikujjuko by’omu Asiya eby’okukuza Omwaka Omuggya?

Okusinziira ku kalenda y’omu Asiya, omwaka gutandika wakati wa Jjanwali ne Febwali, era ab’omu Asiya bakitwala nga kikulu nnyo okugukuza. Kino kizingiramu okunoonya emikisa n’okuwa emyoyo ekitiibwa. Abakristaayo bawa bazadde baabwe ekitiibwa, naye tebeenyigira mu mikolo gyekuusa ku kusinza bafu oba kusanyusa bakatonda ab’obulimba.​—12/1-E, olupapula 20-23.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza