LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w02 7/1 lup. 30-31
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Laba Ebirala
  • Omukolo gw’Okuziika—Gwa Kitiibwa, Mutonotono, era Gusanyusa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 7/1 lup. 30-31

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Omuntu bwe yetta, kikkirizibwa omuweereza Omukristaayo okuwa emboozi ey’okuziika?

Buli muweereza Omukristaayo alina okwesalirawo obanga omuntu we ow’omunda anaasigala nga muyonjo oluvannyuma lw’okuwa emboozi ekwata ku kuziika omuntu eyesse. Bw’aba asalawo, alina okulowooza ku bibuuzo bino: Yakuwa atunuulira atya okwetta? Ddala omuntu oyo yesse mu bugenderevu? Kyandiba nga yabadde n’ekikyamu ku bwongo oba ku nneewulira ye ey’omunda, nga kye kyamuviiriddeko okwetta? Abantu ab’omu kitundu, batunuulira batya okwetta?

Ng’Abakristaayo, tufaayo ku ngeri Yakuwa gy’atunuuliramu okwetta. Yakuwa atwala obulamu okuba obw’omuwendo ennyo era obutukuvu. (Olubereberye 9:5; Zabbuli 36:9) N’olwekyo, okwetta kunyiiza Katonda. (Okuva 20:13; 1 Yokaana 3:15) Ekyo kitegeeza nti omuntu bwe yetta, kiba tekikkirizibwa kuwa mboozi ya kuziika.

Lowooza ku kyokulabirako kya Kabaka Sawulo owa Isiraeri. Sawulo bwe yakitegeera nti yali tagenda kuwona mu lutalo lwe olwasembayo ng’alwanyisa Abafirisuuti, mu kifo ky’okukkiriza abalabe be okumubonyaabonya, ‘yagwa ku kitala kye.’ Abafirisuuti bwe baazuula omulambo gwe, baagusiba ku buggwe w’ekibuga Besusani. Abantu b’e Yabesugireyaadi bwe baawulira ekyo Abafirisuuti kye baali bakoze, baggya omulambo gwa Sawulo ku buggwe ne bagwokya. Oluvannyuma baatwala amagumba ge ne bagaziika. Baasiiba n’okusiiba okumala ennaku musanvu, nga kano kaali kalombolombo ka kukungubaga mu buwangwa bwa Isiraeri. (1 Samwiri 31:4, 8-13; Olubereberye 50:10) Dawudi, Yakuwa gwe yafukako amafuta, bwe yategeera ab’e Yabesugireyaadi kye baali bakoze, yagamba: “Muweebwe Mukama omukisa, kubanga mwalaga mukama wammwe ekisa kino, ye Sawulo, ne mu muziika. Era nno Mukama abalagenga ekisa n’amazima.” (2 Samwiri 2:5, 6) Baibuli teraga nti ab’e Yabesugireyaadi baanenyezebwa olw’okukolera Kabaka Sawulo omukolo ogw’okuziika. Ekyo kigeraageranye n’abo abataaziikibwa olw’okuba baali bakoze ebibi. (Yeremiya 25:32, 33) Omuweereza Omukristaayo ayinza okulowooza ku ebyo ebikwata ku Sawulo mu kusalawo obanga asobola okuwa emboozi ekwata ku kuziika omuntu eyesse.

Omuweereza era alina okulowooza ku kigendererwa eky’okuwa emboozi ekwata ku kuziika. Obutafaananako n’abantu abakkiririza mu butafa bw’emmeeme, Abajulirwa ba Yakuwa bwe baba baziika, tebaba na ndowooza nkyamu egamba nti omufu agenze mu ttwale eddala. Ekigendererwa ekikulu eky’emboozi ekwata ku kuziika, si kwe kuyamba omuntu aba afudde, wabula kwe kubudaabuda abakungubaga n’okuwa obujulirwa obukwata ku mbeera y’abafu. (Omubuulizi 9:5, 10; 2 Abakkolinso 1:3-5) Ensonga endala enkulu ey’okuwa emboozi ekwata ku kuziika, kwe kuyamba abantu bonna ababeerawo okufumiitiriza ku ngeri obulamu gye buli obumpi. (Omubuulizi 7:2) Okuwa emboozi mu kuziika omuntu eyesse, kinaatuukiriza ebigendererwa ebyo?

Kyo kituufu nti, abamu bayinza okugamba nti omuntu yesse mu bugenderevu, ng’akimanyidde ddala bulungi nti ayonoona mu maaso ga Yakuwa. Naye waliwo engeri yonna gye tuyinza okukakasaamu ekyo? Kyandiba ng’ekirowoozo ky’okwetta, kyamugwiiridde bugwiizi? Abamu ku baba bagezaako okwetta, bakyusa endowooza yabwe ne batetta. Omuntu bw’amala okufa aba takyayinza kwenenya olw’ekyo ky’aba akoze.

Ekintu ekirala ekikulu ekisinga okuviirako abantu okwetta, kwe kuba n’ekikyamu ku bwongo ne ku nneewulira yaabwe ey’omunda. Abantu nga bano kiyinza okugambibwa nti besse mu butanwa. Okusinziira ku kunoonyereza okumu, abantu 90 ku buli 100 ku abo abetta, baba balina ekikyamu ku bwongo ne ku nneewulira yaabwe ey’omunda. Yakuwa alisonyiwa abantu abetta nga balina ekikyamu ku bwongo? Tetusobola kusalawo oba abantu abo baba bakoze ekibi ekitayinza kusonyiyibwa mu maaso ga Yakuwa. Omuweereza Omukristaayo ayinza okusooka okulowooza ku bibadde bikwata ku mbeera y’obulamu bw’omuntu eyesse okusobola okusalawo oba anaawa emboozi ekwata ku kuziika.

Waliwo ensonga endala erina okulowoozebwako: Abantu b’omu kitundu batunuulira batya okwetta? Kino kikulu nnyo naddala eri abakadde, abafaayo ennyo ku linnya ly’ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa mu kitundu. Okusinziira ku ngeri abantu b’omu kitundu gye batunuuliramu okwetta, naddala okw’omuntu oyo yennyini, abakadde bayinza okusalawo obutakkiriza kuwa mboozi ekwata ku kuziika mu lujjudde oba mu Kizimbe ky’Obwakabaka.

Kyokka, omuweereza Omukristaayo bw’aba asabiddwa okuwa emboozi ekwata ku kuziika, yandiwulira nti ayinza okukikola ku lulwe nga takiikirira kibiina. Bw’aba asazeewo okugiwa, alina okwegendereza n’atayogera nti omuntu oyo ayinza okuzuukira. Essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso eby’omuntu afudde, liri mu buyinza bwa Yakuwa, era tewali n’omu ayinza kugamba nti omuntu oyo ajja kuzuukizibwa oba nedda. Omuweereza ayinza okuteeka essira ku ebyo Baibuli byeyogera ku kufa era n’abudaabuda abafiirwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza