LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w02 7/1 lup. 31
  • Ekiseera eky’Okubikkula Ekyama

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ekiseera eky’Okubikkula Ekyama
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 7/1 lup. 31

Ekiseera eky’Okubikkula Ekyama

Okukuuma ensonga ezimu nga za kyama, oluusi kiyinza okuleetawo emirembe oba obutategeeragana. Naye, waliwo ekiseera eky’okubikkuliramu ekyama? Weetegereze nnabbi Amosi ky’ayogera ku Katonda we: “Mukama Katonda taliiko ky’alikola wabula ng’abikkulidde abaddu be bannabbi ekyama kye.” (Amosi 3:7) Waliwo kye tusobola okuyiga mu bigambo bino ekikwata ku kukuuma ebyama. Yakuwa asobola okukuuma ensonga ezimu nga za kyama okumala akabanga ate oluvannyuma n’azibikkulira abantu abamu. Tusobola tutya okukoppa Yakuwa mu kino?

Oluusi, abakadde mu kibiina Ekikristaayo, balaba nga kya muganyulo obutabikkula nsonga ezimu. (Ebikolwa 20:28) Ng’ekyokulabirako, olw’obulungi bw’ekibiina, bayinza okusalawo obutabikkula nsonga ezimu ezikwata ku nteekateeka z’ekibiina oba ezikwata ku nkyukakyuka ezikoleddwa mu buvunaanyizibwa obumu mu kibiina okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.

Kyokka, mu mbeera ng’eyo, kiba kirungi okutegeeza abo be kikwatako, ddi, era ne mu ngeri ki ensonga eyo lw’ejja okubikkulwa. Bwe bamanya ddi ensonga lw’ejja okubikkulibwa, kiyinza okubayamba okukuuma ebyama.​—Engero 25:9.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza