LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w00 8/1 lup. 26-31
  • “Amagezi Gaba n’Abeetoowaze”

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • “Amagezi Gaba n’Abeetoowaze”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Pawulo​—‘Omuweereza’ era ‘Omuwanika’
  • Okutunuulira Enkizo Zaffe n’Obwetoowaze
  • Gidiyoni​—‘Asingayo Okuba owa Wansi’ mu Nnyumba ya Kitaawe
  • Okwoleka Obwetoowaze n’Amagezi
  • Yesu​—Ekyokulabirako Ekisingayo Obulungi eky’Obwetoowaze
  • Koppa Ekyokulabirako kya Yesu eky’Obwetoowaze
  • Ensonga Lwaki Kikulu Okuba Omwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Osobola Okwoleka Obwetoowaze ne mu Mbeera Enzibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Abakadde Muyigire ku Gidiyoni
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Ba Mwetoowaze ng’Otambula ne Katonda Wo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 8/1 lup. 26-31

“Amagezi Gaba n’Abeetoowaze”

‘Kiki Yakuwa ky’akusaba wabula okubeera omwetoowaze ng’otambula ne Katonda wo?’​—MIKKA 6:8, NW.

1, 2. Obwetoowaze kye ki, era bwawukana butya ku kwetulinkiriza?

OMUTUME omututumufu agaana okwegulumiza. Omulamuzi omuvumu Omuisiraeri yeeyita asingayo okuba owa wansi mu nnyumba ya kitaawe. Omusajja eyali abaddewo eyasingayo okwatiikirira akkiriza nti talina buyinza bujjuvu. Buli omu ku basajja bano ayoleka obwetoowaze.

2 Obwetoowaze bwawukanira ddala ku kwetulinkiriza. Omuntu omwetoowaze amanyi ekkomo ly’obusobozi bwe n’omuwendo gwe era teyenyumiriza nnyo mu byatuuseeko. Mu kifo ky’okubeera ow’amalala, okwewaanawaana, oba okwegwanyiza ettuttumu, omuntu omwetoowaze amanyi ekkomo lye. Bwe kityo, assa ekitiibwa era n’afaayo ku nneewulira n’endowooza z’abalala.

3. Mu ngeri ki amagezi gye ‘gaba n’abeetoowaze’?

3 Ng’erina ensonga ennungi Baibuli egamba: ‘Amagezi gaba n’abeetoowaze.’ (Engero 11:2) Omuntu omwetoowaze aba wa magezi kubanga agoberera ekkubo Katonda ly’asiima, era yeewala omwoyo gw’okwetulinkiriza oguvaamu okufeebezebwa. (Engero 8:13; 1 Peetero 5:5) Amagezi agali mu bwetoowaze galabikira mu nneeyisa y’abaweereza ba Katonda abawerako. Ka twekenneenye ebyokulabirako bisatu ebyogeddwako mu katundu akatandika.

Pawulo​—‘Omuweereza’ era ‘Omuwanika’

4. Pawulo yalina nkizo ki ez’enjawulo?

4 Pawulo yali muntu mututumufu mu Bakristaayo abaasooka, era ekyo kitegeerekeka bulungi. Mu buweereza bwe, yatambula enkumi n’enkumi za mayiro ku nnyanja ne ku lukalu, era yatandikawo ebibiina bingi. Okugatta ku ekyo, Yakuwa yawa Pawulo okwolesebwa era n’ekirabo ky’okwogera mu nnimi engwira. (1 Abakkolinso 14:18; 2 Abakkolinso 12:1-5) Era yaluŋŋamya Pawulo okuwandiika ebbaluwa 14 kati eziri ekitundu ky’Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani. Kya lwatu, kiyinza okugambibwa nti okufuba kwa Pawulo kwasinga okw’abatume abalala bonna.​—1 Abakkolinso 15:10.

5. Pawulo yalaga atya nti yali mwetoowaze ?

5 Okuva Pawulo bwe yali awomye omutwe mu mulimu gw’Ekikristaayo, abamu bayinza okumusuubira okugulumizibwa, oba n’okwoleka obuyinza bwe. Kyokka si bwe kyali, kubanga Pawulo yali mwetoowaze. Yeeyita ‘asingayo okuba owa wansi mu batume,’ n’agattako: “Sisaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda.” (1 Abakkolinso 15:9, NW ) Ng’oyo eyayigganyako Abakristaayo, Pawulo teyeerabira nti yalina enkolagana ennungi ne Katonda era n’enkizo ey’obuweereza obw’enjawulo olw’ekisa ekitatusaanira. (Yokaana 6:44; Abaefeso 2:8) Bwe kityo, Pawulo teyakitwala nti bye yatuukako eby’enkukunala mu buweereza bya mufuula asinga abalala.​—1 Abakkolinso 9:16.

6. Pawulo yalaga atya obwetoowaze mu ngeri gye yakolaganamu n’Abakkolinso?

6 Obwetoowaze bwa Pawulo naddala bweyoleka mu ngeri gye yakolaganamu n’Abakkolinso. Kirabika, abamu baatendanga abo be baalowooza okubeera abalabirizi abatutumufu, nga mw’otwalidde Apolo, Keefa, ne Pawulo kennyini. (1 Abakkolinso 1:11-15) Naye Pawulo teyasaba Bakkolinso kumutendereza wadde okwenyumiriza olw’okuba baali bamutendereza. Bwe yabakyaliranga, teyabatuukirira “na maanyi mangi ag’ebigambo oba amagezi.” Wabula, Pawulo yayogera bw’ati ne banne: “Omuntu atulowoozenga bw’ati nga tuli baweereza ba Kristo era abawanika b’ebyama bya Katonda.”a​—1 Abakkolinso 2:1-5; 4:1.

7. Pawulo yayoleka atya obwetoowaze wadde ng’abuulirira?

7 Pawulo era yayoleka obwetoowaze ng’awa okubuulira okw’amaanyi n’obulagirizi. Yeegayirira Bakristaayo banne “olw’okusaasira kwa Katonda” era ‘olw’okwagala’ mu kifo ky’okwesigama ku buyinza bwe ng’omutume. (Abaruumi 12:1, 2; Firemooni 8, 9) Lwaki Pawulo yakola kino? Kubanga yeetwala okuba ‘akolera awamu’ ne baganda be so si ‘afuga okukkiriza kwabwe.’ (2 Abakkolinso 1:24) Awatali kubuusabuusa obwetoowaze bwa Pawulo bwe bw’amuleetera okwagalibwa ebibiina by’Ekikristaayo eby’omu kyasa ekyasooka.​—Ebikolwa 20:36-38.

Okutunuulira Enkizo Zaffe n’Obwetoowaze

8, 9. (a) Lwaki twandibadde beetoowaze? (b) Abo abalina obuvunaanyizibwa bayinza batya okwoleka obwetoowaze?

8 Pawulo yassaawo ekyokulabirako ekirungi eri Abakristaayo leero. Ka tube nga tukwasiddwa buvunaanyizibwa bwa ngeri ki, tewali n’omu ku ffe eyandirowoozezza nti asinga abalala. “Omuntu bwe yeerowoozanga okuba ekintu nga si kintu,” bw’atyo Pawulo bwe yawandiika, “nga yeerimbalimba.” (Abaggalatiya 6:3) Lwaki? Kubanga “bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” (Abaruumi 3:23, italiki zaffe; 5:12) Yee, tetwerabiranga nti fenna twasikira ekibi n’okufa okuva ku Adamu. Enkizo ez’enjawulo tezitugulumiza kuva mu mbeera yaffe eya wansi ey’ekibi. (Omubuulizi 9:2) Nga bwe kyali ku bikwata ku Pawulo, tufuna enkolagana ennungi ne Katonda era n’enkizo ey’okumuweereza olw’ekisa ekitatusaanira.​—Abaruumi 3:12, 24.

9 Ng’ategedde kino, omuntu omwetoowaze teyeenyumiriza mu nkizo ze wadde okwewaanawaana olw’ebyo by’atuuseeko. (1 Abakkolinso 4:7) Bw’aba awa abalala okubuulirira oba obulagirizi, akikola nga mukozi munnaabwe​—so si nga mukama waabwe. Mazima ddala, kyandibadde kikyamu oyo akola obulungi mu mulimu ogumu okusaba abalala okumutendereza oba okwenoonyeza ebibye olw’okuba bakkiriza banne bamutenda. (Engero 25:27; Matayo 6:2-4) Okutenderezebwa kwokka okw’omuwendo kwekwo okuva eri abalala​—era tekwandisabiddwa. Bwe tutenderezebwa, tekyandituleetedde kwerowoozaako kisukkiridde.​—Engero 27:2; Abaruumi 12:3.

10. Nnyonnyola engeri abamu abayinza okulabika nga aba wansi bwe bali ‘abagagga mu kukkiriza.’

10 Bwe tuweebwa obuvunaanyizibwa, obwetoowaze bujja kutuyamba okwewala okwerowoozaako ennyo, nga tukitwala nti ekibiina kiyimiriddewo olw’okufuba kwaffe n’obusobozi bwaffe. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okubeera n’ekitone ky’okuyigiriza. (Abaefeso 4:11, 12) Kyokka, mu bwetoowaaze tuteekwa okukitegeera nti ebimu ku bintu ebisingayo obulungi bye tuyiga mu nkuŋŋaana z’ekibiina tebitutegeezebwa kuva ku platifomu. Ng’ekyokulabirako, toddamu amaanyi bw’olaba omuzadde ali obwannamunigina ng’ajja mu Kingdom Hall n’abaana be obutayosa? Oba omuntu omwenyamivu ng’ajja mu nkuŋŋaana obutayosa wadde nga muli awulira nti talina mugaso? Oba omuvubuka akulaakulana mu by’omwoyo wadde ng’ayolekaganye n’embeera embi ku ssomero ne mu bifo ebirala? (Zabbuli 84:10) Abantu bano bayinza obutabeera mu bifo bya kitiibwa. Okugezesebwa eri obugolokofu bwabwe abalala bayinza obutakulaba. Kyokka, bayinza okuba ‘abagagga mu kukkiriza’ ng’abo abatutumufu. (Yakobo 2:5) Mu nkomerero, obwesigwa bwe buviirako okusiimibwa Yakuwa.​—Matayo 10:22; 1 Abakkolinso 4:2.

Gidiyoni​—‘Asingayo Okuba owa Wansi’ mu Nnyumba ya Kitaawe

11. Gidiyoni yalaga atya obwetoowaze mu ngeri gye yayogeramu ne malayika wa Katonda?

11 Gidiyoni, omuvubuka ow’amaanyi ow’ekika kya Manase, yaliwo mu kiseera ekizibu mu byafaayo bya Isiraeri. Okumala emyaka musanvu, abantu ba Katonda baabonaabona wansi w’okunyigirizibwa kw’Abamidiyaani. Kyokka, kati ekiseera kyali kituuse Yakuwa okununula abantu be. Bwe kityo, malayika yalabikira Gidiyoni n’amugamba: “Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow’amaanyi omuzira.” Gidiyoni yali mwetoowaze, n’olwekyo teyeenyumiriza nnyo olw’okusiimibwa mu ngeri eyo eyali tesuubirwa. Mu kifo ky’ekyo, yaddamu malayika ng’amussaamu ekitiibwa: “Mukama wange, oba nga Mukama ali wamu naffe, kale ekitubeesezzaako ebyo byonna kiki?” Malayika yatangaaza ku nsonga n’agamba Gidiyoni: ‘Ojja kulokola Isiraeri mu mukono gwa Midiyaani.’ Gidiyoni yaddamu atya? Mu kifo ky’okwanguwa okukkiriza obuvunaanyizibwa ng’ekyokusinziirako okufuuka omuntu omututumufu mu ggwanga, Gidiyoni yaddamu: “Ai Mukama wange, Isiraeri ndimulokolera ku ki? [L]aba, baganda bange be basinga okuba abaavu mu Manase, nange ndi muto [“asingayo okuba owa wansi,” NW ] mu nnyumba ya Kitange.” Nga bwali bwetoowaze bwa kitalo!​—Ekyabalamuzi 6:11-15.

12. Gidiyoni yakozesa atya amagezi mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe?

12 Nga tannasindika Gidiyoni mu lutalo, Yakuwa yamugezesa. Mu ngeri ki? Gidiyoni yagambibwa okumenya ekyoto kya kitaawe eri Baali era n’empagi za Asera ezaali okumpi nakyo. Omulimu guno gwali gwetaagisa obuvumu, naye era Gidiyoni yalaga obwetoowaze n’amagezi mu ngeri gye yagutuukirizaamu. Mu kifo ky’okugukola mu lujjudde, Gidiyoni yagukola kiro mu kiseera we batandimulabidde. Ate era, Gidiyoni yakola omulimu gwe n’obwegendereza. Yagenda n’abaweereza kkumi​—oboolyawo abamu babe nga bakuuma ng’ate abalala bamuyamba okuzikiriza ekyoto n’empagi za Asera.b Mu buli ngeri, awamu n’emikisa gya Yakuwa, Gidiyoni yatuukiriza omulimu gwe, era ekiseera bwe kyayitawo, Katonda yamukozesa okununula Isiraeri okuva ku Bamidiyaani.​—Ekyabalamuzi 6:25-27.

Okwoleka Obwetoowaze n’Amagezi

13, 14. (a) Tuyinza tutya okulaga obwetoowaze nga tuweereddwa enkizo y’obuweereza? (b) Ow’Oluganda A. H. Macmillan yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obwetoowaze?

13 Waliwo bingi bye tuyinza okuyiga okuva ku bwetoowaze bwa Gidiyoni. Ng’ekyokulabirako, tweyisa tutya bwe tuweebwa enkizo ey’obuweereza? Tusooka kulowooza ku ttutumu n’ekitiibwa ebinaavaamu? Oba n’obwetoowaze awamu n’okusaba tufumiitiriza obanga tunaatuukiriza obuvunaanyizibwa obwo? Ow’Oluganda A. H. Macmillan, eyamaliriza obulamu bwe obw’oku nsi mu 1966 yassaawo ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eno. C. T. Russell, prezidenti wa WatchTower Society eyasooka, lumu yasaba Ow’Oluganda Macmillan amuwe endowooza ye ku ani eyanditutte obuvunaanyizibwa nga taliiwo. Mu kukubaganya ebirowoozo okwaddirira, Ow’Oluganda Macmillan teyeeyogerako ng’eyandisobodde, wadde nga kyandibadde kisaanira okukola bw’atyo. Mu nkomerero, Ow’Oluganda Russell yagamba Ow’Oluganda Macmillan okulowooza ku kukkiriza obuvunaanyizibwa obwo. “Nasoberwa,” bw’atyo Ow’Oluganda Macmillan bwe yawandiika nga wayiseewo emyaka. “Nakirowoozaako nnyo, era ne nkiteeka mu kusaba nga sinnamugamba nti nnandisanyuse okukola kyonna okumuyamba.”

14 Ekiseera si kiwanvu oluvannyuma lw’ekyo, Ow’Oluganda Russell yafa, n’aleka ekifo kya prezidenti wa Watch Tower Society nga tekiriimu muntu. Okuva Ow’Oluganda Macmillan bwe yali addukanya ebintu mu kiseera ky’olugendo ly’okubuulira kw’Ow’Oluganda Russell okwasembayo, Ow’Oluganda omu yamugamba: “Mac, olina omukisa gwa maanyi okufuuka prezidenti. Ggwe wali okiikirira Ow’Oluganda Russell mu ngeri ey’enjawulo nga taliiwo, era yatugamba ffenna okukola nga bw’ogamba. Yagenda era n’atakomawo. Kirabika gwe musajja ajja okumuddira mu bigere.” Ow’Oluganda Macmillan yaddamu: “Ow’Oluganda, eyo si y’engeri y’okutunuuliramu ensonga eno. Guno mulimu gwa Mukama, era ekifo ky’ofuna mu ntegeka ya Mukama ky’ekyo Mukama ky’alaba ng’osaanira okuweebwa; era ndi mukakafu nti si nze musajja asaanira omulimu ogwo.” Awo Ow’Oluganda Macmillan n’asemba omuntu omulala okuweebwa ekifo ekyo. Okufaananako Gidiyoni, teyeerowoozaako ng’owa waggulu​—endowooza gye tulina okuba nayo.

15. Ngeri ki ezimu mwe tuyinza okukozesa amagezi nga tubuulira abalala?

15 Naffe twandibadde beetoowazze mu ngeri gye tutuukirizaamu emirimu gyaffe. Gidiyoni yakozesa amagezi, era n’agezaako obutanyiiza balabe be mu ngeri eteetaagisa. Mu ngeri y’emu, nga tuli mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira, twandibadde beetoowazze era ne tukozesa amagezi mu ngeri gye twogeramu n’abalala. Kyo kituufu, tuli mu lutalo lw’eby’omwoyo olw’okulwanyisa ‘ebintu ebyasimba amakanda’ ‘n’endowooza.’ (2 Abakkolinso 10:4, 5, NW ) Naye tetwandyogedde mu ngeri ennyooma abalala oba okukola ekintu kyonna ekiyinza okubaleetera okukyawa obubaka bwaffe. Mu kifo ky’ekyo, twanditadde ekitiibwa mu ndowooza zaabwe, ne tuggumiza bye tukkiriziganya nabo, ate ne tussa essira ku bintu ebizzaamu amaanyi eby’obubaka bwaffe.​—Ebikolwa 22:1-3; 1 Abakkolinso 9:22; Okubikkulirwa 21:4.

Yesu​—Ekyokulabirako Ekisingayo Obulungi eky’Obwetoowaze

16. Yesu yalaga atya nti teyeerowoozaako nnyo ?

16 Ekyokulabirako ekisingayo obulungi eky’obwetoowaze kye kya Yesu Kristo.c Wadde yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaawe, Yesu teyalonzalonza kukkiriza nti ensonga ezimu zaali zisukka obuyinza bwe. (Yokaana 1:14) Ng’ekyokulabirako, maama wa Yakobo ne Yokaana bwe yasaba nti batabani be ababiri batuule ne Yesu mu bwakabaka bwe, Yesu yaddamu: “Okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo, ne ku mukono ogwa kkono, si nze nkugaba.” (Matayo 20:20-23) Ku mulundi omulala, Yesu yakikkiriza nti: “Siyinza kukola kintu ku bwange . . . sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala.”​—Yokaana 5:30; 14:28; Abafiripi 2:5, 6.

17. Yesu yalaga atya obwetoowaze mu ngeri gye yakolaganamu n’abalala?

17 Yesu yali asinga abantu abatatuukiridde mu buli ngeri, era yalina obuyinza obusinga obw’abalala bonna obwava eri Kitaawe, Yakuwa. Wadde kyali kityo, Yesu yali mwetoowaze mu ngeri gye yakolaganamu n’abagoberezi be. Teyagezzaako kubawuniikiriza n’okumanya kwe yalina. Yabafaako, era mu ngeri ey’obusaasizi n’akola ku byetaago byabwe. (Matayo 15:32; 26:40, 41; Makko 6:31) Bwe kityo, wadde Yesu yali atuukiridde, teyasuubira balala kukola bintu mu ngeri etuukiridde. Teyasaba bayigirizwa be kukola ekyo kye baali batasobola, era teyabawa kukola ekyo kye baali batasobola kukola. (Yokaana 16:12) Tekyewuunyisa nti bangi baafuna ekiwummulo nga bali naye!​—Matayo 11:29.

Koppa Ekyokulabirako kya Yesu eky’Obwetoowaze

18, 19. Tuyinza tutya okukoppa obwetoowaze bwa Yesu (a) mu ngeri gye twerowoozaako, era (b) mu ngeri gye tuyisaamu abalala?

18 Bwe kiba nti omusajja eyasingayo okwatikirira eyali abaddewo yayoleka obwetoowaze, ate olwo ffe. Abantu abatatuukiridde emirundi mingi balwawo okukkiriza nti tebalina buyinza bujjuvu. Kyokka, nga bakoppa Yesu, Abakristaayo bafuba okubeera abeetoowaze. Amalala tegabalemesa kuwa buvunaanyizibwa abo abasaanira; era tebeekulumbaza wadde okugaana obulagirizi okuva eri abo abalina obuyinza okubuwa. Nga balaga omwoyo ogw’okukolagana n’abalala, baleka ebintu byonna mu kibiina ‘okutambula obulungi ate mu ngeri entegeke.’​—1 Abakkolinso 14:40, NW.

19 Era obwetoowaze bujja kutuleetera obutabeera bakakanyavu ku ekyo kye ­tusuubira mu balala era n’okufaayo ku byetaago byabwe. (Abafiripi 4:5) Tuyinza okubeera n’o­busobozi n’amaanyi abalala bye batalina. Kyokka, bwe tubeera abeetoowaze, tetujja buli kiseera kusuubira balala kukola nga bwe twagala bakole. Nga tukimanyi nti buli muntu alina ekkomo, mu bwetoowaze tujja kubikka ku bunafu bw’abalala. Peetero yawandiika: “Okusinga byonna nga mulina okwagalananga okungi ennyo mwekka na mwekka: kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.”​—1 Peetero 4:8.

20. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuvvuunuka engeri yonna ey’obutaba beetoowaze?

20 Nga bwe tuyize, amagezi mazima ddala gaba n’abeetoowaze. Kyokka, kiba kitya singa okisanga nti toli mwetoowaze oba nga weetulinkiriza? Toggwamu maanyi. Wabula, goberera ekyokulabirako kya Dawudi, eyasaba: “Okuva mu bikolwa eby’okwetulinkiriza ziyiza omuweereza wo; tobireka kunfuga.” (Zabbuli 19:13, NW ) Nga tukoppa okukkiriza kw’abasajja nga Pawulo, Gidiyoni, era​—n’okusinga bonna​—Yesu Kristo, tujja kulaba ffe kennyini amazima agali mu bigambo bino: ‘Amagezi gaba n’abeetoowaze.’​—Engero 11:2.

[Obugambo obuli wansi]

a Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa ‘abaweereza’ kiyinza okutegeeza omuddu eyakubanga enkasi ku mmeeri ennene. Okwawukana ku ekyo, “abawanika” baali bayinza okuweebwa obuvunaanyizibwa obusingawo, oboolyawo okulabirira ebintu. Wadde kyali kityo, abaalina obuyinza abasinga obungi omuwanika baamutwalanga okuba mu ssa lye limu n’omuddu ayakubanga enkasi ku mmeeri ennene.

b Obukujjukujju bwa Gidiyoni n’okwegendereza tebisaanidde kutwalibwa ng’obutiitiizi. Okwawukana ku ekyo, obuvumu bwe yalina bukakasibwa mu Abaebbulaniya 11:32-38, eziteeka Gidiyoni mu abo ‘abaaweebwa amaanyi’ era ne ‘bafuuka abazira mu ntalo.’

c Okuva obwetoowaze bwe butwaliramu okumanya ekkomo ly’omuntu, Yakuwa tayinza kwogerwako ng’omwetoowaze. Kyokka muwombeefu.​—Zabbuli 18:35.

Okyajjukira?

• Obwetoowaze kye ki?

• Tuyinza tutya okukoppa obwetoowaze bwa Pawulo?

• Kiki kye tuyinza okuyiga ku bwetoowaze okuva ku kyokulabirako kya Gidiyoni?

• Yesu yassaawo atya ekyokulabirako ekisingirayo ddala obulungi eky’obwetoowaze?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Obwetoowaze bwa Pawulo bw’aleetera Bakristaayo banne okumwagala

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Gidiyoni yakozesa amagezi mu kukola Katonda by’ayagala

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Yesu, Omwana wa Katonda, alaga obwetoowaze mu byonna by’akola

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza