LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w00 8/1 lup. 21-26
  • Okwetulinkiriza Kuvaamu Okufeebezebwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwetulinkiriza Kuvaamu Okufeebezebwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Koola​—Omujeemu ow’Obuggya
  • Ziyiza ‘Obuggya’
  • Abusaalomu​—Omuntu Eyeegwanyiza Ettuttumu
  • Weewale Okwegwanyiza Ettuttumu
  • Sawulo​—Kabaka Ataali Mugumiikiriza
  • Weekuume Obutaba Mugumiikiriza
  • Gondera Abo Katonda b’Awadde Obuyinza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Baajeemera Yakuwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yakuwa Akumanyi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • “Okugonda Kusinga Ssaddaaka Obulungi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 8/1 lup. 21-26

Okwetulinkiriza Kuvaamu Okufeebezebwa

“Okwetulinkiriza kuzze? Awo n’okufeebezebwa kunajja; naye amagezi gaba n’abeetoowaze.”​—ENGERO 11:2, NW.

1, 2. Okwetulinkiriza kye ki, era mu ngeri ki gye kuvuddemu akabi?

OMULEEVI akwatiddwa obuggya akulembera ekibinja ky’abajeemu ekiwakanya abo Yakuwa be yalonda. Omulangira ayeegwanyiza ettuttumu akola olukwe lw’okuwamba obufuzi bwa kitaawe. Kabaka atali mugumiikiriza anyooma ebiragiro bya nnabbi wa Katonda. Abaisiraeri bano bonsatule balina kye bafaananya: okwetulinkiriza.

2 Okwetulinkiriza ngeri y’omu mutima ey’akabi eri bonna. (Zabbuli 19:13) Omuntu eyetulinkiriza akola ekintu ekisukka obuyinza bwe nga talina lukusa. Emirundi mingi kino kivaamu akabi. Mu butuufu, okwetulinkiriza kusaanyizaawo bakabaka n’obwakabaka. (Yeremiya 50:29, 31, 32; Danyeri 5:20) Era kutwalirizza n’abaweereza ba Yakuwa abamu ne kibaviirako okugwa mu kabi.

3. Tuyinza tutya okuyiga ku kabi akava mu kwetulinkiriza?

3 Olw’ensonga ennungi Baibuli egamba: “Okwetulinkiriza kuzze? Awo n’okufeebezebwa kunajja; naye amagezi gaba n’abeetoowaze.” (Engero 11:2, NW ) Baibuli etuwa ebyokulabirako ebikakasa amazima agali mu lugero luno. Okwekkenneenya ebimu ku byo kijja kutuyamba okulaba akabi akali mu kusukka ekkomo lyaffe. N’olwekyo, ka twekenneenye engeri obuggya, okwegwanyiza ettuttumu, n’obutaba bagumiikiriza gye byaleetera abasajja abasatu aboogeddwako ku ntandikwa okwetulinkiriza, ne kibaviirako okufeebezebwa.

Koola​—Omujeemu ow’Obuggya

4. (a) Koola yali ani, era yenyigira mu bintu ki? (b) Mu myaka egy’oluvannyuma, kikolwa ki eky’akabi Koola kye yatandikawo?

4 Koola yali Muleevi Omukokasi, kizibwe wa Musa ne Alooni. Kirabika yali mwesigwa eri Yakuwa okumala amakumi g’emyaka. Koola yalina enkizo ey’okubeera mu abo abaawonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero ku Nnyanja Emmyufu, era kirabika yenyigira mu kutuukiriza omusango Yakuwa gwe yali asalidde Abaisiraeri abaali basinza akayana ku Lusozi Sinaayi. (Okuva 32:26) Kyokka, mu nkomerero, Koola yafuuka omukulembeze w’abaali bawakanya Musa ne Alooni abalimu Dasani, Abiraamu ne Oni okuva mu kika kya Lewubeeni, awamu n’Abaisiraeri abakulu b’ebika 250.a ‘Tubakooye,’ bwe batyo bwe bagamba Musa ne Alooni, “kubanga ekibiina kyonna kitukuvu, . . .  era Mukama ali mu bo: kale mwegulumiriza ki okusinga ekibiina kya Mukama?”​—Okubala 16:1-3.

5, 6. (a) Lwaki Koola yajeemera Musa ne Alooni? (b) Lwaki kiyinza okugambibwa nti Koola yanyooma ekifo kye mu nteekateeka ya Katonda?

5 Oluvannyuma lw’emyaka mingi nga mwesigwa, lwaki Koola yajeema? Mazima ddala obukulembeze bwa Musa ku Isiraeri bwali tebunyigiriza kubanga “yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna.” (Okubala 12:3) Kyokka, kirabika nti Koola yakwatirwa Musa ne Alooni obuggya era n’akyawa obukulu bwabwe, era kino kyamuviirako okwogera​—mu bukyamu​—nti nga baalina kye beenoonyeza, beegulumiza ku kibiina.​—Zabbuli 106:16.

6 Ekimu ku kizibu kya Koola kiyinza okuba nga teyasiima nkizo ye mu nteekateeka ya Katonda. Kyo kituufu nti Abakokasi Abaleevi tebaali bakabona, naye baali bayigiriza b’Amateeka ga Katonda. Era basitulanga ebibajje n’ebikozesebwa mu weema nga kyetaagisa okubitwala mu kifo ekirala. Omulimu ogwo gwali mukulu, kubanga ebikozesebwa ebitukuvu byali biyinza kukwatibwako abo bokka abaali abayonjo mu by’eddiini ne mu mpisa. (Isaaya 52:11) Bwe kityo, Musa bwe yatuukirira Koola, yali amubuuza, Omulimu gwo ogutwala ng’ekituntu ekitali kikulu olyoke anoonye obwakabona? (Okubala 16:9, 10) Koola yalemererwa okutegeera nti ekitiibwa ekisingirayo ddala kwe kuweereza Yakuwa n’obwesigwa okusinziira ku nteekateeka ye​—so si okufuna enkizo oba ekifo eky’enjawulo.​—Zabbuli 84:10.

7. (a) Musa yakola ki Koola n’abasajja be? (b) Obujeemu bwa Koola bwakomezebwa butya?

7 Musa yayita Koola n’abasajja be okukuŋŋaana enkeera mu weema ey’okusisinkaniramu nga balina ebyoterezo n’obubaane. Koola n’abasajja be tebaalina lukusa kwotereza bubaane okuva bwe bataali bakabona. Bwe bandizze n’ebyoterezo n’obubaane kyandiraze bulungi nti abasajja bano baali bakyalowooza nti bayinza okuweereza nga bakabona​—wadde nga baalina ekiro kyonna okufumiitiriza ku nsonga eyo. Bwe bajja enkeera, Yakuwa yayoleka obusungu bwe. Eri abo abaava mu kika kya Lewubeeni, ‘ensi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira.’ Abalala bonna, nga mw’otwalidde Koola, baazikirizibwa omuliro okuva eri Katonda. (Ekyamateeka 11:6; Okubala 16:16-35; 26:10) Koola okwetulinkiriza kyamuviiramu okufeebezebwa okusingirayo ddala​—obutasiimibwa Katonda!

Ziyiza ‘Obuggya’

8. ‘Obuggya’ buyinza butya okweyoleka mu Bakristaayo?

8 Ebyaliwo ebikwata ku Koola kulabula gye tuli. Okuva ‘obuggya’ bwe buli mu bantu abatatuukiridde, buyinza n’okweyoleka mu kibiina Ekikristaayo. (Yakobo 4:5) Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba nga tufaayo nnyo ku bifo. Okufaananako Koola, tuyinza okukwatirwa obuggya abo abalina enkizo ze twagala. Oba tuyinza okufuuka nga Diyotuleefe Omukristaayo ow’omu kyasa ekyasooka. Yali avumirira nnyo obuyinza bw’abatume, nga kirabika yali ayagala kubeera mu buyinza. Mazima ddala, Yokaana yawandiika nti Diyotuleefe ‘ayagala okubeera mu kifo ekisooka.’​—3 Yokaana 9, NW.

9. (a Ndowooza ki ku buvunaanyizibwa mu kibiina gye twetaaga okwewala? (b) Ndowooza ki entuufu gye twandibadde nayo ku kifo kyaffe mu nteekateeka ya Katonda?

9 Kya lwatu, si kikyamu omusajja Omukristaayo okuluubirira obuvunaanyizibwa mu kibiina. Pawulo yakubiriza okukola ekyo. (1 Timoseewo 3:1) Kyokka, tetuteekwa n’akamu kutwala nkizo z’obuweereza ng’ebifo eby’ettuttumu, gy’obeera nti bwe tubifuna, tuba tulina ekifo eky’ekitiibwa kye tutuuseeko. Jjukira nti Yesu yagamba: “Buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe.” (Matayo 20:26, 27) Kya lwatu, kyandibadde kikyamu okukwatirwa obuggya abo abalina obuvunaanyizibwa obusingawo, nga gy’obeera nti omuwendo gwaffe mu maaso ga Katonda gwesigamye ku “kifo” mu ntegeka ye. Yesu yagamba: “Mwenna muli ba luganda.” (Matayo 23:8) Yee, k’obeere mubuulizi oba payoniya, eyaakabatizibwa oba oyo akuumye obugolokofu okumala ekiseera ekiwanvu​—bonna abaweereza Yakuwa n’omutima gwonna balina ekifo eky’omuwendo mu nteekateeka ye. (Lukka 10:27; 12:6, 7; Abaggalatiya 3:28; Abaebbulaniya 6:10) Mazima ddala kirungi nnyo okukolera awamu n’obukadde n’obukadde bw’abo abagezaako okugoberera okubuulirira kw’omu Baibuli: “Mwesibenga obuwombeefu, okuweerezagananga mwekka na mwekka.”​—1 Peetero 5:5.

Abusaalomu​—Omuntu Eyeegwanyiza Ettuttumu

10. Abusaalomu yali ani, era yagezzaako atya okusiimibwa abo abajjanga eri kabaka okusalirwa omusango?

10 Obulamu bwa mutabani wa Dawudi ow’okusatu, Abusaalomu, bw’awa eky’okuyiga ku kwegwanyiza ettuttumu. Omuntu ono eyali yeenoonyeza ebibye yawaanawaananga abantu abajjanga eri kabaka okulamulibwa ng’anoonya okwagalibwa. Okusooka, yayagala abantu balowooze nti Dawudi yali tafaayo ku byetaago byabwe. Kati awo n’alyoka atuukira ddala ku nsonga. “Singa nze nfuuliddwa mulamuzi mu nsi,” bw’atyo Abusaalomu bwe yayogera, “buli muntu alina ensonga yonna oba musango ajjenga gye ndi, nange nandimukoledde eby’ensonga.” Enkwe za Abusaalomu tezaakoma awo. “Omuntu yenna bwe yasemberanga okumweyanza,” bw’etyo Baibuli bw’egamba, “n’agololanga omukono gwe n’amukwatako n’amunywegera. Awo bw’atyo Abusaalomu bwe yakolanga Isiraeri yenna abajjanga eri kabaka okusalirwa emisango.” Kiki ekyavaamu? “Abusaalomu n’abba bw’atyo emyoyo gy’abasajja ba Isiraeri.”​—2 Samwiri 15:1-6.

11. Abusaalomu yagezzaako atya okuwamba entebe ya Dawudi?

11 Abusaalomu yali mumalirivu okuwamba obufuzi bwa kitaawe. Emyaka etaano emabega, yatemuza Amoni, mutabani wa Dawudi asinga obukulu, mbu nga yeesasuza okukwatibwa kwa mwannyina Tamali. (2 Samwiri 13:28, 29) Kyokka, ne mu kiseera ekyo Abusaalomu ayinza okuba yali yeegwanyiza entebe y’Obwakabaka, ng’okuttibwa kwa Amoni ye yali engeri ey’okuggyawo eyali amuvuganya.b Mu buli ngeri, ekiseera bwe kyatuuka, Abusaalomu yateeka mu nkola kye yali ayagala. Yalangirira obufuzi bwe mu ggwanga lyonna.​—2 Samwiri 15:10.

12. Nnyonnyola engeri okwetulinkiriza kwa Abusaalomu gye kwavaamu okufeebezebwa.

12 Okumala ekiseera, Abusaalomu yatuuka ku buwanguzi, kubanga “okwekoba okwo ne kuba n’amaanyi; kubanga abantu beeyongerayongeranga bulijjo abaali ne Abusaalomu.” Ekiseera bwe kyayitawo, Kabaka Dawudi yawalirizibwa okudduka okuwonya obulamu bwe. (2 Samwiri 15:12-17) Kyokka, ekiruubirirwa kya Abusaalomu tekyatuukirira kubanga Yowaabu yamutta n’amusuula mu bunnya, n’amutuumako entuumo y’amayinja. Kiteebereze​—omusajja ono eyali yeegwanyiza ettuttumu ng’ayagala okufuuka kabaka teyaziikibwa!c Okwetulinkiriza mazima ddala kwaleetera Abusaalomu okufeebezebwa.​—2 Samwiri 18:9-17.

Weewale Okwegwanyiza Ettuttumu

13. Omwoyo ogw’okwegwanyiza ebintu guyinza gutya okusimba amakanda mu mutima gw’Omukristaayo?

13 Abusaalomu okulinnya mu buyinza ate oluvannyuma n’agwa kya kuyiga gye tuli. Mu nsi ya leero, kya bulijjo abantu okuwaanawaana bakama baabwe, nga baagala okusiimibwa gye bali basobole okufuna enkizo emu oba okukuzibwa. Mu kiseera kye kimu bayinza okusuubiza ababali wansi okubakolera ebintu ebimu, nga baagala okusiimibwa kwabwe oba obuwagizi. Bwe tutegendereza, omwoyo ng’ogwo ogw’okwegwanyiza ettuttumu guyinza okusimba amakanda mu mitima gyaffe. Kirabika kino kyaliwo mu bamu mu kyasa ekyasooka, ne kyetaagisa abatume okuwa okulabula okw’amaanyi ku balinga abo.​—Abaggalatiya 4:17; 3 Yokaana 9, 10.

14. Lwaki twandyewaze omwoyo gw’okwegwanyiza ettuttumu n’okwegulumiza?

14 Yakuwa talinaamu kifo mu ntegeka ye eky’abantu abeegwanyiza ettuttumu, abagezaako ‘okunoonya ekitiibwa ekyabwe ku bwabwe.’ (Engero 25:27) Mazima ddala, Baibuli erabula: “Mukama alimalawo emimwa gyonna eginyumiriza [“egiwaanawaana,” NW ] , n’olulimi olwogera ebikulu.” (Zabbuli 12:3) Abusaalomu yalina emimwa egiwaanawaana. Yayogera ebintu ebiwaanawaana abo be yali ayagala bamusiime​—ng’akola ebyo byonna okufuna ekifo oba obuyinza bye yali yeegomba. Okwawukana ku ekyo, nga tulina omukisa okubeera mu luganda olugoberera okubuulirira kwa Pawulo: “Temukolanga kintu kyonna olw’okuyomba newakubadde olw’ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka.”​—Abafiripi 2:3.

Sawulo​—Kabaka Ataali Mugumiikiriza

15. Ekiseera ekimu Sawulo yeeraga atya okubeera omwetoowaze?

15 Ekiseera ekimu, Sawulo, oluvannyuma eyafuuka kabaka wa Isiraeri, yali mwetoowaze. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku byaliwo mu myaka gye egy’obuvubuka. Nnabbi wa Katonda Samwiri bwe yamwogerako obulungi, Sawulo yaddamu mu bwetoowaze: “Nze siri Mubenyamini, ow’omu kika ekisinga obutono mu bika bya Isiraeri? [N]’ennyumba yange si ye esinga obutono mu nnyumba zonna ez’ekika kya Benyamini? [K]ale kiki ekikwogeza nange bw’otyo?”​—1 Samwiri 9:21.

16. Sawulo yayoleka atya omwoyo gw’obutabeera mugumiikiriza?

16 Kyokka, oluvannyuma, obwetoowaze bwa Sawulo bwaggwaawo. Nga balwana n’Abafirisuuti, yagenda e Girugaali, gye yali asuubirwa okulindirira Samwiri okujja yeegayirire Katonda awamu n’okuwaayo ekiweebwayo. Samwiri bw’atajja mu kiseera ekiragaane, Sawulo yeetulinkiriza n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ye kennyini. Bwe yali amaliririza, Samwiri n’atuuka. “Okoze ki” bw’atyo Samwiri bwe yabuuza. Sawulo yaddamu: “[N]nalabye ng’abantu basaasaanye nga banvaako so naawe nga tojja mu biro ebyateekebwawo  . . . Kyennavudde neegumiikiriza n’empaayo ­ekiweebwayo ekyokebwa.”​—1 Samwiri 13:8-12.

17. (a) Mu kusooka, lwaki ebikolwa bya Sawulo biyinza okulabika ng’ebyali bisaanira? (b) Lwaki Yakuwa yabonereza Sawulo olw’obutabeera mugumiikiriza?

17 Mu kusooka, ekyo Sawulo kye yakola kiyinza okulabika ng’ekyali kisaanira. Abantu ba Katonda ‘baali bubi’, ‘baali mu nnaku,’ era nga batidde nnyo olw’embera enzibu gye baalimu. (1 Samwiri 13:6, 7) Mazima ddala, tekiba kikyamu okubaako ky’okola ng’embeera ekyetaagisa.d Kyokka, jjukira nti Yakuwa ayinza okulaba ekiri mu mutima n’amanya ebiruubirirwa eby’omunda. (1 Samwiri 16:7) Bwe kityo, ateekwa okuba ng’alina bye yalaba mu Sawulo ebitaayogerwako mu Baibuli. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa ayinza okuba yalaba nti obutali bugumiikiriza bwa Sawulo bwasibuka ku malala. Oboolyawo Sawulo yanyiiga nnyo olw’okuba ye​—kabaka wa Isiraeri​—yalina okulindirira omuntu gwe yatwala okuba nnabbi omukadde alonzalonza! Mu buli ngeri, Sawulo yawulira nti okulwayo kwa Samwiri kwamuwa ebbeetu ye kennyini okukola ku nsonga n’okubuusa amaaso ebiragiro ebyamuweebwa. Ekyavaamu? Samwiri teyasiima ekyo Sawulo kye yakola. Okwawukana ku ekyo, yavumirira nnyo Sawulo, ng’agamba: “Obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera . . . kubanga tokutte ekyo Mukama kye yakulagira.” (1 Samwiri 13:13, 14) Era, okwetulinkiriza kwavaamu okufeebezebwa.

Weekuume Obutaba Mugumiikiriza

18, 19. (a) Nnyonnyola engeri obutali bugumiikiriza gye buyinza okuleetera omuweereza wa Katonda mu kiseeera kino okwetulinkiriza. (b) Kiki kye tusaanidde okujjukira ku nkola y’ekibiina Ekikristaayo?

18 Ekikolwa kya Sawulo eky’okwetulinkiriza kyawandiikibwa mu Kigambo kya Katonda okutuganyula ffe. (1 Abakkolinso 10:11) Kyangu nnyo ffe okunyiiga olw’obutali butuukirivu bwa baganda baffe. Okufaananako Sawulo, tuyinza okufuuka abatali bagumiikiriza, nga tukitwala nti singa ensonga tezikolwako bulungi, ffe tulina okubaako kye tukolawo. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti ow’olunganda mukugu mu nsonga ezimu ezikwata ku nteekateeka. Enteekateeka z’ekibiina zonna azituukiriza bulungi ate mu budde, era ng’alina ekirabo ky’okwogera n’okuyigiriza. Mu kiseera kye kimu n’alaba nti abalala tebatuuka ku mutindo gwe, era nga tebakola bulungi nga bwe yandyagadde. Kino kimuwa ebbeetu obutaba mugumiikiriza? Yandivumiridde baganda be, oboolyawo ng’akitwala nti singa tekwali kufuba kwe tewandibaddewo kikolebwa era nti ekibiina kyandigudde? Okwo kwandibadde kwetulinkiriza!

19 Mazima ddala, kiki ekireetera ekibiina ky’Abakristaayo okubeera obumu? Obumanyirivu mu bye ntegeka? Okukola obulungi ebintu? Okumanya okw’amaanyi? Kyo kituufu ebintu bino bya muganyulo eri entambula ennungi ey’ekibiina. (1 Abakkolinso 14:40; Abafiripi 3:16; 2 Peetero 3:18) Kyokka, Yesu yagamba nti abagoberezi be okusingira ddala bandimanyiddwa olw’okwagala kwabwe. (Yokaana 13:35) Eyo ye nsonga lwaki abakadde abafaayo, wadde baba n’enteekateeka ennungi, bakitegeera nti ekibiina tekitambulira ku nkola nkakali; wabula ekisibo ekyetaaga okulabirirwa obulungi. (Isaaya 32:1, 2; 40:11) Okwetulinkiriza ne weesamba emisingi ng’egyo kitera okuvaamu obutategeeragana. Okwawukana ku ekyo, enteekateeka ennungi erimu okutya Katonda evaamu emirembe.​—1 Abakkolinso 14:33; Abaggalatiya 6:16.

20. Kiki kijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?

20 Ebyogeddwa mu Baibuli ku Koola, Abusaalomu, ne Sawulo biraga bulungi nti okwetulinkiriza kuvaamu okufeebezebwa, nga bwe kiri mu Engero 11:2, (NW ). Kyokka, olunyiriri lwe lumu mu Baibuli lugattako: “Amagezi gaba n’abeetoowaze.” Obwetoowaze kye ki? Byakulabirako ki okuva mu Baibuli ebiyinza okutuyamba okutegeera engeri eno, era tuyinza tutya okulaga obwetoowaze leero? Ebibuuzo bino bijja kwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Okuva Lewubeeni bwe yali omuggulanda wa Yakobo, abazzukulu be abaabuzaabuzibwa Koola ne bajeema bayinza okuba tebaasanyuka olw’okuba Musa​—muzzukulu wa Leevi​—yabalinako obuyinza.

b Kireyaabu, mutabani wa Dawudi ow’okubiri, taddayo kwogerwako oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwe. Oboolyawo yafa nga Abusaalomu tannatandika bujeemu bwe.

c Mu biseera bya Baibuli okuziikibwa kw’omuntu afudde kyali kikolwa kikulu nnyo. Bwe kityo, obutaziikibwa kyali kibi nnyo era emirundi mingi kyatwalibwa ng’akabonero ak’obutasiimibwa Katonda.​—Yeremiya 25:32, 33.

d Ng’ekyokulabirako, Finekaasi, alina kye yakolawo amangu okuziyiza kawumpuli eyatta enkumi n’enkumi z’Abaisiraeri, era ne Dawudi yakubiriza abasajja be abaali balumwa enjala okumwegattako okulya emigaati egyali mu “nnyumba ya Katonda.” Tewali na kimu ku ebyo ekyavumirirwa Katonda ng’okwetulinkiriza.​—Matayo 12:2-4; Okubala 25:7-9; 1 Samwiri 21:1-6.

Okyajjukira?

• Okwetulinkiriza kye ki?

• Obuggya bw’aleetera butya Koola okwetulinkiriza?

• Kiki kye tuyiga ku bikwata ku Abusaalomu ayeegwanyiza ettuttumu?

• Tuyinza tutya okwewala omwoyo gw’obutabeera bagumiikiriza ogwayolesebwa Sawulo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Sawulo yafuuka atali mugumiikiriza ne yeetulinkiriza

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza