Ky’Osaanidde Okumanya ku Bulogo
OBULOGO obw’omu kiseera kyaffe buzibu okunnyonnyola. Kiri kityo kubanga ababwenyigiramu baawukana nnyo. Tebalina bukulembeze bubatwala oba enjigiriza oba ekitabo ekitukuvu ebigatta enzikiriza zaabwe. Era baawukana mu bulombolombo, entegeka, emikolo egigobererwa, era n’endowooza ku bakatonda ab’okussaamu ekitiibwa. Omuwandiisi omu agamba: “Obulogo buwa buli muntu endowooza nnyingi ez’okwerobozaamu.” Omuwandiisi omulala agamba: “Abakaafiiri abasinga obungi tebakkiriziganya kumpi ku buli kintu kyonna.”
Eri abantu bangi, okukontana kwe balina si kizibu kya maanyi. Ekitabo ekimu ekiwa obulagirizi abo abaagala okufuuka abalogo kigamba: “Bw’oyolekagana n’obubaka obulabika ng’obukontana, wekkaanye obubaka obwo era osalewo bw’oyagala okugoberera. Kozesa okutegeera kwo. Kwe kugamba, oli wa ddembe okweroboza mu mikolo egiri mu buwandiike n’ebitabo ebikwata ku mikolo olyoke osalewo ky’owulira ng’ekituufu.”
Eri abo abamanyi amazima bwe gandibadde, okukontana ng’okwo kizibu kya maanyi. Amazima gabeera ekintu ekikakafu, ekintu ekya nnamaddala. Ebintu tebiba bya mazima olw’okuba omuntu awulira oba asuubira oba akkiriza nti bya mazima. Ng’ekyokulabirako, emabega eyo abasawo bakkiriza nti basobola okuvumula lubyamira nga basalamu enkoko ennamu ebitundu bibiri ne bateeka ebitundu ebyo ku kifuba ky’omulwadde. Awatali kubuusabuusa, abalwadde bangi mu bwesimbu baalowooza nti enzijanjaba eno yandibawonyezza. Kyokka bye byali basuubira byali tebyesigamye ku mazima—enkola eyo tevumula lubyamira. Abantu si be bakola amazima; bafuba bufubi okugategeera.
Baibuli egamba nti erimu amazima agakwata ku nsonga z’eby’omwoyo. Yesu Kristo bwe yali ku nsi, yayogera bw’ati mu kusaba eri Kitaawe: “Ekigambo kyo ge mazima.” (Yokaana 17:17) Omutume Pawulo yawandiika: “Buli kyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda.” (2 Timoseewo 3:16) Bangi abenyigira mu bulogo ekyo tebakikkiriza. Mu kifo ky’ekyo, banoonya okuluŋŋamizibwa n’obulagirizi mu nfumo, eddiini ez’edda, ne sayansi ateeberezebwa. Kyokka, tekiba kya magezi okwekenneenya Baibuli ky’egamba? Anti etwalibwa kumpi abantu bonna ng’ekitabo ekitukuvu. Era kye kimu ku bitabo by’eddiini ekisingayo obukadde ekikyaliwo. Baibuli yawandiikibwa mu bbanga lya myaka 1,600, naye ekwatagana mu njigiriza zaayo zonna. Ka tugeraageranye enjigiriza za Baibuli n’ezimu ku nzikiriza abatumbula obulogo ze bakkiririzaamu.
Ani Abeera mu Ttwale ly’Emyoyo?
Ekibuuzo ekikulu mu kunoonya okutegeera okw’eby’omwoyo kye kino, Ani abeera mu ttwale ly’emyoyo? Wadde abalogo abasinga obungi ab’omu kiseera kino bagoberera enzikiriza eyeesigamiziddwa ennyo ku butonde era ey’okukkiririza mu bakatonda abangi, abamu basinza katonda omukazi, atwalibwa ng’alina ebifo bisatu, omuwala atali mufumbo, maama, era omukazi nnamukadde, ebikiikirira emitendera emikulu egy’obulamu. Muganzi we ye katonda alina amayembe. Abalogo abalala basinza katonda omusajja n’omukazi. Omuwandiisi omu agamba nti: Katonda Omukazi n’Omusajja“balabibwa ng’abooleka engeri z’omu butonde ez’ekikazi n’ez’ekisajja. Buli omu alina engeri ez’enjawulo ne kiba nti bwe zigattibwa awamu zivaamu okutondebwa kw’obulamu.” Omuwandiisi omulala awandiika bw’ati: “Ekimu ku bintu eby’okwerobozaamu ekisingayo obukulu mu Bulogo be bakatonda b’onoolondawo okukolagana nabo. . . . Obulogo bukuwa eddembe okulondawo era n’okuwa ekitiibwa bakatonda bo b’olonzeewo.”
Baibuli terina n’emu ku ndowooza zino gy’ewagira. Yesu Kristo yamala obuweereza bwe bwonna ng’ayigiriza abalala ku Yakuwa, “Katonda omu ow’amazima.” (Yokaana 17:3) Baibuli egamba: “Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo: era agwana okutiibwa okusinga bakatonda bonna. Kubanga bakatonda bonna ab’amawanga bye bifaananyi.”—1 Ebyomumirembe 16:25, 26.
Ate ye Omulyolyomi? Webster’s Ninth New Collegiate Dictionary ennyonnyola obulogo nga “okuwuliziganya n’omulyolyomi.” Kizibu okusanga omulogo leero akkiriziganya n’ennyinnyonnyola eno, kubanga bangi tebakkiriza nti Setaani Omulyolyomi gy’ali. Omukyala omu omuto, eyayogerwako mu The Irish Times nga “omulogo omukulu ennyo era omukulembeze w’ekimu ku bibiina by’abalogo ekisingayo obukulu mu Ireland,” agamba bw’ati: “Okukkiririza mu Mulyolyomi kitegeeza okukkiriza Obukristaayo . . . [Omulyolyomi] tayinza kubeera mu kifo omutali Katonda.”
Baibuli ekakasa nti Omulyolyomi gyali era n’egamba nti y’avunaanyizibwa eri okubonaabona n’obutabanguko ebiriwo ku nsi. (Okubikkulirwa 12:12) Yesu teyakoma ku kuyigiriza nti Omulyolyomi gyali naye era yalaga nti kyangu okukola Omulyolyomi by’ayagala mu butamanya. Ng’ekyokulabirako, abakulembeze b’eddiini abeetwala okubeera abatuukirivu mu kyasa ekyasooka baagamba nti baali baana ba Katonda era nga bakkiriza nti baali bakola Katonda by’ayagala. Yesu eyali asobola okutegeera ekiri mu mitima gyabwe yalina endowooza ndala. Yabagamba butereevu: “Muli ba kitammwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe.” (Yokaana 8:44) Ate era, ekitabo kya Baibuli ekya Okubikkulirwa kigamba nti Omulyolyomi ‘alimbalimba ensi yonna.’—Okubikkulirwa 12:9.
Obufuusa Obumu Bulungi?
Kya lwatu obufuusa, bulijjo bubadde bukwataganyizibwa n’obulogo.a Abantu bangi mu biseera eby’edda ne mu kiseera kino bakkiriza nti obufuusa bukolebwa abalogo okulumya abalala. Abalogo bagambibwa okuba n’amaanyi agayinza okuleetera omuntu obulumi obw’amaanyi n’okufa okuyitira mu bufuusa. Okutwalira awamu, abalogo bavunaaniddwa ebintu ebibi bingi, nga mw’otwalidde obulwadde, okufa, n’okulemererwa kw’ebimera.
Abalogo leero bagaana ebibavunaanibwa ebyo. Wadde bakkiriza nti waliwo abalogo abakola ebibi, abasinga bagamba nti obulogo bwabwe buleeta miganyulo so si kabi. Abalogo bayigiriza nti ebiva mu bulogo biddira ababwenyigiramu emirundi esatu era bagamba nti kino kye kisinga okubaziyiza okukola abalala akabi. Obulogo buno obuyitibwa obulungi butwaliramu eddogo ery’okwekuumisa, okulongoosa amaka go okugaggyamu emyoyo emibi egyalekebwamu abapangisa abaagirimu, okuleetera omuntu okukwagala, okuwonya obulwadde n’okufuna obulamu obulungi, okuziyiza okufiirwa omulimu gwo, n’okufuna ssente. Olw’okugamba nti obulogo busobola okukola ebintu ng’ebyo, tekyewuunyisa nti bufuuse buganzi.
Kyokka, Baibuli teyawulawo bulogo bulungi n’obubi. Mu Mateeka agaaweebwa Musa, Katonda yalaga bulungi ky’ayagala. Yagamba: “Temuloganga.” (Eby’Abaleevi 19:26, NW) Era tusoma: “Tewalabikanga gy’oli muntu yenna . . . alaguza ebire, newakubadde omulogo, newakubadde omuganga, newakubadde omusawo, newakubadde asamira omuzimu.”—Ekyamateeka 18:10, 11.
Lwaki Katonda yayogera bw’atyo? Si lwa kuba ayagala okutufiiriza eky’omuganyulo. Yakuwa yawa abantu be amateeka gano kubanga yali abaagala era nga tayagala bafuuke baddu b’okutya n’enzikiriza enkyamu. Mu kifo ky’ekyo, ayaniriza abaweereza be okumutuukirira okufuna ebintu bye beetaaga. Ye Mugabi ‘wa buli kirabo ekirungi n’ekitone ekituukirivu.’ (Yakobo 1:17) Omutume Yokaana yakakasa bakkiriza banne: “Era buli kye tusaba [Katonda] akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge.”—1 Yokaana 3:22.
Ate Kiri Kitya eri Emyoyo Emibi?
Abalogo bangi bakkiriziganya ne Baibuli ku nsonga eno: Emyoyo emibi gyegiri. Mu kiwandiiko ekimu omuntu awagira obulogo alabula: “Emyoyo gyegiri, mu nsi etalabika efaanana eyaffe, ejjudde ebitonde ebiramu. . . . Ebigambo ‘Dayimooni,’ ‘Omwoyo Omubi’ ne ‘Lubaale’ bituufu. Gya maanyi nnyo. . . . Ebisingayo obugezi . . . bisobola (singa omuntu abiggulirawo oluggi) okuyingira mu nsi yaffe. . . . Biyinza okuyingira omubiri gwo . . . , ne bikufuga. Yee, kibeerera ddala nga bwe kiri mu nfumo ez’edda ez’okukwatibwa Lubaale.”
Mu biseera bya Baibuli, okulumbibwa lubaale kyalumya abantu mu ngeri nnyingi. Abamu ku abo abaalumbibwa baalinga tebasobola kwogera, abamu bali bamuzibe, abamu beeyisa ng’abagudde eddalu, era abalala baalina amaanyi agasukka ku ga bulijjo. (Matayo 9:32; 12:22; 17:15, 18; Makko 5:2-5; Lukka 8:29; 9:42; 11:14; Ebikolwa 19:16) Emirundi egimu obulumi bweyongeranga balubaale bangi bwe baabeeranga ku muntu mu kiseera kye kimu. (Lukka 8:2, 30, NW) N’olwekyo, waliwo ensonga ennungi lwaki Yakuwa alabula abantu okwewala obulogo n’ebikolwa ebirala eby’obulogo.
Eddiini Eyeesigamiziddwa ku Mazima
Bangi basikirizibwa eri obulogo leero kubanga bulabika ng’obutaliimu kabi, obw’omuganyulo, eddiini ey’omu butonde. Mu bitundu ebimu bukkiriziddwa. Tebutiibwa. Mu kifo ky’ekyo, butera okutwalibwa ng’ekintu ekya bulijjo. Mu mbeera eriwo ey’okugumiikiriza amadiini era eviiriddeko n’abantu bangi okukkiririza mu bintu ebitali bya bulijjo, obulogo bufunye ekifaananyi eky’ekitiibwa.
Mazima ddala, amadiini gafuuse ng’akatale abantu mwe beeroboza eyo etuukana n’ebyetaago byabwe, ng’omuntu bwe yandiguze engatto. Okwawukana ku ekyo, Yesu yayogera ku by’okulondako bibiri byokka. Yagamba: “Muyingire mu mulyango omufunda: kubanga omulyango mugazi n’ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n’abo abayitamu bangi. Kubanga omulyango mufunda n’ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.” (Matayo 7:13, 14) Mu butonde, tulina eddembe okulonda ekkubo ery’okugoberera. Naye okuva obulamu bwaffe obw’olubeerera bwe bukwatibwako, okulondawo okwo kukulu nnyo. Okusobola okufuna okutegeera okw’eby’omwoyo, tuteekwa okunoonya ekkubo ery’amazima—ekkubo erisangibwa mu Kigambo kya Katonda, Baibuli.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu Lungereza, abamu bakozesa ekigambo “magick” okwawulawo wakati w’obulogo n’obufuusa obukolebwa bannakatemba. Laba Awake! aka Ssebutemba 8, 1993, olupapula 26, “Waliwo Akabi Konna mu Bufuusa?”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Bangi leero batwala obulogo ng’eddiini ey’omu butonde etaliimu kabi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Obufuusa bulijjo bubadde bukwataganyizibwa n’obulogo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Abenyigira mu bulogo bakola Omulyolyomi by’ayagala mu butamanya?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Baibuli ebikkula ekkubo ery’amazima