Kiki ky’Omanyi ku Bulogo?
OBULOGO! Ekigambo ekyo kireeta kifaananyi ki mu birowoozo byo?
Eri abantu bangi, kye kintu ekikwatagana n’okutya ebitamanyiddwa n’okuteebereza, ekintu ekitalina kutwalibwa ng’ekikulu. Gye bali, obulogo buteeberezebwa buteeberezebwa—bukwataganyizibwa n’abalogo abakadde abafuula abantu ebikere, abaseeyeeya mu bbanga ekiro nga bali ku muggo ng’ate eno bwe baseka.
Eri abalala, obulogo si kintu kya kuzannya. Abanoonyereza abamu bagamba nti abantu abasukka mu kimu kya kubiri ku bantu abali ku nsi bakkiriza nti abalogo we bali ddala era nti balina kye bayinza okukola ku bulamu bw’abalala. Obukadde n’obukadde bw’abantu bakkiriza nti obulogo bubi, bwa kabi, era nti bulina okutiibwa ennyo. Ng’ekyokulabirako, ekitabo ekikwata ku ddiini z’omu Afirika kigamba: “Okukkiririza mu kabi akali mu bulogo kwasimba amakanda mu bulamu bw’Abafirika . . . Abalogo be bantu abasingayo okukyayibwa mu bitundu byabwe. N’okutuuka mu kiseera kino, waliwo ebifo n’ebiseera bwe battiddwa abantu b’omu kitundu.”
Kyokka, mu nsi z’Ebugwanjuba, obulogo bufunye ekifaananyi ekippya eky’ekitiibwa. Ebitabo, ttivi, n’ebifaananyi by’oku ntimbe bikoze kinene nnyo mu kukendeeza okutya obulogo. David Davis, eyeekenneenya eby’amasanyu agamba: “Kaakati abalogo tebakyali bakadde era basikiriza okusingawo. Abakola ebifaananyi by’oku ntimbe mu Amereka banguwa okwetegereza ebyagalibwa. . . . Nga bafuula abalogo okubeera abantu abasikiriza era abaagalika, bayinza okusikiriza abantu bangi, nga mw’otwalidde abakazi n’abaana abato.” Abakola ebifaananyi eby’oku ntimbe mu Amereka bamanyi okufuula kyonna ekyagalibwa ekintu ekivaamu amagoba.
Abamu bagamba nti obulogo bufuuse ekimu ku nteekateeka z’eby’omwoyo ezikulaakulana amangu ennyo mu Amereka. Mu nsi ezaakula edda, abantu bangi, nga bakubirizibwa ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abakazi era nga beetamiddwa amadiini amanene, banoonya okukkusibwa mu by’omwoyo mu ngeri ezitali zimu ez’obulogo. Mu butuufu, engeri z’obulogo nnyingi nnyo ne kiba nti abantu tebakkiriziganya ku makulu g’ekigambo “omulogo.” Kyokka, abeeyita abalogo batera okukwataganyizibwa ne Wicca—ekinnyonnyolwa mu kitabo ekimu ekiwa amakulu g’ebigambo nga “eddiini ey’ekikaafiiri eyasibuka mu Bulaaya ow’ebugwanjuba ng’Obukristaayo tebunnabaawo era ezziddwa obuggya mu kyasa 20”a N’ekivuddemu, bangi era beeyita bakaafiiri.
Mu byafaayo byonna, abalogo bakyayiddwa, bayigganyiziddwa, batulugunyiziddwa, era battiddwa. N’olwekyo tekyewuunyisa nti abalogo ab’omu kiseera kyaffe baagala okulongoosa engeri gye balowoozebwako. Mu kunoonyereza okumu, abalogo bangi baabuuzibwa obubaka bwe baali baagala ennyo okuwa abantu. Kye baddamu, ekyawumbibwawumbibwako omunoonyereza Margot Alder, kyali: “Tetuli babi. Tetusinza Mulyolyomi. Tetukola kabi ku bantu oba okubasendasenda. Tetuli ba kabi. Tuli bantu ba bulijjo nga mmwe. Tulina amaka, emirimu, bye tusuubira ne bye twegomba. Tetuli kaddiiniddiini. Tetuli bantu ba njawulo. . . . Temusaanidde kututya. . . . Tubafaanana nnyo n’okusinga bwe mulowooza.”
Bangi beeyongedde okukkiriza obubaka obwo. Naye kino kitegeeza nti tetusaanidde kufaayo ku bikwata ku bulogo? Ka twekenneenye ekibuuzo ekyo mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekigambo ky’Olungereza ekikyusibwa “obulogo” kiva mu bigambo by’Olungereza olw’Edda “wicce” ne “wicca,” ebitegeeza abakazi n’abasajja abenyigira mu bulogo.