Oluyimba 150
Luubirira Okuweereza Awali Obwetaavu
Mu Kyapa
Wanula:
Luubirira ’kuweereza
Wonna ’wali obwetaavu.
’Ssanyu lyaffe lyeyongera
Bwe tuyamba abalala.
(CHORUS)
Weeweeyo; weereza
olw’okwagala.
Bw’oyamba ’balala, ofuna
essanyu lingi.
Tuyambeko mu nsi ’ndala,
Bwe wabaayo obwetaavu.
Okwagala tukwoleka
Nga tufuba ’kubayamba.
(CHORUS)
Weeweeyo; weereza
olw’okwagala.
Bw’oyamba ’balala, ofuna
essanyu lingi.
Bwe tuyiga olulimi
Olwogerwa abalala,
Kituyamba ’kubunyisa
’Mawulire amalungi.
(CHORUS)
Weeweeyo; weereza
olw’okwagala.
Bw’oyamba ’balala, ofuna
essanyu lingi.
(Era laba Yok. 4:35; Bik. 2:8; Bar. 10:14.)