LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • ijwbq ekitundu 166
  • Ddala Ssente Ye Nsibuko y’Ebibi Ebya Buli Ngeri?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ddala Ssente Ye Nsibuko y’Ebibi Ebya Buli Ngeri?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli ky’egamba
  • Bayibuli eyogera ki ku ssente?
  • Lwaki Bayibuli etulabula ku kwagala ssente?
  • Amagezi Bayibuli g’ewa ku ssente gayinza gatya okutuyamba?
  • Oyinza Otya Okuba n’Endowooza Entuufu Ekwata ku Ssente?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Okukozesa Obulungi Ssente
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Obulamu Bwo n’Essente—Kiki ky’Olondawo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Okukozesa Obulungi Ssente
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Laba Ebirara
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 166
Omusajja ng’akwata ssente ennyingi.

Ddala Ssente Ye Nsibuko y’Ebibi Ebya Buli Ngeri?

Bayibuli ky’egamba

Nedda. Bayibuli tegamba nti ssente mbi oba nti ssente ye nsibuko y’ebintu ebibi byonna. Ebigambo ebitera okwogerwa ebigamba nti “ssente ye nsibuko y’ebintu ebibi byonna” bigambo ebitaggibwayo byonna okuva mu Bayibuli era bibuzaabuza. Mu butuufu, Bayibuli egamba nti “okwagala ssente ye nsibuko y’ebibi ebya buli ngeri.”—1 Timoseewo 6:10, okuggumiza kwaffe.

  • Bayibuli eyogera ki ku ssente?

  • Lwaki Bayibuli etulabula ku kwagala ssente?

  • Amagezi Bayibuli g’ewa ku ssente gayinza gatya okutuyamba?

  • Ebyawandiikibwa ebyogera ku ssente

Bayibuli eyogera ki ku ssente?

Bayibuli eraga nti ssente bwe kikozesebwa obulungi zisobola okuba ez’omugaso era zisobola n’okuba ‘ez’obukuumi.’ (Omubuulizi 7:12) Okugatta ku ekyo, Bayibuli eraga nti kirungi okuba n’omwoyo omugabi, era ekyo kiyinza okuzingiramu okukozesa ssente okugulira abalala ebirabo.—Engero 11:25.

Mu kiseera kye kimu, Bayibuli etulabula ku kukulembeza ssente mu bulamu bwaffe. Egamba nti: “Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina.” (Abebbulaniya 13:5) Eky’okuyiga kiri nti tusaanidde okukozesa obulungi ssente era n’obutaluubirira bya bugagga. Ate era, tusaanidde okuba abamativu n’ebyetaago by’obulamu, gamba ng’emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula.—1 Timoseewo 6:8.

Lwaki Bayibuli etulabula ku kwagala ssente?

Abantu ab’omululu tebajja kufuna bulamu butaggwaawo. (Abeefeso 5:5) Ensonga emu eri nti, omululu kuba kusinza bifaananyi, oba okusinza okw’obulimba. (Abakkolosaayi 3:5) Ensonga endala eri nti, mu kugezaako kufuna bye beegomba, abantu ab’omululu tebatera kugoberera magezi malungi. Engero 28:20 wagamba nti: ‘Abo abaagala okugaggawala amangu tebaaleme kubaako kya kunenyezebwa.’ Bayinza n’okukola ebintu ebibi, gamba ng’okutiisatiisa abantu nga baagala okubaggyako ssente, obunyazi, obukumpanya, okuwamba abantu, oba okutta.

Ne bwe kiba nti okwagala ssente tekireetera muntu kwenyigira mu mpisa mbi, kusobola okuvaamu ebintu ebibi ebirala. Bayibuli egamba nti: “Abo abamaliridde okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego era batwalirizibwa okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi.”—1 Timoseewo 6:9.

Amagezi Bayibuli g’ewa ku ssente gayinza gatya okutuyamba?

Bwe tutakkiriza ssente kutulemesa kukola kituufu oba ebyo ebisanyusa Katonda, tujja kussibwamu ekitiibwa, tusiimibwe Katonda era tufune n’obuyambi bwe. Katonda asuubiza abo abafuba okumusanyusa nti: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.” (Abebbulaniya 13:5, 6) Ate era atukakasa nti, “omuntu omwesigwa anaafunanga emikisa mingi.”—Engero 28:20.

Ebyawandiikibwa ebyogera ku ssente

Omubuulizi 7:12: ‘Ssente za bukuumi.’

Kye kitegeeza: Ssente bwe zikozesebwa obulungi zisobola okuba ez’omugaso kubanga zisobola okutuwa obukuumi.

Lukka 12:15: “Omuntu ne bw’aba n’ebintu ebingi, ebintu ebingi by’aba nabyo si bye bimuwa obulamu.”

Kye kitegeeza: Ssente si kye kintu ekisinga obukulu mu bulamu bwaffe era tezisobola kutuyamba kufuna bulokozi.

1 Timoseewo 6:10: “Okwagala ssente ye nsibuko y’ebibi ebya buli ngeri era olw’okuzaagala abamu bakyamiziddwa ne bava mu kukkiriza ne beereetera obulumi bungi.”

Kye kitegeeza: Ssente ku bwazo si mbi. Naye abantu abaagala ssente, kwe kugamba, abakulembeza okunoonya ssente mu bulamu, beereetera ebizibu, gamba ng’amaka gaabwe okusasika era n’okufuna endwadde eziva mu kukola ekisukkiridde.

Abebbulaniya 13:5: “Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina.”

Kye kitegeeza: Mu kifo ky’okuluubirira eby’obugagga, tusaanidde okuba abamativu n’ebyo bye twetaaga mu bulamu.

Matayo 19:24: “Kyangu eŋŋamira okuyita mu katuli k’empiso okusinga omugagga okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.”

Kye kitegeeza: Yesu yali yaakamala okugamba omusajja omugagga okufuuka omugoberezi we. Omusajja yagaana, olw’okuba yali ayagala nnyo ebintu bye. N’olwekyo, Yesu yali awa okulabula. Omuntu akulembeza eby’obugagga mu kifo kya Katonda aba tajja kufuna bulamu butaggwaawo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza