ABAVUBUKA BABUUZA
Nnyinza Ntya Okukozesa Obulungi Ebiseera Byange?
Lwaki kikulu okukozesa obulungi ebiseera byo?
Ebiseera biringa ssente. Bw’obikozesa obubi, tojja kuba nabyo w’onooba obyetaagira. Ku luuyi olulala, bw’obikozesa obulungi, ojja kuba osobola n’okukola ebintu ebirala ebikunyumira!
Omusingi gwa Bayibuli: “Omugayaavu abaako ebintu bye yeegomba, naye tewali ky’alina, kyokka omunyiikivu afuna byonna by’ayagala.”—Engero 13:4.
Ky’olina okumanya: Okukozesa obulungi ebiseera byo tekikumalaako ddembe lyo.
Okuyiga okukozesa obulungi ebiseera byo kijja kukuyamba ne mu biseera eby’omu maaso. Kisobola n’okukuyamba okuba omukozi omulungi n’osigaza omulimu gwo. Lowooza ku kino: bw’oba olina bizineesi, wandyagadde okuba n’omukozi atuuka ekikeerezi ku mulimu?
Omusingi gwa Bayibuli: “Omuntu omwesigwa mu bintu ebitono, ne mu bingi aba mwesigwa.”—Lukka 16:10.
Ky’olina okumanya: Engeri gy’okozesaamu ebiseera byo, eraga ekyo ky’oli.
Kyokka okukozesa obulungi ebiseera si kyangu. Weetegereze ebimu ku ebyo ebiyinza okukifuula ekizibu okukozesa obulungi ebiseera.
Ekisooka: Emikwano
“Mikwano gyange bwe baŋŋamba tugende twesanyuseemu, nfuba okulaba nti mbeegattako, ne bwe mba nga nnina eby’okukola. Muli ŋŋamba nti, ‘nja kubikola nga nkomyewo.’ Kyokka oluusi nneesanga sibikoze.”—Cynthia.
Ekyokubiri: Ebiwugula
“Ttivi kikemo kya maanyi. Programu ezibeerako si kyangu kuzeewala.”—Ivy.
“Mmala essaawa nnyingi nga ndi ku tabbuleeti yange. Oluusi omuliro gumala kuggwaako ne ndyoka ngissa wansi.”—Marie.
Ekyokusatu: Obutakolera bintu mu budde
“Ntera okwongezaayo ekiseera we mba nnina okukolera waaka gwe bampa ku ssomero n’ebintu ebirala bye mba nnina okukola. Ebiseera byange mbimalira ku bintu ebitali bikulu ne nneesanga nga sirina budde bumala okukola bintu ebikulu.”—Beth.
Okukozesa obulungi ebiseera byo tekikumalaako ddembe lyo
By’oyinza okukola
Kola olukalala lw’ebyo by’olina okukola. Mu bino muyinza okuzingiramu emirimu gy’awaka n’ebyo ebikuweebwa ku ssomero. Teekako n’obudde bwe weetaaga okusobola okumaliriza buli mulimu gw’oba olina okukola mu wiiki.
Omusingi gwa Bayibuli: ‘Manya ebintu ebisinga obukulu.’—Abafiripi 1:10.
Wandiika ebintu bye wandyagadde okukola mu biseera byo eby’eddembe. Mu ebyo muyinza okuzingiramu okukozesa emikutu emigattabantu n’okulaba ttivi. Wandiika n’ebiseera by’onoomala ku buli kimu ku bintu ebyo.
Omusingi gwa Bayibuli: “Mweyisenga mu ngeri ey’amagezi . . . , nga mukozesa bulungi ebiseera byammwe.”—Abakkolosaayi 4:5.
Geraageranya. Ddamu weetegereze enkalala zombi z’okoze. Weebuuze: Ebintu ebikulu mbiwadde obudde obumala? Kyandiba nti nneetaaga okukendeeza ku budde bwe ntadde ku by’okwesanyusaamu?
Ekiyinza okukuyamba: Wandiika byonna by’olina okukola mu lunaku, era buli ky’omala okukola kisazeeko.
Omusingi gwa Bayibuli: “Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi.”—Engero 21:5.
Kolera ku ebyo by’osazeewo. Kyo kituufu nti, oluusi oyinza okusazaamu okugenda okwesanyusaamu ne mikwano gyo, osobole okufuna obudde okukola ebintu ebisinga obukulu. Wadde kiri kityo, ojja kukizuula nti olina obudde bungi okukola ebintu ebikunyumira.
Omusingi gwa Bayibuli: “Temuba bagayaavu, wabula mubeerenga bakozi banyiikivu.”—Abaruumi 12:11, obugambo obuli wansi.
Sooka omalirize by’okola. Omuvubuka ayitibwa Tara agamba nti: “Olumu bwe mba mmalirizza ebintu nga bibiri ku ebyo bye nnina okukola mu lunaku, ntera okugamba nti, ka nsooke ndabe ku ttivi okumala eddakiika nga 15, oluvannyuma nkomewo nkole.” Kyokka eddakiika 15 ziyinza okufuuka 30, era 30 ne zifuuka essaawa, ŋŋenda okwejjuukiriza nga mmaze essaawa bbiri ku ttivi!”
Ekyo oyinza kukyewala otya? Malirira Okusooka okumaliriza mirimu gyo, olyoke weesanyuseemu.
Omusingi gwa Bayibuli: “Eri omuntu, tewali kisinga . . . kweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira.”—Omubuulizi 2:24.