LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • ijwbq ekitundu 144
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Kwokya Emirambo?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bayibuli Eyogera Ki ku Kwokya Emirambo?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli ky’egamba
  • Endowooza enkyamu ezikwata ku kwokya emirambo
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Obadde Okimanyi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Tuliddamu Okulaba Abaafa?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 144
Omukebe ogulimu evvu lw’omufu nga guli kumpi n’ekifaananyi kye

Bayibuli Eyogera Ki ku Kwokya Emirambo?

Bayibuli ky’egamba

Bayibuli teyogera butereevu ku kwokya mirambo. Ate era Bayibuli teriimu tteeka liragira kuziika oba okwokya emirambo.

Bayibuli eyogera ku baweereza ba Katonda abaaziika abantu baabwe abaali bafudde. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu yatuuka n’okugula ekibanja eky’okuziikamu mukyala we Saala.—Olubereberye 23:2-20; 49:29-32.

Ate era Bayibuli eyogera ku baweereza ba Katonda abaayokya ebisigalira by’abantu baabwe abaafa. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Sawulo owa Isirayiri ne batabani be abasatu bwe baafiira mu lutalo, emirambo gyabwe gyasigala mu nsi y’abalabe baabwe, era baajijolonga. Abayisirayiri bwe baakitegeera, baagenda ne bagiggyayo ne bagyokya, era ne baziika evvu. (1 Samwiri 31:8-13) Bayibuli tevumirira ekyo kye baakola.—2 Samwiri 2:4-6.

Endowooza enkyamu ezikwata ku kwokya emirambo

Endowooza enkyamu: Okwokya omulambo kuba kugutyoboola.

Ekituufu: Bayibuli egamba nti omuntu bw’afa adda mu nfuufu, era ekyo kye kibaawo omulambo bwe guvunda. (Olubereberye 3:19) Okwokya omulambo ne gufuuka evvu, kigwanguya bwanguya okufuuka enfuufu.

Endowooza enkyamu: Emirambo gy’abantu abaali batakola Katonda by’ayagala gye gyayokebwanga.

Ekituufu: Emirambo gy’abantu abamu abataali beesigwa eri Katonda, gamba nga Akani n’ab’omu maka ge, gyayokebwa. (Yoswa 7:25) Kyokka ekyo kyaliwo lwa lumu, naye teryali tteeka. (Ekyamateeka 21:22, 23) Nga bwe tulabye, emirambo gy’abaweereza ba Katonda abamu, gamba ng’ogwa Yonasaani mutabani wa Kabaka Sawulo, gyayokebwa.

Endowooza enkyamu: Okwokya omulambo gw’omuntu kiremesa Katonda okumuzuukiza.

Ekituufu: Katonda asobola okuzuukiza omuntu, ka kibe nti omulambo gwe gwaziikibwa, gwayokebwa, gwabulira mu nnyanja, oba gwaliibwa ensolo. (Okubikkulirwa 20:13) Omuyinza w’Ebintu Byonna asobola bulungi okutondera omuntu omubiri omuggya.—1 Abakkolinso 15:35, 38.

Ebiyinza Okusinziirwako Okwokya Omulambo oba Okuguziika

Abantu bwe baba basalawo obanga banaayokya omulambo oba okuguziika, bayinza okulowooza ku nsonga zino.

  • Omugenzi kye yali ayagala. Bayibuli eyogera ku bantu abaakola ekyo omuntu kye yabagamba okukolera omulambo gwe ng’afudde.—Olubereberye 50:4, 5; Okuva 13:19.

  • Empisa z’omu kitundu. Empisa z’omu kitundu nazo zikwata ku kikolebwa omulambo gw’omuntu. (Yokaana 19:40) Ng’ekyokulabirako, mu biseera eby’edda abantu abasinga obungi baaziikanga abantu baabwe ng’empisa y’omu kitundu bwe yabanga. (Olubereberye 49:31; 1 Samwiri 28:3) Ne leero, omuntu ayinza okusalawo ky’anaakolera omulambo gw’omuntu we ng’agoberera empisa z’omu kitundu kasita ziba nga tezikontana na Bayibuli.

  • Amateeka kye gagamba. Bayibuli etukubiriza okugondera ab’obuyinza. (Abaruumi 13:1) Mu nsi ezimu, ab’obuyinza bassaawo amateeka ku birina okukolebwa ku mulambo gw’omuntu. Okugeza, bwe kiba nti kikkirizibwa okwokya omulambo, ab’obuyinza abamu basalawo ekifo evvu we lirina okuteekebwa.

  • Enneewulira y’abalala. Ebyawandiikibwa bitukubiriza okufaayo ku nneewulira y’abalala. (Abafiripi 2:4) Bwe tuba tusalawo kye tunaakolera omulambo gw’omuntu tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: Ab’eŋŋanda banaawulira batya bwe tunaayokya omulambo? Abantu b’omu kitundu banaakitwala batya?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza