LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • ijwbq ekitundu 126
  • Yesu Yali Afaanana Atya?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yesu Yali Afaanana Atya?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli ky’egamba
  • Endowooza enkyamu ku ngeri Yesu gye yali afaananamu
  • Yesu Yali Afaanana Atya?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Okumanya “Endowooza ya Kristo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Yesu Kristo Ebibuuzo Ebimukwatako Biddibwamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Laba Ebirara
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 126
Ekifaananyi kya Yesu

Yesu Yali Afaanana Atya?

Bayibuli ky’egamba

Tewali amanyidde ddala ngeri Yesu gye yali afaananamu, okuva bwe kiri nti Bayibuli tennyonnyola ngeri gye yali afaananamu. Ekyo kiraga nti engeri Yesu gye yali afaananamu si kye kikulu. Kyokka Bayibuli etuyamba okumanya engeri Yesu gy’ayinza okuba nga yali afaananamu.

  • Enfaanana ye: Yesu yali Muyudaaya, era ayinza okuba nga yalina ebintu bye yali afaanaganya ne maama we. (Abebbulaniya 7:14) Endabika ye eyinza okuba nga teyali ya njawulo nnyo ku y’abantu abalala. Lumu yasobola okuva e Ggaliraaya n’agenda e Yerusaalemi mu kyama ng’abantu tebamutegedde. (Yokaana 7:10, 11) Ate era ayinza okuba nga yali talabika nga wa njawulo nnyo ku bayigirizwa be abaali ab’oku lusegere. Kijjukire nti Yuda Isukalyoti bwe yajja n’abantu abaali bazze okukwata Yesu nga bakutte ebitala, yalina okubawa akabonero kwe banditegeeredde Yesu.​—Matayo 26:47-49.

  • Obuwanvu bw’enviiri ze: Yesu tayinza kuba nga yalina enviiri empanvu, kubanga Bayibuli egamba nti: “Omusajja aswala bw’aba n’enviiri empanvu.”​—1 Abakkolinso 11:14.

  • Ebirevu: Yesu yalina ebirevu. Yali agoberera etteeka ly’Abayudaaya eryali ligamba abasajja ‘obutasala birevu byabwe.’ (Eby’Abaleevi 19:27; Abaggalatiya 4:4) Ate era Bayibuli eyogera ku birevu bya Yesu mu bunnabbi obwali bulaga engeri gye yandibonyaabonyezeddwamu.​—Isaaya 50:6.

  • Omubiri gwe: Ebyawandiikibwa biraga nti Yesu yali musajja wa maanyi. Mu buweereza bwe ku nsi, yatambulanga eŋŋendo empanvu. (Matayo 9:35) Yalongoosa yeekaalu emirundi ebiri, yavuunika emmeeza z’abo abaali bavungisa ssente, era lumu yagoba ebisolo bye baali batundira mu yeekaalu ng’akozesa embooko. (Lukka 19:45, 46; Yokaana 2:14, 15) Ekitabo Cyclopedia ekyawandiikibwa McClintock ne Strong kigamba nti: “Ebitabo by’Enjiri biraga nti Yesu yali musajja wa maanyi era nga mulamu bulungi.”​—Omuzingo IV, olupapula 884.

  • Endabika ye ey’oku maaso: Yesu yali wa kisa, era ekyo kiteekwa okuba nga kyeyolekeranga ku ndabika ye ey’oku maaso. (Matayo 11:28, 29) Abantu aba buli ngeri baagendanga gy’ali okubayamba n’okubabudaabuda. (Lukka 5:12, 13; 7:37, 38) N’abaana abato tebaatyanga kubeera w’ali.​—Matayo 19:13-15; Makko 9:35-37.

Endowooza enkyamu ku ngeri Yesu gye yali afaananamu

Endowooza enkyamu: Abamu bagamba nti Yesu ayinza okuba nga yali asibuka mu Afirika, kubanga ekitabo ky’Okubikkulirwa kigeraageranya enviiri ze ku byoya by’endiga era n’ebigere bye ku ‘kikomo ekirungi.’​—Okubikkulirwa 1:14, 15.

Ekituufu: Ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa byogerwako mu ngeri ya ‘kabonero.’ (Okubikkulirwa 1:1) Enviiri za Yesu n’ebigere bye byogerwako mu ngeri ya kabonero okulaga engeri ze oluvannyuma lw’okuzuukizibwa, so si kulaga ngeri gye yali afaananamu ng’ali ku nsi. Okubikkulirwa 1:14 bwe wagamba nti ‘omutwe gwa Yesu n’enviiri ze byali byeru ng’ebyoya by’endiga ebyeru, era nti byali byeru ng’omuzira,’ waba woogera ku langi ya nviiri za Yesu, so si ngeri gye zaali zaakulamu. Enviiri enjeru zikiikirira amagezi g’alina olw’emyaka emingi gy’amaze nga waali. (Okubikkulirwa 3:14) Olunyiriri olwo terulaga nti enviiri za Yesu zaali zaakula ng’ebyoya by’endiga oba ng’omuzira.

‘Ebigere bya Yesu byali ng’ekikomo ekirungi ekyakaayakana mu kyoto mwe basaanuusiza ebyuma.’ (Okubikkulirwa 1:15) Ate era obwenyi bwe bwali “ng’enjuba eyaka ennyo.” (Okubikkulirwa 1:16) Okuva bwe kiri nti tewali ggwanga lirina bantu bafaanana batyo, okwolesebwa okwo kwa kabonero era kukwata ku Yesu eyazuukizibwa, oyo “abeera mu kitangaala ekitasemberekeka.”​—1 Timoseewo 6:16.

Endowooza enkyamu: Yesu teyali muntu wa maanyi.

Ekituufu: Yesu yali musajja wa maanyi. Ng’ekyokulabirako, yayogera n’obuvumu nga yeeyoleka eri abo abaali bazze okumukwata. (Yokaana 18:4-8) Ate era Yesu ateekwa okuba nga yali musajja wa maanyi okusobola okukola ng’omubazzi, ng’akozesa eby’okubajjisa bye baakozesanga mu kiseera ekyo.​—Makko 6:3.

Kati olwo, lwaki baayamba Yesu okumusitulirako omuti kwe yakomererwa? Era lwaki ye yasooka abo abaakomererwa naye okufa? (Lukka 23:26; Yokaana 19:31-33) Nga Yesu tannattibwa, omubiri gwe gwali gunafuye nnyo. Yali teyeebase kiro kyonna olw’ennaku gye yalina ku mutima. (Lukka 22:42-44) Ekiro Abayudaaya baali bamubonyaabonyezza nnyo, ate ku makya Abaruumi nabo ne bamutulugunya. (Matayo 26:67, 68; Yokaana 19:1-3) Ebyo byonna biyinza okuba nga bye byamuviirako okufa amangu.

Endowooza enkyamu: Yesu yabanga munakuwavu buli kiseera.

Ekituufu: Yesu yayoleka engeri za Kitaawe ow’omu ggulu, Yakuwa, Bayibuli gw’eyogerako nga “Katonda omusanyufu.” (1 Timoseewo 1:11; Yokaana 14:9) Mu butuufu, Yesu yayigiriza abalala engeri y’okufunamu essanyu. (Matayo 5:3-9; Lukka 11:28) Ekyo kiraga nti Yesu yabanga musanyufu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza