LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • ijwbq ekitundu 68
  • Baani Abagenda Emagombe?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Baani Abagenda Emagombe?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli ky’egamba
  • Amagombe Kye Ki? Ddala Kifo Abantu Gye Babonyaabonyezebwa Emirembe Gyonna?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Ekintu Bangi Kye Bakkiririzaamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Okutegeera Ekituufu ku Muliro Ogutazikira Kikukwatako Kitya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 68

Baani Abagenda Emagombe?

Bayibuli ky’egamba

Ebigambo “Sheol” ne “Hades” ebiri mu nnimi ezaakozesebwa nga Bayibuli ewandiikibwa, bitegeeza magombe, so si kifo abantu bye babonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira. Baani abagenda emagombe? Abantu abalungi n’ababi bonna bagenda emagombe. (Yobu 14:13; Zabbuli 9:​17) Bayibuli egamba nti amagombe ye “nnyumba abantu bonna abalamu gye balisisinkana.”​—⁠Yobu 30:23.

e Yesu bwe yafa, yagenda emagombe. Kyokka ye “teyalekebwa magombe,” kubanga Katonda yamuzuukiza.​—⁠Ebikolwa 2:​31, 32.

Amagombe ganaabeerawo emirembe gyonna?

Abo bonna abali emagombe Yesu ajja kubazuukiza baddemu babe balamu ng’akozesa amaanyi Katonda ge yamuwa. (Yokaana 5:​28, 29; Ebikolwa 24:15) Nga bwogera ku kuzuukira okujja okubaawo mu biseera eby’omu maaso, obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa 20:13 bugamba nti, “okufa n’amagombe ne bireeta abafu ababirimu.” Abafu abali emagombe bwe balimala okuzuukizibwa, amagombe gajja kuba tegakyaliwo. Ate era, tewali n’omu ajja kuddamu kugenda magombe kubanga “okufa tekulibaawo nate.”​—⁠Okubikkulirwa 21:​3, 4; 20:14.

Kyokka, si buli muntu afa nti agenda magombe. Bayibuli eraga nti abantu abamu bafuuka babi nnyo ne kiba nti tebasobola kukyusa nneeyisa yaabwe. (Abebbulaniya 10:26, 27) Abantu ng’abo bwe bafa, tebagenda magombe, wabula bagenda mu Ggeyeena. Ggeyeena kirina amakulu ga kabonero, era kitegeeza okufa awatali ssuubi lya kuzuukira. (Matayo 5:​29, 30) Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba nti abakulembeze b’amadiini bannanfuusi abaaliwo mu kiseera kye baali ba kugenda mu Ggeyeena.​—⁠Matayo 23:27-​33.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza