LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • ijwbq ekitundu 60
  • Okutya Okufa​—Oyinza Otya Okukuvvuunuka?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okutya Okufa​—Oyinza Otya Okukuvvuunuka?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli ky’egamba
  • Kulaakulanya Omutima Ogutya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Okwekkenneenya Endowooza Enkyamu Ezikwata ku Kufa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Tyanga Yakuwa era Okwatenga Ebiragiro Bye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Amazima Agakwata ku Mmeeme Nsonga Nkulu
    Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 60

Okutya Okufa​—Oyinza Otya Okukuvvuunuka?

Bayibuli ky’egamba

Tutya okufa kubanga okufa mulabe waffe, era tukola kyonna ekisoboka okukwewala. (1 Abakkolinso 15:26) Kyokka, abantu bangi batya nnyo okufa olw’enfumo n’enjigiriza ez’obulimba ne baba ‘baddu obulamu bwabwe bwonna.’ (Abebbulaniya 2:​15) Okumanya amazima kijja kukuyamba obutatya nnyo kufa, kubanga okutya ennyo okufa kiyinza okukumalako eddembe n’otanyumirwa bulamu.​—Yokaana 8:​32.

Amazima agakwata ku kufa

  • Abafu tebaliiko kye bamanyi. (Zabbuli 146:4) Tosaanidde kutya nti bw’onoofa ojja kuwulira obulumi oba nti ojja kwokebwa mu muliro ogutazikira, kubanga Bayibuli egeraageranya okufa ku kwebaka.​—Zabbuli 13:3; Yokaana 11:11-​14.

  • Abafu tebasobola kututuusaako kabi. N’abo abaali abalabe baffe lukulwe baafa; tebakyali balamu. “Tebakyalina maanyi.” (Isaaya 26:14) Bayibuli egamba nti “okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe, n’obuggya bwabwe, byaggwaawo.”​—Omubuulizi 9:6.

  • Okufa si ye nkomerero y’obulamu bwaffe. Katonda ajja kuzuukiza abantu abaafa baddemu okubeera abalamu.​—Yokaana 5:​28, 29; Ebikolwa 24:15.

  • Katonda asuubiza ekiseera ‘okufa lwe kutalibaawo nate.’ (Okubikkulirwa 21:4) Bayibuli bw’eba eyogera ku kiseera ekyo, egamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna,” babe nga tebakyatiira ddala kufa.​—Zabbuli 37:29.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza