LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • ijwfq ekitundu 18
  • Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakuza Ssekukkulu?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakuza Ssekukkulu?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Endowooza enkyamu abantu ze balina
  • Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakuza Ssekukkulu?
  • Lwaki mulemera ku ky’obutakuza Ssekukkulu?
  • Abakristaayo Basaanidde Okukuza Ssekukkulu?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza
ijwfq ekitundu 18
Abazadde nga boogera ne mutabani waabwe ng’eno bw’asumulula ekirabo kye bamuwadde.

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakuza Ssekukkulu?

Endowooza enkyamu abantu ze balina

Endowooza enkyamu: Ensonga lwaki Abajulirwa ba Yakuwa tebakuza Ssekukkulu eri nti tebakkiririza mu Yesu.

Ekituufu: Tukkiririza mu Yesu era tukkiriza nti yekka y’asobozesa abantu okulokolebwa.—Ebikolwa 4:12.

Endowooza enkyamu: Mwawulayawula ab’omu maka nga muyigiriza abantu nti kikyamu okukuza Ssekukkulu.

Ekituufu: Twagala nnyo okulaba ng’abantu baba n’amaka amasanyufu era tukozesa Bayibuli okubayamba okuba n’amaka amanywevu.

Endowooza enkyamu: Musubwa okugaba n’okuweebwa ebirabo, n’okubeerako awamu n’abalala nga muli bumu era muli mu mirembe.

Ekituufu: Buli lunaku tufuba okuba abantu ab’emirembe era abagabi. (Engero 11:25; Abaruumi 12:18) Ng’ekyokulabirako, tetusolooza ssente mu nkuŋŋaana zaffe era tetusaba bantu ssente nga tugenze okubuulira. Tugondera ekiragiro kya Yesu ekigamba nti: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.” (Matayo 10:8) Ate era tukkiriza nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obugenda okuleeta emirembe egya nnamaddala ku nsi.—Matayo 10:7.

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakuza Ssekukkulu?

  • Yesu yatulagira kujjukira kufa kwe so si mazaalibwa ge.—Lukka 22:19, 20.

  • Abatume ba Yesu n’Abayigirizwa be ab’edda tebaakuzanga Ssekukkulu. Ekitabo ekiyitibwa The New Catholic Encyclopedia kigamba nti: “Abantu baatandika okukuza amazaalibwa ga Yesu awo nga mu mwaka gwa 243 E.E.],” nga wayise emyaka nga 100 oluvannyuma lw’omutume eyasembayo okuttibwa.

  • Tewali bukakafu bwonna bulaga nti Yesu yazaalibwa Ddesemba 25, kubanga olunaku lwe yazaalibwa terwogerwako mu Bayibuli.

  • Tukkiriza nti okukuza Ssekukkulu tekisanyusa Katonda kubanga kwasibuka mu bulombolombo bw’ekikaafiiri.—2 Abakkolinso 6:17.

Lwaki mulemera ku ky’obutakuza Ssekukkulu?

Abantu bangi bakuza Ssekukkulu wadde nga bakimanyi nti yasibuka mu bukaafiiri era nti teyogerwako mu Bayibuli. Abantu ng’abo bayinza okwebuuza: Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bo tebakuza Ssekkukkulu? Lwaki balemera ku ky’obutakuza Ssekukkulu?

Bayibuli etukubiriza okukozesa ‘obusobozi bwaffe obw’okulowooza.’ (Abaruumi 12:1, 2) Etukubiriza okutwala amazima nga ga muwendo. (Yokaana 4:23, 24) Wadde nga tufaayo nnyo ku ngeri abalala gye batutwalamu, tunywerera ku mitindo gya Bayibuli wadde ng’ekyo kiyinza okuviirako abantu abamu okutukyawa.

Wadde nga tetukuza Ssekukkulu, tussa ekitiibwa mu ekyo abalala kye basalawo ku nsonga eyo. Tetuyingirira balala nga bakuza Ssekukkulu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza