LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mrt ekitundu 136
  • Funayo Obudde Oyige Ebikwata ku Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Funayo Obudde Oyige Ebikwata ku Katonda
  • Ensonga Endala
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Yesu kye yayogera
  • “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”​—⁠Matayo 5:3.
    “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”—Matayo 5:3.
  • Osobola Okufuna Essanyu Erya Nnamaddala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Enteekateeka y’Abajulirwa ba Yakuwa ey’Okuyigiriza Abantu Bayibuli Ebeera Etya?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza
  • Wandyagadde Okumanya Amazima?
    Wandyagadde Okumanya Amazima?
Ensonga Endala
mrt ekitundu 136
Ekifaananyi ekiraga abavubuka okuva mu nsi ez’enjawulo nga basoma Bayibuli, era nga basaba.

BYE TUYIGIRA KU EBYO YESU BYE YAYIGIRIZA

Funayo Obudde Oyige Ebikwata ku Katonda

Ojja kuganyulwa nnyo singa ofunayo obudde n’oyiga ebikwata ku Katonda. Ekyo bw’okikola oba ofuddeyo ku bwetaavu bwo obw’eby’omwoyo. Weetegereze ekyo Yesu kye yayogera ku nsonga eyo.

Yesu kye yayogera

“Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”—Matayo 5:3.

  • Ffenna tulina ebibuuzo bye twebuuza mu bulamu, gamba nga: Katonda yalina kigendererwa ki okututonda? Lwaki waliwo ebizibu bingi mu nsi? Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde? Okusobola okuba abasanyufu, twetaaga okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

“Omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye aba mulamu olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.”a—Matayo 4:4.

  • Nga bwe twetaaga okulya emmere tusobole okuba abalamu, bwe tutyo bwe twetaaga n’emmere ey’eby’omwoyo. Yesu yakiraga nti mu Kigambo kya Katonda mmwe tujja emmere ey’eby’omwoyo.

“Ekigambo kyo ge mazima.”—Yokaana 17:17.

  • Yesu yakiraga nti okusingira ddala Yakuwa akozesa Ekigambo kye Bayibuli okutuliisa mu by’omwoyo.

Tukukubiriza okufissaawo obudde oyige ebikwata ku Katonda okuva mu Kigambo kye Bayibuli. Ekyo kijja kukusobozesa okuba omusanyufu. Bino wammanga bisobola okukuyamba:

  • Soma Bayibuli ku bwereere.

  • Saba omuntu akukyalire akuyigirize Bayibuli ku bwereere.

a Yakuwa lye linnya lya Katonda. (Zabbuli 83:18) Laba ekitundu “Yakuwa Y’Ani?”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza