LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mrt ekitundu 121
  • Ani gw’Oyinza Okwesiga?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ani gw’Oyinza Okwesiga?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?
  • Ensonga Endala
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Oyo gw’osobola okwesiga
  • Obwesige Bwetaagisa Okusobola Okuba n’Obulamu obw’Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Yesu Ajja Kumalawo Obwavu
    Ensonga Endala
  • Osobola Okwesiga Bakkiriza Banno
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Yesu Ajja Kumalawo Entalo
    Ensonga Endala
Laba Ebirara
Ensonga Endala
mrt ekitundu 121
Ebifaananyi: Abantu abatera okutwalibwa nti beesigika: 1. Munnabyabufuzi ng’ayogera. 2. Munnaddiini nga yeewombeese. 3. Munnassaayansi ng’akutte ebiwandiiko.

Left: Olena Yefremkina/stock.adobe.com; center: lunamarina/stock.adobe.com; right: Rido/stock.adobe.com

BEERA BULINDAALA!

Ani gw’Oyinza Okwesiga?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?

Abantu bayisibwa bubi ng’abo be babadde beesiga babayiyeeyo. Abantu bangi tebakyesiga  . . .

  • bannabyabufuzi abeefaako bokka.

  • mikutu gy’amawulire egitafulumya mawulire matuufu.

  • bannassaayansi abatakola ebyo ebiyamba abantu.

  • bakulembeze b’amadiini abeenyigira mu by’obufuzi mu kifo ky’okwemalira ku Katonda.

Abantu batuufu obutamala geesiga buli omu. Bayibuli egamba nti:

  • “Teweesiganga bafuzi; tewali muntu asobola kukununula.”—Zabbuli 146:3, Good News Translation.

Oyo gw’osobola okwesiga

 Bayibuli etubuulira oyo gwe tusaanidde okwesiga: Ye Yesu Kristo. Ng’oggyeeko okuba nti Yesu bwe yali wano ku nsi emyaka nkumi na nkumi emabega yali muntu mulungi, Katonda yamulonda okufuga nga “Kabaka . . . , era Obwakabaka bwe tebuliggwaawo.” (Lukka 1:32, 33) Yesu ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, gavumenti efugira mu ggulu.—Matayo 6:10.

  • Okumanya ensonga lwaki wandyesize Yesu, soma ekitundu “Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda y’Ani?”ne “Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?”

Ekitabo ky’osobola okwesiga

Bayibuli etubuulira bingi ebikwata ku bulamu bwa Yesu, era eyogera ne ku bintu ebirala bingi ebikulu. Bayibuli erimu obubaka obw’omuganyulo bw’osobola okwesiga. Okusobola okumanya ebyo ebiri mu Bayibuli, tukukubiriza osabe okuyigirizibwa Bayibuli ku bwereere ng’ojjuzaamu akakonge. Ojja kufuna ebitabo ebyetaagisa, awamu n’oyo ajja okukuyamba okutegeera Bayibuli nga mukubaganya ebirowoozo. Ojja kuyiga ebintu bingi nga mw’otwalidde okumanya ekyo Yesu ky’ali, by’akoze, n’ebyo by’agenda okukola mu biseera eby’omu maaso.

Yiga Naffe Bayibuli

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza