Marek M. Berezowski/Anadolu Agency via Getty Images
BEERA BULINDAALA!
Olutalo Oluyindira mu Ukraine Luyingidde Omwaka ogw’Okubiri—Bayibuli Ewa Ssuubi Ki?
Ku Lwokutaano nga 24 Febwali, 2023, gujja kuba guweze omwaka gumu bukya olutalo mu Ukraine lutandika. Okusinziira ku nsonda ezimu, abasirikale ba Ukraine n’aba Russia nga 300,000 battiddwa oba batuusiddwako ebisago, ate abantu ba bulijjo nga 30,000 kirowoozebwa nti be baakafa. Kyokka emiwendo gy’abo abattiddwa oba abatuusiddwako ebisago giyinza n’okuba nga gisukkawo awo.
Eky’ennaku kiri nti, olutalo olwo lulabika terugenda kuggwa kati.
“Oluvannyuma lw’omwaka gumu bukya Russia erumba Ukraine, tewali kyonna kiraga nti olutalo olwo lugenda kuggwa kati. Tewali ludda lulabika nti lujja kuwangula olutalo, era kirabika nti bonna tebaagala kuteeseganya.”—NPR (National Public Radio), Febwali 19, 2023.
Abantu bangi banakuwavu nnyo olw’obulumi n’okubonaana abantu abatalina musango okwetooloola ensi kwe bayiseemu olw’olutalo luno awamu n’endala. Bayibuli ebawa ssuubi ki? Ekiseera kirituuka entalo ne ziggwaawo?
Olutalo olulikomya entalo zonna
Bayibuli eyogera ku lutalo olujja okuwonyaawo abantu, so si okubazikiriza. Olutalo olwo luyitibwa Amagedoni, era Bayibuli eruyita “olutalo olujja okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.” (Okubikkulirwa 16:14, 16) Okuyitira mu lutalo olwo, Katonda ajja kukomya obufuzi bw’abantu, obuviiriddeko entalo nnyingi ezisse abantu. Okumanya engeri olutalo Amagedoni gye lunaaleetamu emirembe egy’olubeerera, soma ebitundu bino wammanga: