ABAVUBUKA BABUUZA
Kiki kye Nsaanidde Okukola Oluvannyuma lw’Okubatizibwa?—Ekitundu 1: Nyiikirira Ebintu eby’Omwoyo
Nga bw’ofaayo ku bintu byo eby’omuwendo gamba ng’ennyumba, oba emmotoka, bw’otyo bw’osaanidde n’okufaayo ku nkolagana yo ne Yakuwa. Onookuuma otya enkolagana yo ne Yakuwa nga nnywevu oluvannyuma lw’okubatizibwa?
Mu kitundu kino tugenda kulaba amagezi ga mirundi ena
Somanga Ekigambo kya Katonda
Ekyawandiikibwa: “Mweyongera okubala ebibala mu buli mulimu omulungi era nga mweyongera okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda.”—Abakkolosaayi 1:10.
Kye kitegeeza: Oluvannyuma lw’okubatizibwa kijja kukwetaagisa okweyongera okusoma Bayibuli n’okufumiitiriza ku ebyo by’oyiga.—Zabbuli 25:4; 119:97.
Ky’olina okusuubira: Ebiseera ebimu ojja kuwulira nga toyagala kusoma Bayibuli. Ekyo kiyinza okukuleetera okulowooza nti eby’okusoma tobisobola.
Ky’osobola okukola: Noonyereza ku ebyo ebikunyumira mu Bayibuli. Weeteerewo enteekateeka ey’okwesomesa enaakwanguyira okugoberera. Weesomese ng’olina ekigendererwa eky’okweyongera okwagala Yakuwa n’Ekigambo kye. Bw’onooba n’ekigendererwa ekyo, ojja kuganyulwa era ojja kunyumirwa.—Zabbuli 16:11.
Ekiyinza okukuyamba: Okusobola okuganyulwa mu ebyo by’osoma, funa ekifo ekisirifu awatali bintu biwugula.
Ebirala ebisobola okukuyamba
Soma ebitundu:
“Bayibuli Eyinza Etya Okunnyamba?—Ekitundu 2: Nyumirwa Okusoma Bayibuli”
Laba vidiyo:
Wanula:
Sabanga Yakuwa
Ekyawandiikibwa: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.”—Abafiripi 4:6.
Kye kitegeeza: Bwe tusoma Bayibuli tuba tuwuliriza Katonda, ate bwe tusaba tuba twogera naye. Essaala zaffe ziyinza okuzingiramu okusaba Katonda atuwe ebyo bye twetaaga n’okumwebaza olw’ebyo by’atukoledde.
Ky’olina okusuubira: Ebiseera ebimu oyinza okutandika okuwulira nti essaala zo si za makulu. Oyinza n’okutandika okubuusabuusa obanga ddala Yakuwa awuliriza essaala zo era obanga ddala ayagala omusabe.—Zabbuli 10:1.
Ky’osobola okukola: Lowooza ku bintu ebibaawo mu lunaku by’oyinza okussa mu ssaala zo. Embeera yo bw’eba nga tekusobozesa kusaba ng’ekintu kyakabaawo, kikuumire mu birowoozo osobole okukissa mu ssaala oluvannyuma. Teweesabira wekka, wabula sabira n’abalala.—Abafiripi 2:4.
Ekiyinza okukuyamba: Bw’oba owulira ng’essaala zo si za makulu, tegeeza Yakuwa ku nsonga eyo. Mwetegefu okuwuliriza ebyo byonna by’omusaba nga mw’otwalidde n’ebyo ebikwata ku ssaala zo.—1 Yokaana 5:14.
Ebirala ebisobola okukuyamba
Soma ekitundu:
Wanula:
Buuliranga abalala ebyo by’okkiririzaamu
Ekyawandiikibwa: “Ssangayo omwoyo ku bintu ebikukwatako ne ku kuyigiriza kwo. . . . Bw’onookola bw’otyo ojja kwerokola era olokole n’abo abakuwuliriza.”—1 Timoseewo 4:16.
Kye kitegeeza: Bw’obuulirako abalala ebyo by’okkiririzaamu naawe onyweza okukkiriza kwo. N’ekinaavaamu ojja kuwonawo era oyambe n’abalala okuwonawo.
Ky’olina okusuubira: Oluusi oyinza okuwulira nga toyagala kubuulira. Oyinza n’okutya okubuulira na ddala ng’oli ku ssomero.
Ky’osobola okukola: Beera mumalirivu obutakkiriza bintu gamba ng’okutya okukulemesa okukola ebyo by’osaanidde okukola. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ne bwe [mbuulira amawulire amalungi] kyeyagalire, nnina obuwanika obwankwasibwa.”—1 Abakkolinso 9:16, 17.
Ekiyinza okukuyamba: Weebuuze ku bazadde bo bakubuulira ow’oluganda assaawo ekyokulabirako ekirungi mu mulimu gw’okubuulira, gw’osobola okufuula mukwano gwo.—Engero 27:17.
Ebirala ebisobola okukuyamba
Soma ekitundu:
Kuŋŋaananga wamu ne bakkiriza banno
Ekyawandiikibwa: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu.”—Abebbulaniya 10:24, 25.
Kye kitegeeza: Ensonga enkulu etutwala mu nkuŋŋaana, kwe kusinza Yakuwa. Kyokka tuganyulwa ne mu ngeri endala bbiri. Esooka, bakkiriza bannaffe batuzzaamu amaanyi. Eyokubiri, naffe tuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi bwe tubeerawo mu nkuŋŋaana era ne tubaako kye tuddamu.—Abaruumi 1:11, 12.
Ky’olina okusuubira: Oluusi ebirowoozo byo biyinza okuwuguka ng’oli mu nkuŋŋaana ebintu ebikulu ne bikuyitako. Oba oyinza okutandika okwosa enkuŋŋaana ezimu, ng’ekyo kiva ku kuba nti okkirizza ebintu ebimu, gamba ng’ebyo ebikuweebwa ku ssomero, okukumalako ebiseera.
Ky’osobola okukola: Fuba okubangawo mu nkuŋŋaana obutayosa era n’okussaayo omwoyo, wadde ng’olina n’okukola ebikuweebwa ku ssomero. Baako ky’oddamu mu nkuŋŋaana. Buli luvannyuma lwa lukuŋŋaana, beerako waakiri omuntu omu gw’osiima olw’ekyo ky’aba azzeemu, oba olw’okukola obulungi ekitundu kye.
Ekiyinza okukuyamba: Tegeka bulungi. Wanula JW Library® app; bw’ogenda awali ekitundu “Enkuŋŋaana,” oba osobola okulaba ebinaabeera mu lukuŋŋaana.
Ebirala ebisobola okukuyamba
Soma ekitundu: