LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • ijwbq ekitundu 184
  • Bayibuli Eyogera ki ku Bufumbo?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bayibuli Eyogera ki ku Bufumbo?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli ky’egamba
  • Emitindo gya Katonda egikwata ku bufumbo gye giruwa?
  • Bayibuli eyogera ki ku kwawukana n’okugattululwa?
  • Obufumbo bulina kuba buwandiise mu mateeka okusobola okusiimibwa Katonda?
  • Omwami n’omukyala balina buvunaanyizibwa ki mu maka?
  • Katonda yeetaagisa abafumbo leero okuzaala abaana?
  • Bayibuli esobola etya okunnyamba mu bufumbo bwange?
  • Okufuna Essanyu mu Bufumbo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Obufumbo—Kirabo Okuva eri Katonda
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Okuba n’Obufumbo Obunywevu era obw’Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Obufumbo Bwe Buba Bugenda Kusasika
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
Laba Ebirara
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 184
Omwami n’omukyala nga baliirako wamu ekyenkya.

Bayibuli Eyogera ki ku Bufumbo?

Bayibuli ky’egamba

Katonda bwe yamala okutonda omusajja n’omukazi abaasooka, yabagatta wamu ng’omwami n’omukyala. Yatandikawo obufumbo, omwami n’omukyala mwe bandibeeredde n’enkolagana ey’enjawulo, eyandibaleetedde okutebenkera mu bufumbo bwabwe awamu n’abaana be bandizadde.—Olubereberye 1:27, 28; 2:18.

Katonda ayagala abafumbo babe basanyufu. (Engero 5:18) Yateeka mu Bayibuli emisingi egisobola okubayamba okuba abasanyufu.

Ebiri mu kitundu kino

  • Emitindo gya Katonda egikwata ku bufumbo gye giruwa?

  • Bayibuli eyogera ki ku kwawukana n’okugattululwa?

  • Obufumbo bulina kuba buwandiise mu mateeka okusobola okusiimibwa Katonda?

  • Omwami n’omukyala balina buvunaanyizibwa ki mu maka?

  • Katonda yeetaagisa abafumbo leero okuzaala abaana?

  • Bayibuli esobola etya okunnyamba mu bufumbo bwange?

  • Ebyawandiikibwa ebikwata ku bufumbo

Emitindo gya Katonda egikwata ku bufumbo gye giruwa?

Katonda yatandikawo obufumbo nga bwa kubaamu omwami omu, n’omukyala omu. (Olubereberye 2:24) Akyawa okufumbiriganwa n’omuntu asukka mu omu, okulya ebisiyaga, oba omusajja n’omukazi okubeera awamu ng’obufumbo bwabwe tebukkirizibwa mu mateeka. (1 Abassessalonika 4:3) Yesu yayigiriza abagoberezi be okunywerera ku mutindo gw’obufumbo Katonda gwe yassaawo.—Makko 10:6-8.

Katonda ayagala obufumbo bube bwa lubeerera. Omwami n’omukyala bwe bafumbiriganwa, buli omu asuubiza okuba omwesigwa eri munne, n’okubeera awamu ebbanga lyonna lye banaamala nga balamu. Katonda asuubira abafumbo okunywerera ku bweyamo obwo.—Makko 10:9.

Bayibuli eyogera ki ku kwawukana n’okugattululwa?

Wayinza okubaawo ekiseera omwami oba omukyala w’ayinza okulekawoko munne, nga wazzeewo embeera emu. Ng’ekyokulabirako, ayinza okuba ng’alina bye yeetaaga okukolako mu bwangu ebikwata ku maka gaabwe. Kyokka Bayibuli tewagira bafumbo kwawukana nga bafunye ebizibu. Mu kifo ky’ekyo, ebakubiriza okubigonjoola.—1 Abakkolinso 7:10.

Obwenzi ye nsonga yokka mu Byawandiikibwa abafumbo gye basobola okusinziirako okugattululwa. (Matayo 19:9) N’olwekyo, singa omwami n’omukyala basalawo okwawukana oba okugattululwa nga basinziira ku nsonga endala, buli omu ku bo Ebyawandiikibwa tebimukkiriza kwogerezeganya oba kufumbiriganwa na muntu mulala.—Matayo 5:32; 1 Abakkolinso 7:11.

Obufumbo bulina kuba buwandiise mu mateeka okusobola okusiimibwa Katonda?

Katonda asuubira Abakristaayo okugondera amateeka agakwata ku bufumbo ab’obuyinza ge bassaawo. (Tito 3:1) Omwami n’omukyala bwe bawandiisa obufumbo bwabwe mu mateeka, kiba kiraga nti bagondera ab’obuyinza, era baba bakolera ku musingi Katonda gwe yassaawo nti abafumbo buli omu alina okunywerera ku munne.a

Omwami n’omukyala balina buvunaanyizibwa ki mu maka?

  • Obuvunaanyizibwa buli omu bw’alina. Omwami n’omukyala buli omu asaanidde okulaga munne okwagala era n’okumussaamu ekitiibwa. (Abeefeso 5:33) Buli omu asaanidde okufaayo ku nneewulira za munne ku bikwata ku kwegatta n’okwewala obutali bwesigwa obw’engeri yonna. (1 Abakkolinso 7:3; Abebbulaniya 13:4) Bwe baba n’abaana, bombi bavunaanyizibwa okubatendeka.—Engero 6:20.

    Maama ng’ayambako muwala we okukola ebyo abasomesa bye baamuwadde okukolera awaka, ng’eno taata bw’asalaasala enva.

    Bayibuli tetubuulira kalonda yenna akwata ku ngeri abafumbo gye basaanidde okugabanamu emirimu gy’awaka, n’emirimu gye bakola okweyimirizaawo. Basobola okusalawo engeri gye banaagikolamu.

  • Obuvunaanyizibwa omwami bw’alina. Bayibuli egamba nti “omwami gwe mutwe gwa mukyala we.” (Abeefeso 5:23) Omwami gwe mutwe gwa maka mu ngeri nti, y’asaanidde okuwa ab’omu maka ge obulagirizi n’okusalawo mu ngeri enaaganyula mukyala we n’abaana.

    Omwami ne mukyala we nga basomera wamu Bayibuli era nga baliko bye banywa.

    Omwami alina okufuba okulaba nti akola ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omubiri, eby’omwoyo, n’okufaayo ku nneewulira yaabwe. (1 Timoseewo 5:8) Akiraga nti afaayo ku ngeri za mukyala we, n’ebyo by’asobola okukola, ng’akolera wamu naye era ng’afaayo ku ndowooza ye n’enneewulira ye ng’alina by’asalawo. (Engero 31:11, 28) Bayibuli ekiraga nti omwami asaanidde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu ngeri ey’okwagala.—Abakkolosaayi 3:19.

  • Obuvunaanyizibwa omukyala bw’alina. Bayibuli egamba nti “omukyala asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.” (Abeefeso 5:33) Omukyala bw’assaamu omwami we ekitiibwa, asanyusa Katonda.

    Omwami n’omukyala nga bakola embalirira.

    Omukyala alina obuvunaanyizibwa okuyamba omwami we okusalawo mu ngeri ennungi era n’okumuwagira ng’omutwe gw’amaka. (Olubereberye 2:18) Omukyala atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, Bayibuli emwogerako bulungi.—Engero 31:10.

Katonda yeetaagisa abafumbo leero okuzaala abaana?

Nedda. Mu biseera eby’edda Katonda yalagira abamu ku baweereza be okuzaala abaana. (Olubereberye 1:28; 9:1) Naye ekiragiro ekyo tekikwata ku Bakristaayo. Yesu teyalagira bagoberezi be kuzaala baana, era tewali n’omu ku bayigirizwa be ab’edda eyagamba nti abafumbo balina okuzaala abaana. Abafumbo basaanidde okwesalirawo obanga banaazaala abaana.

Bayibuli esobola etya okunnyamba mu bufumbo bwange?

Bayibuli erimu emisingi egisobola okuyamba omwami n’omukyala okutandika obulungi obufumbo bwabwe. Emisingi gya Bayibuli gisobola okuyamba abafumbo okwewala ebizibu, n’okubigonjoola.

Emisingi gya Bayibuli egisobola okuyamba abafumbo . . .

  • okulagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala.—1 Abakkolinso 13:4-7; Abakkolosaayi 3:14.

  • okugonjoola obutakkaanya.—1 Abakkolinso 10:24.

  • okuba obawuliriza abalungi.—Yakobo 1:19.

  • okuwaŋŋana ekitiibwa.—Abaruumi 12:10.

  • okusonyiwagana.—1 Peetero 4:8.

  • okuba abeesigwa.—Makko 10:9.

  • okuba abagumiikiriza.—Abeefeso 4:2, 3

  • okukolera awamu emirimu.—Omubuulizi 4:9.

  • okunyweza obufumbo bwabwe.—Oluyimba 8:7.

a Okumanya ebikwata ku bufumbo bw’ekinnansi, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 2006, olupapula 15, akatundu 12.

Ebyawandiikibwa ebikwata ku bufumbo

Engero 18:22: “Oyo afuna omukyala omulungi aba afunye ekintu ekirungi.”

Kye kitegeeza: Bayibuli eraga nti si kibi okuyingira obufumbo.

Malaki 2:15: ‘Tokuusakuusa mukazi ow’omu buvubuka bwo.’

Kye kitegeeza: Katonda ayagala omwami n’omukyala buli omu abe mwesigwa eri munne era bawaŋŋane ekitiibwa, ka babe nga bamaze emyaka mingi mu bufumbo.

Makko 10:9: “Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.”

Kye kitegeeza: Katonda yatandikawo obufumbo nga bulina kuba bwa lubeerera.

Abebbulaniya 13:4: “Obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa eri bonna.”

Kye kitegeeza: Omwami n’omukyala basaanidde okutwala obufumbo bwabwe nga bwa muwendo nnyo era ne bakola kyonna ekisoboka okubunywereramu.

1 Abakkolinso 7:28: “Abo abayingira obufumbo bajja kubonaabona mu mibiri gyabwe.”

Kye kitegeeza: Tewali bufumbo butaliimu bizibu; abafumbo basaanidde okukolera awamu okugonjoola ebizibu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza