LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Jjuuni lup. 31
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Laba Ebirala
  • ‘Ebintu eby’Akabonero’ Ebirina Amakulu Gye Tuli
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Ba n’Okukkiriza okw’Amaanyi mu Bwakabaka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Mujja Kuba ‘Obwakabaka bwa Bakabona’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Jjuuni lup. 31

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Nga bwe kiragibwa mu Abaggalatiya 4:24, ndagaano ki ebbiri omutume Pawulo ze yali ayogerako?

Oluvannyuma lw’okwogera ku nkolagana Ibulayimu gye yalina wakati wa Saala ne Agali, omutume Pawulo yagamba nti: “Ebintu bino bya kabonero; kubanga abakazi bano bategeeza endagaano bbiri.” (Bag. 4:22-24) Emabegako tubadde tunnyonnyola nti endagaano ezo ebbiri ye ndagaano y’Amateeka n’endagaano empya. Naye oluvannyuma lw’okuddamu okwekenneenya ennyiriri ezo, tukirabye nti twetaaga okukyusaamu mu ekyo kye tubadde tukkiriza. Kirabika Pawulo yali ayogera ku ndagaano ya Ibulayimu, so si ku ndagaano mpya. Lowooza ku nsonga zino.a

Pawulo yalaga nti Agali yalina akakwate n’Olusozi Sinaayi. (Bag. 4:25) Agali akiikirira endagaano y’Amateeka eyakolebwa ku Lusozi Sinaayi mu 1513 E.E.T. (Kuv. 19:5, 6) Tewali muntu atatuukiridde eyali asobola kutuukiriza Mateeka mu ngeri etuukiridde. N’olwekyo, ekyo kyajjukizanga Abayudaaya nti baali baddu ba kibi. Endagaano eno yandiyambye Abayisirayiri okutegeera Masiya, kubanga ye muntu yekka eyali asobola okukwata Amateeka mu ngeri etuukiridde. Masiya bwe yawaayo obulamu bwe obutuukiridde nga ssaddaaka, yasobozesa abantu abatatuukiridde okununulwa okuva mu kibi n’okufa. (Bag. 3:19, 24, 25) Yesu bwe yamala okutuukiriza ekigendererwa kya Katonda, Amateeka gaali tegakyetaagibwa.—Bar. 10:4.

Pawulo yageraageranya Agali ku Ssaala, “omukazi ow’eddembe” eyazaala “okuyitira mu kisuubizo.” (Bag. 4:23) Ekisuubizo ekyo ye yali endagaano ya Ibulayimu. (Bag. 3:29; 4:28, 30) Endagaano eyo eyogerwako mu Olubereberye 22:18 awagamba nti: “Amawanga gonna ag’oku nsi galyefunira omukisa okuyitira mu zzadde lyo [Ibulayimu] olw’okuba owulirizza eddoboozi lyange.”

Endagaano eyo eyakolebwa ne Ibulayimu yatuyamba okweyongera okutegeera ekisuubizo Yakuwa kye yakola mu Edeni. (Lub. 3:15) Yatuyamba n’okutegeera nti “ezzadde” eryasuubizibwa yandibadde muzzukulu wa Ibulayimu. Pawulo yannyonnyola nti ekitundu ekikulu ‘eky’ezzadde’ lino ye Yesu Kristo. Naye abo ‘aba Kristo,’ nga be Bakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000 era abagenda okufugira awamu ne Yesu Kristo mu Bwakabaka bwe, nabo bazingirwa mu zzadde lino ery’akabonero. (Bag. 3:16, 29; Kub. 14:1-3) Okutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Katonda eri Ibulayimu kujja kuleeta emikisa mingi eri abo bonna abakkiriza Yesu era abamugondera.

Kiki Pawulo kye yali agezaako okuyigiriza bwe yayogera ku ‘bintu ebyo eby’akabonero’? Yalaga nti Abayudaaya abaaliwo mu kiseera kye bandisigadde baddu okufaananako Agali singa beeyongera okugoberera Amateeka ga Musa. Kyokka, singa bakkiriza ekitundu ekikulu ‘eky’ezzadde’ lya Ibulayimu, Yesu Kristo, okufaananako Saala bandibadde ba ddembe. Bandibadde basumululwa okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa. (Yok. 8:32-34) Bwe batandikkirizza Yesu, ekyo kyandibadde kitegeeza nti tebaategeera kigendererwa ekikulu eky’endagaano y’Amateeka, kwe kugamba okubatuusa eri Kristo.

Bangi ku Bakristaayo Abaggalatiya Pawulo be yawandiikira tebaali Bayudaaya era baali tebabeerangako wansi wa Mateeka. Abamu ku Bayudaaya abaali mu kibiina ekyo baali bakalambidde nga bagamba nti Abakristaayo ab’amawanga balina okukwata Amateeka, nga mwe muli n’etteeka erikwata ku kukomola. Pawulo yabalaga nti si kya magezi Abakristaayo ab’amawanga okufuuka ‘abaddu’ b’Amateeka, kubanga baali baamala dda okufuuka ‘ab’eddembe’ olw’okukkiriza Kristo.—Bag. 5:1, 10-14.

a Kino kikyusaamu ebyo ebyafulumira mu Watchtower, eya Maaki 15, 2006, lup. 10-12.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza