EKIMU KU EBYO EBYOGERWAKO MU BAYIBULI
Obutimba Obwakozesebwanga Okuvuba mu Biseera eby’Edda
Abasomi ba Bayibuli bangi bakimanyi nti abamu ku bagoberezi ba Yesu baali bavubi. (Mak. 1:16-20) Baakozesanga obutimba bwabwe okuvuba ku nnyanja y’e Ggaliraaya.
Abavubi baakolanga obutimba nga baluka ebintu ebifaanana ng’ebigoogwa oba wuzi. Ebituli ebyateekebwanga mu katimba byasinziiranga ku bunene bw’ebyennyanja bye baayagalanga okukwata. Obutimba obwakwatanga ebyennyanja ebitono bwateekebwangako amayinja busobole okubbira mu mazzi, naye obutimba obwakwatanga ebyennyanja ebinene bwabangako ebintu ebizitowa okubukuumira mu mazzi, ate era bwateekebwangako ebintu ebyakolebwa mu miti, ebibukuuma nga buseeyeeya ku mazzi.
Obutimba obwakozesebwanga okuvuba bwabanga bwa bbeeyi. Bwabanga busobola okwonoonebwa enjazi eziri ku ntobo y’ennyanja, oba bwayulikanga bwe baabanga bakwasizza ebyennyanja bingi nnyo. (Luk. 5:6) Mu Bayibuli tusoma ku Yakobo ne Yokaana “nga baddaabiriza obutimba bwabwe,” era kirabika baali bakozesa mpiso ne wuzi. (Mat. 4:21) Oluusi abavubi baddaabirizanga obutimba bwabwe buli luvannyuma lw’okuvuba. Lukka naye yayogera ku bavubi abaali “booza obutimba bwabwe” okubuggyamu ettaka. (Luk. 5:2) Oluvannyuma abavubi baayanikanga obutimba bwabwe busobole okukala oboolyawo nga tebaagala buvunde.—Ezk. 47:10.
Yesu yayita abasajja abaavubisanga obutimba okufuuka “abavubi b’abantu.”