LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w25 Noovemba lup. 16-21
  • Fumiitiriza ku Yesu, Kabona Waffe Asinga Obukulu era Atulumirirwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Fumiitiriza ku Yesu, Kabona Waffe Asinga Obukulu era Atulumirirwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • OMWANA WA KATONDA OMWAGALWA AJJA KU NSI
  • YESU ALUMIRIRWA ABANTU
  • ENGERI ABAKRISTAAYO LEERO GYE BAKOPPAMU KABONA WAFFE ASINGA OBUKULU
  • KABONA WAFFE ASINGA OBUKULU ASOBOLA OKUKUYAMBA
  • Kiki Kye Tuyigira ku Kinunulo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Bye Tuyigira ku Yesu mu Nnaku 40 Ezaasembayo ng’Ali ku Nsi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Yakuwa “Awonya Abamenyese Omutima”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Noovemba lup. 16-21

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 46

OLUYIMBA 17 “ Njagala”

Fumiitiriza ku Yesu, Kabona Waffe Asinga Obukulu era Atulumirirwa

“ Kabona asinga obukulu gwe tulina si y’oyo atayinza kutulumirirwa mu bunafu bwaffe.”—BEB. 4:15.

EKIGENDERERWA

Yesu atulumirirwa era musaasizi. Tugenda kulaba engeri ekyo gye kimufuula okuba oyo akyasinze okutuukiriza ebisaanyizo eby’okuba Kabona Asinga Obukulu era n’engeri gye tuganyulwa mu ebyo by’akola leero.

1-2. (a) Lwaki Yakuwa yasindika omwana we ku nsi? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino? (Abebbulaniya 5:​7-9)

EMYAKA nga 2000 emabega, Yakuwa yasindika omwana we gw’ayagala ennyo ku nsi. Lwaki? Emu ku nsonga eri nti Yakuwa yali ayagala okununula abantu okuva mu kibi n’okufa, n’okumalawo ebizibu ebyaleetebwa Sitaani. (Yok. 3:16; 1 Yok. 3:8) Ate era Yakuwa yali akimanyi nti ebyo Yesu bye yandiyiseemu ng’omuntu byandimufudde Kabona Asinga Obukulu ategeera embeera gye tuyitamu, atulumirirwa era omusaasizi. Yesu yatandika okuweereza nga Kabona Asinga Obukulu oluvannyuma lw’okubatizibwa mu mwaka gwa 29 E.E.a

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri ebyo Yesu bye yayitamu ng’ali ku nsi gye byamuyamba okufuuka Kabona Asinga Obukulu atulumirirwa. Bwe tweyongera okutegeera engeri Yesu gye ‘yafuulibwa atuukiridde’ okusobola okuweereza nga Kabona Asinga Obukulu, kijja kutwanguyira okutuukirira Yakuwa mu kusaba ne bwe tuba nga tuweddemu amaanyi olw’ebibi byaffe oba olw’obunafu bwe tulina.—Soma Abebbulaniya 5:​7-9.

OMWANA WA KATONDA OMWAGALWA AJJA KU NSI

3-4. Obulamu bwa Yesu bwakyuka butya ng’azze ku nsi?

3 Bangi ku ffe tubadde n’enkyukakyuka mu bulamu bwaffe era nga tulina okuva mu kifo kye tubadde tubeeramu ne tuleka mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe. Enkyukakyuka ng’ezo ziyinza okutusoomooza. Kyokka tewali muntu yali afunye nkyukakyuka mu bulamu bwe ng’ezo Yesu Kristo ze yafuna. Bwe yali mu ggulu, Yesu ye yali asinga ekitiibwa mu bamalayika ba Katonda bonna. Yakuwa gwe yali asinga okwagala era bulijjo yabanga musanyufu ng’aweereza Katonda ng’ali ku ‘mukono gwe ogwa ddyo.’ (Zab. 16:11; Nge. 8:30) Kyokka wadde kiri kityo, Abafiripi 2:7 walaga nti Yesu “yeggyako buli kye yalina,” kwe kugamba, yaleka ekitiibwa kye yalina mu ggulu n’ajja okubeera ku nsi mu bantu abatatuukiridde.

4 Ate era lowooza ku myaka gya Yesu egyasooka ng’ali ku nsi. Yazaalibwa mu maka maavu. Ekyo tukitegeerera ku kuba nti Yesu bwe yazaalibwa bazadde be baawaayo obunyonyi nga ssaddaaka ku yeekaalu. (Leev. 12:8; Luk. 2:24) Kabaka Kerode bwe yamanya nti Yesu yali azaaliddwa, yagezaako okumutta. Okusobola okukuuma Yesu obutatuukibwako kabi, bazadde be baddukira e Misiri era baabeera eyo okumala ekiseera ng’abanoonyi b’obubudamu. (Mat. 2:​13, 15) Obulamu Yesu bwe yalimu ku nsi bwali bwa njawulo nnyo ku obwo bwe yalimu ng’ali mu ggulu!

5. Biki Yesu bye yalaba ng’azze ku nsi, era ebyo bye yayitamu byamuteekateeka bitya okufuuka Kabona Asinga Obukulu? (Laba n’ekifaananyi.)

5 Yesu bwe yali ku nsi, yalaba abantu bangi abaali babonaabona. Yesu ateekwa okuba nga yategeera engeri abantu gye bawuliramu bwe bafiirwa omuntu gwe baagala ennyo. Awatali kubuusabuusa Yesu yafiirwako abantu b’ayagala ennyo oboolyawo nga mw’otwalidde ne Yusufu, kitaawe eyamukuza. Mu buweereza bwe ku nsi, Yesu yalaba abagenge, abazibe b’amaaso, abalema, n’abazadde abaafiirwa abaana baabwe era yabasaasira. (Mat. 9:​2, 6; 15:30; 20:34; Mak. 1:​40, 41; Luk. 7:13) Kyo kituufu nti bwe yali mu ggulu yali alaba abantu nga babonaabona, naye bwe yali ku nsi yeeyongera okutegeera obulumi abantu bwe bayitamu nga balina ebizibu. (Is. 53:4) Ebyo Yesu bye yayitamu ng’ali ku nsi byamuyamba okutegeera engeri abantu gye beewuliramu nga bali mu mbeera ez’enjawulo, era n’engeri gye babonaabonamu olw’ebizibu bye bafuna mu bulamu. Ate era okufaananako abantu abalala, Yesu naye yakoowanga, yanakuwalanga, era yawuliranga obulumi.

Yesu yeetooloddwa abantu abamwegayirira abawonye. Ayoleka obusaasizi n’akwata ku mikono gy’omusajja omukadde aliko obulemu.

Yesu yalumirirwanga abantu olw’embeera embi gye baabangamu era yabangako ky’akolawo okubayamba (Laba akatundu 5)


YESU ALUMIRIRWA ABANTU

6. Obunnabbi bwa Isaaya bulaga butya nti Yesu musaasizi eri abantu? (Isaaya 42:3)

6 Mu buweereza bwe bwonna, Yesu yalaga ekisa eri abantu abaayisibwanga obubi olw’embeera yaabwe. Mu kukola bw’atyo, yali atuukiriza obunnabbi Yakuwa bwe yawa ng’ayitira mu nnabbi Isaaya. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, abantu abanywevu mu by’omwoyo era ab’amaanyi ebiseera ebimu bageraageranyizibwa ku nnimiro engimu oba ku miti emiwanvu era eminene obulungi. (Zab. 92:12; Is. 61:3; Yer. 31:12) Naye abantu abaavu n’abo abalina ebizibu bageraageranyizibwa ku lumuli olwatiseyatise oba ku lutambi oluzimeera, ebintu ebitwalibwa nti si bya mugaso. (Soma Isaaya 42:3; Mat. 12:20) Yakuwa yakozesa ebyokulabirako ebyo okulaga engeri Yesu gye yandifuddeyo ku bantu aba bulijjo ng’abalaga okwagala n’obusaasizi, wadde ng’abalala baali babatwala nti si ba mugaso.

7-8. Yesu yatuukiriza atya obunnabbi bwa Isaaya?

7 Omuwandiisi w’Enjiri Matayo yagamba nti Yesu yatuukiriza obunnabbi bwa Isaaya obugamba nti: “Olumuli olwatiseyatise talirumenya, n’olutambi oluzimeera taliruzikiza.” Ebimu ku byamagero Yesu bye yakola byaganyula abo abaali bayisibwa obubi era abaali bawulira nti balinga olumuli olwatiseyatise, era nga tebalina ssuubi nga balinga olutambi lw’ettaala olunaatera okuzikira. Ng’ekyokulabirako, lumu Yesu yawonya omusajja eyali ajjudde ebigenge. Omusajja oyo ateekwa okuba nga yali awulira nti talina ssuubi lya kuwonyezebwa oba okuddamu okubeera n’ab’omu maka ge ne mikwano gye. (Luk. 5:​12, 13) Ate era Yesu yawonya omusajja eyali kiggala era nga tasobola kwogera bulungi. Lowooza ku ngeri omusajja oyo gye yali awuliramu ng’alaba abalala banyumya emboozi naye nga tasobola kutegeera bye banyumya. (Mak. 7:​32, 33) Waliwo n’abantu abalala Yesu be yayamba.

8 Mu kiseera kya Yesu, Abayudaaya bangi baali balowooza nti abantu abaabanga babonaabona baabanga babonerezebwa olw’ebibi byabwe oba olw’ebibi bya bazadde baabwe. (Yok. 9:2) Olw’endowooza eyo enkyamu, abantu abaabanga babonaabona baayisibwanga bubi, era ekyo kyabaleeteranga okuwulira nti tebalina mugaso. Naye Yesu yabawonyanga era n’abayamba okukiraba nti Katonda abafaako. Ekyo kituyigiriza ki ku ngeri Yesu gy’awuliramu bw’alaba embeera gye tuyitamu?

9. Abebbulaniya 4:​15, 16 walaga watya nti Kabona waffe Asinga Obukulu ali mu ggulu, alumirirwa abantu abatatuukiridde?

9 Soma Abebbulaniya 4:​15, 16. Tusobola okuba abakakafu nti bulijjo Yesu ajja kutulumirirwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Omuntu alumirirwa abalala akwatibwako bw’alaba nga babonaabona oba nga bayita mu mbeera enzibu. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okulumirirwa” kitegeeza okwessa mu bigere byabwe n’okugezaako okuwulira nga bwe bawulira. (Laba ne Abebbulaniya 10:​34, Pawulo w’akozeseza ekigambo ky’Oluyonaani kye kimu.) Bwe tusoma ku byamagero Yesu bye yakola tukiraba nti yali alumirirwa nnyo abantu era yabayambanga. Teyabawonyanga buwonya kutuukiriza mukolo. Yali abafaako nnyo era ng’ayagala okubayamba. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yawonya omusajja omugenge yali teyeetaaga kumusemberera okusobola okumuwonya. Naye Yesu yamusemberera era n’amukwatako. Omusajja oyo ateekwa okuba nga yazzibwamu nnyo amaanyi kubanga kirabika Yesu ye muntu yekka eyasooka okumukwatako oluvannyuma lw’emyaka mingi. Ate era Yesu bwe yali awonya omusajja eyali kiggala, yakiraga nti afaayo ku nneewuulira ye ng’amutwala mu kifo ekisirifu awatali bantu bangi. Ate era bwe waaliwo Omufalisaayo eyayogerera obubi omukyala eyali yeenenyezza era n’anaaza ebigere bya Yesu n’amaziga ge era n’abisiimula n’enviiri ze, Yesu yawolereza omukyala oyo. (Mat. 8:3; Mak. 7:33; Luk. 7:44) Yesu teyeewalanga bantu abaaliko obulemu, abalwadde, n’abo abaabanga bakoze ebibi eby’amaanyi. Mu kifo ky’ekyo, yabasembezanga, yabalaga ekisa, era yakiraga nti abaagala. Tusobola okuba abakakafu nti naffe Yesu atulumirirwa mu ngeri y’emu.

ENGERI ABAKRISTAAYO LEERO GYE BAKOPPAMU KABONA WAFFE ASINGA OBUKULU

10. Bintu ki bye tusobola okukozesa okuyamba bakiggala ne bamuzibe mu by’omwoyo? (Laba n’ebifaananyi.)

10 Ng’abagoberezi ba Yesu ab’amazima, tufuba okumukoppa nga tulaga abalala okwagala, nga tubalumirirwa, era nga tubalaga obusaasizi. (1 Peet. 2:21; 3:8) Wadde nga tetusobola kuwonya bakiggala oba bamuzibe, tusobola okubayamba mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, leero tulina ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli mu nnimi za bakiggala ezisukka mu 100. Ate era okusobola okuyamba bamuzibe n’abo abatalaba bulungi, tulina ebitabo by’abamuzibe mu nnimi ezisukka mu 60. Era tulina vidiyo ezirimu amaloboozi agannyonnyola ebyo ebiba bigenda mu maaso, mu nnimi ezisukka mu 100. Ebintu ebyo byonna biteereddwawo okuyamba bakiggala ne bamuzibe okusemberera Yakuwa n’Omwana we.

Ebifaananyi: 1. Ab’oluganda ne bannyinaffe mu lukuŋŋaana nga bayimba oluyimba lw’Obwakabaka mu lulimi lwa bakiggala. 2. Mwannyinaffe omuzibe asoma Bayibuli mu lulimi lwa bamuzibe.

Ebitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli bifulumizibwa mu nnimi ezisukka mu 1,000

Ku kkono: Ebitabo mu nnimi za bakiggala ezisukka mu 100

Ku ddyo: Ebitabo mu nnimi za bamuzibe ezisukka mu 60

(Laba akatundu 10)


11. Ekibiina kya Yakuwa kiraga kitya nti kifaayo ku bantu aba buli ngeri nga Yesu bwe yakolanga? (Ebikolwa 2:​5-7, 33) (Laba n’ebifaananyi.)

11 Ekibiina kya Yakuwa kifuba okuyamba abantu aba buli ngeri okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Yesu bwe yamala okuzuukizibwa, yafuka omwoyo omutukuvu ku bagoberezi be kisobozese abantu abaali bazze ku mbaga ya Pentekooti okuwulira amawulire amalungi buli omu mu ‘lulimi lwe.’ (Soma Ebikolwa 2:​5-7, 33.) Nga kikolera ku bulagirizi bwa Yesu, ekibiina kya Yakuwa kifulumizza ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli mu nnimi ezisukka mu 1,000, era ng’ezimu ku zo zoogerwa abantu batono ddala. Ng’ekyokulabirako, ezimu ku nnimi ez’omu bukiikaddyo ne mu bukiikakkono bwa Amerika zoogerwa abantu batono ddala. Kyokka ekibiina kya Yakuwa kifulumizza ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli mu nnimi ezo ezisukka mu 160, abantu bangi aboogera ennimi ezo basobole okuwulira amawulire amalungi. Ate era, ebitabo byaffe bifulumiziddwa mu nnimi z’Abaromani ezisukka mu 20. Abantu nkumi na nkumi aboogera ennimi ezo bayize amazima.

Ebifaananyi: 1. Mwannyinaffe akutte Bayibuli eri mu lulimi lwe era ataddeko akamwenyumwenyu. 2. Mwannyinaffe Omuromani ali ne muwala we ku lukuŋŋaana olunene.

Ku kkono: Ebitabo mu nnimi ezisukka mu 160 ezoogerwa mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo bwa Amerika

Ku ddyo: Ebitabo mu nnimi z’Abaromani ezisukka mu 20

(Laba akatundu 11)


12. Bintu ki ebirala ekibiina kya Yakuwa bye kikola okuyamba abantu?

12 Ng’oggyeeko okuyamba abantu okuwulira amawulire amalungi, ekibiina kya Yakuwa era kidduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga. Baganda baffe ne bannyinaffe nkumi na nkumi beewaayo kyeyagalire nga bannakyewa okuyamba bakkiriza bannaffe ababa mu bwetaavu. Ekibiina kya Yakuwa era kizimba ebifo by’okusinzizaamu abantu bye basobola okukuŋŋaaniramu, ne bayiga ebikwata ku Katonda ne ku kwagala kw’alina gye bali.

KABONA WAFFE ASINGA OBUKULU ASOBOLA OKUKUYAMBA

13. Yesu atuyamba atya?

13 Ng’omusumba omulungi, Yesu afaayo ku byetaago eby’eby’omwoyo ebya buli omu ku ffe. (Yok. 10:14; Bef. 4:7) Oluusi tuyinza okuggwaamu ennyo amaanyi ne tuwulira nga tulinga olutambi oluzimeera oba olumuli olwatiseyatise. Tuyinza okuba nga tuweddemu amaanyi olw’obulwadde obw’amaanyi bwe tulina, olw’ensobi ze tukola, oba olw’okuba nti tulina obutakkaanya ne mukkiriza munnaffe mu kibiina. Mu mbeera ng’ezo tuyinza okussa ebirowoozo ku bizibu bye tuba tulina mu kiseera ekyo mu kifo ky’okubimalira ku ssuubi lye tulina ery’ebiseera eby’omu maaso. Kijjukire nti Yesu alaba embeera gy’olimu era ategeera engeri gye weewuliramu. Olw’okuba Yesu musaasizi, ayagala okukuyamba. Ng’ekyokulabirako, asobola okukozesa omwoyo omutukuvu okukuwa amaanyi bw’oba owulira ng’onafuye. (Yok. 16:7; Tit. 3:6) Ate era Yesu asobola okukozesa ‘ebirabo mu bantu’ ne bakkiriza banno abalala okukuzzaamu amaanyi n’okukuyamba.—Bef. 4:8.

14. Bwe tuba nga tuweddemu amaanyi, kiki kye tusobola okukola?

14 Bw’oba ng’oweddemu amaanyi, fumiitiriza ku kifo Yesu ky’alina nga Kabona waffe Asinga Obukulu. Kijjukire nti Yakuwa yamusindika ku nsi si kuwaayo bulamu bwe nga ssaddaaka kyokka, wabula n’okutegeera obulungi ebizibu abantu abatatuukiridde bye boolekagana nabyo. Bwe tuba nga tuweddemu amaanyi olw’ebibi byaffe oba olw’obunafu bwe tulina, Yesu mwetegefu okutuyamba mu kiseera ekituufu.—Beb. 4:​15, 16.

15. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri omuntu eyava ku Yakuwa gy’asobola okuyambibwa okukomawo mu kibiina.

15 Yesu era ayamba abagoberezi be okunoonya n’okuyamba abo abaava mu kisibo. (Mat. 18:​12, 13) Lowooza ku Stefano.b Oluvannyuma lw’emyaka 12 ng’aggiddwa mu kibiina, lumu yasalawo okugendako mu nkuŋŋaana. Agamba nti: “Tekyannyanguyira, naye nnali njagala okuddamu okusinza Yakuwa nga ndi wamu n’abantu be. Abakadde abaayogerako nange bannyaniriza bulungi. Ebiseera ebimu nnawuliranga nti sigwanira kukomawo mu kibiina kya Yakuwa era nga mpulira njagala kubivaako. Naye abakadde banzijjukiza nti Yakuwa ne Yesu baagala nneeyongere okufuba. Bwe nnakomezebwawo mu kibiina, nze awamu n’ab’omu maka gange ab’oluganda baatwaniriza n’essanyu. Oluvannyuma mukyala wange yatandika okuyiga Bayibuli era kati tuweerereza wamu Yakuwa.” Kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Kabona waffe Asinga Obukulu, bw’alaba engeri ab’oluganda mu kibiina gye bafuba okuyamba abo abeenenya okukomawo eri Yakuwa!

16. Owulira otya bw’olowooza ku Kabona Asinga Obukulu gwe tulina?

16 Yesu bwe yali ku nsi, yayamba abantu bangi mu kiseera we baabanga beetaagira obuyambi. Ne leero tuli bakakafu nti Yesu ajja kutuyamba mu kiseera kyennyini we tunaaba twetaagira obuyambi. Ate mu nsi empya enaatera okutuuka, Yesu ajja kuyamba abantu okuba mu bulamu obulungi nga tebalina kibi era nga batuukiridde. Twebaza nnyo Yakuwa Katonda waffe eyatulaga okwagala okungi n’atuwa omwana we okubeera Kabona waffe Asinga Obukulu atulumirirwa!

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Ebintu Yesu bye yayitamu ng’ali ku nsi byamuteekateeka bitya okuba Kabona waffe Asinga Obukulu?

  • Yesu yatuukiriza atya ebigambo ebiri mu Isaaya 42:3?

  • Kabona waffe Asinga Obukulu atuyamba atya leero?

OLUYIMBA 13 Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe

a Okumanya ebisingawo ku nsonga lwaki Yesu asingira wala bakabona b’Abayudaaya abaali basinga obukulu, laba ekitundu “Siima Enkizo gy’Olina ey’Okusinziza Yakuwa mu Yeekaalu ey’Eby’Omwoyo” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 2023, lup. 26, kat. 7-9.

b Amannya gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza