Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Kiki omuwandiisi wa Engero 30:18, 19 kye yali ategeeza bwe yagamba nti, ‘ekkubo ly’omusajja ali n’omukazi’ lyali ‘lisukkiridde okutegeera kwe’?
Abantu bangi nga mw’otwalidde n’abo abeekenneenya Bayibuli bamaze ekiseera nga beebuuza amakulu g’ebigambo ebyo. Ennyiriri ezo mu Enkyusa ey’Ensi Empya zigamba nti: “Waliwo ebintu bisatu ebisukkiridde okutegeera kwange [oba, “ebinneewuunyisa ennyo,” obugambo obuli wansi.], era waliwo bina bye sitegeera: Ekkubo ly’empungu mu bbanga, ekkubo ly’omusota ku lwazi, ekkubo ly’ekyombo ku nnyanja, era n’ekkubo ly’omusajja ali n’omukazi.”—Nge. 30:18, 19.
Emabegako tubadde tugamba nti ‘ekkubo ly’omusajja ali n’omukazi’ litegeeza kintu kibi. Lwaki? Ennyiriri eziriranyeewo zoogera ku bintu ebibi ebitasobola kugamba nti “kimala.” (Nge. 30:15, 16) Ate olunyiriri 20 lwogera ku ‘mukazi omwenzi’ agamba nti talina kibi ky’akola. Bwe kityo twali tugamba nti ng’empungu eri mu bbanga, omusota oguli ku lwazi, oba ekyombo ekiri mu nnyanja, omusajja asobola okukola ekintu ne watabaawo ategeera ky’akoze. Olw’ensonga eyo twali tugamba nti ebigambo ‘ekkubo ly’omusajja ali n’omukazi’ bitegeeza kintu kibi, kwe kugamba omuvubuka asendasenda omuwala atalina bumanyirivu ne yeegatta naye.
Naye waliwo ensonga etuleetera okugamba nti ebigambo ebyo byogera ku bintu birungi. Omuwandiisi yali ayogera ku bintu ebyamwewuunyisa ennyo.
Ebiwandiiko by’Olwebbulaniya biraga nti olunyiriri olwo luyinza okuba nga lwogera ku bintu birungi. Okusinziira ku kitabo Theological Lexicon of the Old Testament, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “ebisukkiridde okutegeera kwange” mu Engero 30:18, “kyogera ku kintu ekyewuunyisa ennyo era nga kirabika ng’ekitasoboka.”
Pulofeesa Crawford H. Toy, ow’omu Harvard University mu Amerika naye yagamba nti olunyiriri olwo terwogera ku kintu kibi. Yagamba nti: “Omuwandiisi yali agezaako okunnyonnyola engeri ebintu ebyo gye byewuunyisaamu.”
N’olwekyo kikola amakulu okugamba nti ebigambo ebiri mu Engero 30:18, 19 byogera ku bintu ebyewuunyisa ennyo era ebisukkiridde okutegeera kwaffe. Okufaananako omuwandiisi w’ebigambo ebyo, naffe twewuunya nnyo engeri empungu gy’etumbiira mu bbanga, engeri omusota ogutalina magulu gye gutambulira ku lwazi, engeri emmeeri ezitowa ennyo gy’etambulira ku mazzi, n’engeri omuvubuka omuto gy’agwa mu mukwano n’omuwala ne baagalana nnyo era ne baba basanyufu nnyo.