LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w25 Maaki lup. 2-7
  • Tolonzalonza Kubatizibwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Tolonzalonza Kubatizibwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • ABASAMALIYA BAABATIZIBWA
  • SAWULO OW’E TALUSO YABATIZIBWA
  • KOLUNEERIYO YABATIZIBWA
  • ABAKKOLINSO BAABATIZIBWA
  • OKUKKIRIZA KUSOBOLA OKUKUYAMBA OKUVVUUNUKA EBIZIBU EBIRINGA ENSOZI
  • Fuba Okukola Enkyukakyuka Ezeetaagisa Obatizibwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Okutegeera Amakulu g’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Weeyongere ‘Okugoberera’ Yesu Oluvannyuma lw’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Yakyusiza Ddala Endowooza Ye
    Yoleka Obuvumu ng’Oweereza Katonda
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Maaki lup. 2-7

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 9

OLUYIMBA 51 Twewaddeyo eri Katonda!

Tolonzalonza Kubatizibwa

“Lwaki olwa? Yimuka obatizibwe.”—BIK. 22:16.

EKIGENDERERWA

Engeri ekyokulabirako ky’Abasamaliya, ekya Sawulo ow’e Taluso, ekya Koluneeriyo, n’eky’Abakkolinso gye kisobola okukuyamba okuvvuunuka ebisobola okukulemesa okubatizibwa.

1. Ezimu ku nsonga lwaki omuntu asaanidde okubatizibwa ze ziruwa?

OWULIRA ng’oyagala nnyo Yakuwa Katonda eyakuwa buli kintu ekirungi ky’olina, omuli n’obulamu? Oyagala okukiraga nti omwagala? Engeri esingayo obulungi gy’oyinza okukikolamu kwe kwewaayo gy’ali era ekyo n’okyoleka mu lujjudde ng’obatizibwa. Bw’okola bw’otyo, ojja kufuuka omu ku b’omu maka ga Yakuwa. N’ekinaavaamu, Kitaawo oyo ow’omu ggulu akwagala ennyo ajja kukuwanga obulagirizi era ajja kukulabiriranga olw’okuba ojja kuba ofuuse wuwe. (Zab. 73:24; Is. 43:​1, 2) Ate era bwe weewaayo n’obatizibwa, oba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.—1 Peet. 3:21.

2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Waliwo ekikulemesa okubatizibwa? Bwe kiba kityo, toli wekka. Waliwo abantu bukadde na bukadde abaalina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu nneeyisa yaabwe ne mu ndowooza yaabwe ne basobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa. Kati baweereza Yakuwa n’obunyiikivu era basanyufu nnyo. Kiki ky’osobola okuyigira ku bamu ku abo abaabatizibwa mu kyasa ekyasooka? Ka tulabe ebizibu bye baalina okuvvuunuka ne bye tusobola okubayigirako.

ABASAMALIYA BAABATIZIBWA

3. Ezimu ku nkyukakyuka abamu ku Basamaliya ze baalina okukola okusobola okubatizibwa ze ziruwa?

3 Abasamaliya abaaliwo mu kiseera kya Yesu baalina ensinza eyaabwe. Era bangi ku bo baali babeera mu kibuga Sekemu ne mu Samaliya ebyali ebukiikakkono wa Buyudaaya. Okusobola okubatizibwa, Abasamaliya baalina okuba nga bakkiririza mu Kigambo kya Katonda kyonna era nga bafuba okutegeera ebikirimu. Ekyo kiri bwe kityo kubanga Abasamaliya baali bakkiriza nti ebitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli byokka bye byaluŋŋamizibwa, kwe kugamba, Olubereberye okutuuka ku Ekyamateeka, era oboolyawo baali bakkiriza n’ebyo ebiri mu kitabo kya Yoswa. Kyokka okusinziira ku kisuubizo ekiri mu Ekyamateeka 18:​18, 19, baali basuubira okujja kwa Masiya. (Yok. 4:25) Okusobola okubatizibwa, baalina okukkiriza nti Yesu ye Masiya eyasuubizibwa, era “Abasamaliya bangi” bakkiriza nti Yesu ye Masiya. (Yok. 4:39) Ate era olw’okuba Abakristaayo bangi baali Bayudaaya, Abasamaliya abamu baalina okweggyamu obukyayi bwe baalina eri Abayudaaya.—Luk. 9:​52-54.

4. Okusinziira ku Ebikolwa 8:​5, 6, 14, abamu ku Basamaliya baakwatibwako batya ebyo Firipo bye yababuulira?

4 Kiki ekyayamba Abasamaliya okubatizibwa? Firipo omubuulizi w’enjiri bwe yababuulira “ebikwata ku Kristo,” abamu ku bo ‘bakkiriza ekigambo kya Katonda.’ (Soma Ebikolwa 8:​5, 6, 14.) Wadde nga Firipo yali Muyudaaya, baamuwuliriza. Oboolyawo bajjukira ebyawandiikibwa ebiri mu bitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli ebiraga nti Katonda tasosola. (Ma. 10:​17-19) Bwe kityo, “bassangayo nnyo omwoyo ku bintu [Firipo] bye yali ayogera” ebikwata ku Kristo, era baalaba n’obukakafu obwali bulaga nti Firipo yalina omwoyo gwa Katonda. Ate era Firipo yakola ebyamagero bingi, omwali okuwonya abalwadde n’okugoba dayimooni.—Bik. 8:7.

5. Biki by’oyigidde ku Basamaliya?

5 Abasamaliya abo tebakkiriza bukyayi bwe baalina eri Abayudaaya oba obutamanya bulungi byawandiikibwa kubalemesa kubatizibwa. Bwe baakakasa nti ebyo Firipo bye yali abayigiriza ge mazima, tebaalonzalonza kubatizibwa. Bayibuli egamba nti: “Firipo bwe yababuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda ne ku linnya lya Yesu Kristo ne bakkiriza, abasajja n’abakazi ne babatizibwa.” (Bik. 8:12) Naawe oli mukakafu nti Ekigambo kya Katonda ge mazima, era nti Abajulirwa ba Yakuwa balaga okwagala Yesu kwe yagamba nti kwe kwawulawo Abakristaayo ab’amazima? (Yok. 13:35) Bwe kiba kityo, tolonzalonza kubatizibwa, era ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi.

6. Kiki ky’oyigidde ku Ruben?

6 Ow’oluganda Ruben abeera mu Bugirimaani, yakulira mu maka ga Bajulirwa ba Yakuwa. Kyokka bwe yavubuka, yatandika okubuusabuusa obanga ddala Katonda gy’ali. Kiki ekyamuyamba okuggwaamu okubuusabuusa? Bwe yakitegeera nti waliwo ebintu bye yali yeetaaga okutegeera ku Katonda, yabaako ky’akolawo. Agamba nti: “Nnasalawo okunoonyereza okusobola okumanya ekituufu. Nneesomesa enfunda n’enfunda ebyo ebikwata ku njigiriza egamba nti ebintu byajjawo byokka.” Yasoma akatabo Is There a Creator Who Cares About You?, era akatabo ako kaamuyamba nnyo okuba omukakafu nti ddala Katonda gy’ali. Yagamba nti, ‘Kati nkikakasa nti ddala Katonda gy’ali.’ Ate era Ruben bwe yakyala ku kitebe kyaffe ekikulu, yeeyongera okukiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bali bumu era baagalana. Ekyo kyamukwatako nnyo. Ruben bwe yaddayo mu Bugirimaani, yabatizibwa ng’alina emyaka 17. Bw’oba ng’olina by’obuusabuusa ku ebyo by’oyigiriziddwa mu Bayibuli, noonyereza mu bitabo byaffe. ‘Okutegeerera ddala’ amazima kisobola okukuyamba okuggwaamu okubuusabuusa. (Bef. 4:​13, 14) Bw’owulira ebyokulabirako ebiraga engeri abantu ba Yakuwa gye balagaŋŋanamu okwagala era gye bali obumu mu nsi yonna era ekyo n’okiraba ne mu kibiina kyo, ojja kweyongera okusiima oluganda lwe tulina mu nsi yonna.

SAWULO OW’E TALUSO YABATIZIBWA

7. Lwaki Sawulo yalina okukyusa endowooza ye?

7 Lowooza ku Sawulo ow’e Taluso. Yali yayigirizibwa amateeka g’eddiini y’Ekiyudaaya era Bayudaaya banne baali bamussaamu nnyo ekitiibwa. (Bag. 1:​13, 14; Baf. 3:5) Mu kiseera ekyo, Abayudaaya bangi baali batwala Abakristaayo nga bakyewaggula. N’olwekyo, Sawulo yayigganya nnyo Abakristaayo. Mu kukola bw’atyo, yali alowooza nti akola Katonda ky’ayagala. (Bik. 8:3; 9:​1, 2; 26:​9-11) Okusobola okukkiririza mu Yesu era n’abatizibwa, naye kennyini yalina okuba omwetegefu okuyigganyizibwa.

8. (a) Kiki ekyayamba Sawulo okubatizibwa? (b) Okusinziira ku Ebikolwa 22:​12-16, Ananiya yayamba atya Sawulo? (Laba n’ekifaananyi.)

8 Kiki ekyayamba Sawulo Okubatizibwa? Oluvannyuma lwa Yesu okulabikira Sawulo, Sawulo yaziba amaaso. (Bik. 9:​3-9) Yamala ennaku ssatu nga talina ky’alya, era ateekwa okuba nga mu kiseera ekyo yali afumiitiriza ku ebyo ebyali bimutuuseeko. Sawulo yakitegeera nti Yesu ye Masiya era nti abagoberezi be baali basinza Katonda mu ngeri entuufu. Ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo olw’okuwagira okuttibwa kwa Siteefano! (Bik. 22:20) Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, omuyigirizwa eyali ayitibwa Ananiya yagenda gy’ali n’amuzibula amaaso era n’amukubiriza okubatizibwa. (Soma Ebikolwa 22:​12-16.) Olw’okuba Sawulo yali mwetowaaze, yakkiriza ebyo Ananiya bye yamugamba era n’abatizibwa.—Bik. 9:​17, 18.

Sawulo ng’alinnya mu mazzi okubatizibwa. Waliwo abantu batonotono abalaba era basanyufu.

Okufaananako Sawulo, naawe onoobatizibwa? (Laba akatundu 8)


9. Biki bye tuyigira ku Sawulo?

9 Tulina bye tusobola okuyigira ku Sawulo. Yandibadde akkiriza amalala oba okutya abantu okumulemesa okubatizibwa. Naye ekyo teyakikola. Sawulo yali mwetoowaze era yakola enkyukakyuka okusobola okufuuka omugoberezi wa Kristo. (Bik. 26:​14, 19) Yali mwetegefu okufuuka Omukristaayo wadde nga yali akimanyi nti yali ajja kuyigganyizibwa. (Bik. 9:​15, 16; 20:​22, 23) Oluvannyuma lw’okubatizibwa, yeeyongera okwesiga Yakuwa okumuyamba okugumira ebizibu ebitali bimu. (2 Kol. 4:​7-10) Bw’onoobatizibwa n’ofuuka Omujulirwa wa Yakuwa, okukkiriza kwo kuyinza okugezesebwa oba oyinza okufuna ebizibu ebitali bimu. Naye ba mukakafu nti Katonda ne Kristo bajja kukuwa obuyambi bwe weetaaga okusobola okugumiikiriza n’okusigala ng’oli mwesigwa.—Baf. 4:13.

10. Kiki ky’oyigidde ku Anna?

10 Lowooza ku mwannyinaffe Anna eyakulira mu Buvanjuba bwa Bulaaya. Maama we bwe yamala okubatizibwa, naye taata we yamukkiriza okuyiga Bayibuli era mu kiseera ekyo yalina emyaka mwenda. Kyokka ekyo tekyasanyusa ba ŋŋanda ze be baali babeera nabo. Ab’eŋŋanda ze baali bakitwala nti kibi nnyo omuntu okuva mu ddiini ya bajjajjaabe. Anna bwe yaweza emyaka 12, yasaba kitaawe amukkirize okubatizibwa. Kitaawe yamubuuza obanga ekyo Anna ye yali akyesaliddewo oba waliwo omuntu omulala eyali amupikirizza. Anna yamuddamu nti, “Njagala Yakuwa,” era kitaawe yamukkiriza okubatizibwa. Anna bwe yamala okubatizibwa, ab’eŋŋanda ze baamujereganga era baamuyisanga bubi. Omu ku bo yamugamba nti: “Waakiri wandibadde malaaya oba omunywi wa ssigala mu kifo ky’okubeera Omujulirwa wa Yakuwa.” Anna yagumira atya embeera eyo? Agamba nti: “Yakuwa yannyamba okunywera era bazadde bange nabo bannyamba nnyo.” Alina w’awandiika ebintu Yakuwa by’azze amukolera. Buli luvannyuma lwa kiseera atunula ku ebyo bye yawandiika aleme okwerabira engeri Yakuwa gy’azze amuyambamu. Bw’oba otya nti ojja kuyigganyizibwa, kijjukire nti naawe Yakuwa ajja kukuyamba.—Beb. 13:6.

KOLUNEERIYO YABATIZIBWA

11. Kiki ekyali kiyinza okulemesa Koluneeriyo okubatizibwa?

11 Bayibuli eyogera ne ku musajja eyali ayitibwa Koluneeriyo. Yali ‘mukulu w’ekibinja ky’abasirikale’ mu ggye lya Rooma, era yali akulira abasirikale nga 100. (Bik. 10:​1, obugambo obuli wansi.) Yali assibwamu ekitiibwa mu kitundu gye yali abeera ne mu ggye lya Rooma. Bayibuli egamba nti: “Yakoleranga abaavu ebintu ebirungi.” (Bik. 10:2) Yakuwa yatuma omutume Peetero okumubuulira amawulire amalungi. Ebitiibwa Koluneeriyo bye yalina byamuleetera okulonzalonza okubatizibwa?

12. Kiki ekyayamba Koluneeriyo okubatizibwa?

12 Kiki ekyayamba Koluneeriyo okubatizibwa? Bayibuli egamba nti: “Ye n’ab’omu nnyumba ye bonna baali batya Katonda.” Ate era Koluneeriyo yasabanga Katonda obutayosa. (Bik. 10:2) Peetero bwe yabuulira Koluneeriyo amawulire amalungi, ye n’ab’omu nnyumba ye bakkiriza Kristo era ne babatizibwa awatali kulonzalonza. (Bik. 10:​47, 48) Koluneeriyo yali mwetegefu okukola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa asobole okuweereza Yakuwa awamu n’ab’omu maka ge.—Yos. 24:15; Bik. 10:​24, 33.

13. Kiki ky’oyigidde ku Koluneeriyo?

13 Okufaananako Sawulo, Koluneeriyo naye teyakkiriza bitiibwa bye yalina kumulemesa kufuuka Mukristaayo. Naawe weetaaga okubaako enkyukakyuka ez’amaanyi z’okola osobole okubatizibwa? Bwe kiba kityo, Yakuwa ajja kukuyamba. Bw’onooba omumalirivu okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwo okusobola okumuweereza, ajja kukuwa emikisa.

14. Kiki ky’oyigidde ku Tsuyoshi?

14 Tsuyoshi abeera mu Japan, yalina okubaako enkyukakyuka z’akola ku mulimu gwe okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa. Ye yali omumyuka w’omukulu w’essomero eriyitibwa Ikenobo, eritendeka abatimba ebimuli. Omukulu w’essomero ye yateekateekanga ebimuli ebyakozesebwanga mu bulombolombo bw’okuziika obukolebwa ab’enzikiriza ya Budda, era ng’alina n’okwenyigira mu bulombolombo obwo. Bw’ataabangawo, Tsuyoshi ye yalinanga okumukiikirira. Naye Tsuyoshi bwe yayiga ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku mbeera y’abafu, yakiraba nti okwenyigira mu bulombolombo obwo kyandimulemesezza okubatizibwa. N’olwekyo, yasalawo obutaddamu kubwenyigiramu. (2 Kol. 6:​15, 16) Tsuyoshi yayogerako n’omukulu w’essomero ku nsonga eyo. Biki ebyavaamu? Mukama we yamukkiriza obuteenyigira mu bulombolombo obwo era teyamugoba ku mulimu. Tsuyoshi yabatizibwa nga wayise omwaka gumu bukya atandika okuyiga Bayibuli.a Bwe kiba nti waliwo ekyukakyuka ze weetaaga okukola mu mulimu gwo okusobola okukola ekyo Yakuwa ky’ayagala, ba mukakafu nti ajja kukulabirira awamu n’ab’omu maka go.—Zab. 127:2; Mat. 6:33.

ABAKKOLINSO BAABATIZIBWA

15. Biki ebyali bisobola okulemesa Abakkolinso okubatizibwa?

15 Abantu b’omu kibuga ky’e Kkolinso eky’edda baakolanga ebintu ebibi ennyo. Bangi ku bo beenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu era baali baagala nnyo ebintu. Kya lwatu nti tekyali kyangu eri abantu abaali babeera mu kibuga ekyo okutandika okuweereza Yakuwa. Naye omutume Pawulo bwe yabuulira amawulire amalungi agakwata ku Kristo mu kibuga ekyo, “bangi ku Bakkolinso abaawulira amawulire amalungi bakkiriza ne babatizibwa.” (Bik. 18:​7-11) Oluvannyuma Mukama waffe Yesu Kristo yalabikira Pawulo mu kwolesebwa n’amugamba nti: “Nnina abantu bangi mu kibuga kino.” N’olwekyo, Pawulo yeeyongera okubuulira mu kibuga ekyo okumala omwaka gumu n’ekitundu.

16. Kiki ekyayamba abantu b’omu Kkolinso okubatizibwa? (2 Abakkolinso 10:​4, 5)

16 Kiki ekyayamba Abakkolinso okubatizibwa? (Soma 2 Abakkolinso 10:​4, 5.) Ekigambo kya Katonda n’omwoyo gwe omutukuvu, bye byabasobozesa okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe. (Beb. 4:12) Abantu b’omu Kkolinso abakkiriza amawulire amalungi agakwata ku Kristo baasobola okulekayo emize emibi gamba ng’obutamiivu, obubbi, n’okulya ebisiyaga.—1 Kol. 6:​9-11.b

17. Kiki ky’oyigidde ku Bakkolinso?

17 Weetegereze nti wadde ng’abamu ku Bakkolinso baali beenyigira mu mize egitaali myangu kulekayo, tebaakitwala nti baali tebasobola kuleka mize egyo okusobola okufuuka Abakristaayo. Baafuba nnyo okukola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa okusobola okutambulira mu kkubo ery’akanyigo erigenda mu bulamu obutaggwaawo. (Mat. 7:​13, 14) Olina omuze gw’ofuba okwekutulako osobole okubatizibwa? Bwe kiba kityo, toggwaamu maanyi! Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okulwanyisa okwegomba okubi.

18. Kiki ky’oyigidde ku mwannyinaffe Monika?

18 Mwannyinaffe Monika, abeera mu Georgia, yafuba nnyo okulekayo enjogera embi n’eby’okwesanyusaamu ebitasaana okusobola okubatizibwa. Agamba nti: “Bwe nnali mu myaka egy’obutiini okusaba kwannyamba nnyo. Yakuwa yali akimanyi nti nnali njagala okukola ekituufu, era bulijjo yannyambanga era yampanga obulagirizi.” Monika yabatizibwa ng’alina emyaka 16. Waliwo emize gye weetaaga okwekutulako osobole okuweereza Yakuwa mu ngeri gy’asiima? Bwe kiba kityo, weeyongere okumusaba akuwe amaanyi osobole okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. Yakuwa awa omwoyo gwe omutukuvu abo abagumusaba.—Yok. 3:34.

OKUKKIRIZA KUSOBOLA OKUKUYAMBA OKUVVUUNUKA EBIZIBU EBIRINGA ENSOZI

19. Kiki ekinaakuyamba okuvvuunuka ebizibu ebiringa ensozi? (Laba n’ekifaananyi.)

19 Ba mukakafu nti Yakuwa akwagala era ayagala obeere omu ku baweereza be. Ekyo kisoboka k’obe nga weetaaga okukola enkyukakyuka ez’amaanyi okusobola okubatizibwa. Yesu yagamba abamu ku bayigirizwa be nti: “Singa muba n’okukkiriza okwenkana akaweke ka kalidaali, mujja kugamba olusozi luno nti, ‘Va wano odde wali,’ era lujja kuvaawo, era tewali kijja kubalema.” (Mat. 17:20) Abo be yali ayogera nabo baali bamaze naye emyaka mitono. N’olwekyo, okukkiriza kwabwe kwali kukyakula. Naye Yesu yabagamba nti bwe bandinywezezza okukkiriza kwabwe, Yakuwa yandibasobozesezza okuvvuunuka ebizibu ebiringa ensozi. Naawe Yakuwa ajja kukuyamba okukola kye kimu!

Ab’oluganda ne bannyinaffe ku lukuŋŋaana olunene basanyufu era bakuba mu mu ngalo ng’abava okubatizibwa bayitawo.

Beera mukakafu nti Yakuwa akwagala era nti ayagala obeere omu ku b’omu maka ge (Laba akatundu 19)c


20. Ebyokulabirako by’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka n’ab’omu kiseera kino bikukutteko bitya?

20 Singa okiraba nti waliwo ebikulemesa okubatizibwa, baako ky’okolawo mu bwangu okubivvuunuka. Baako ky’oyigira ku Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka n’ab’omu kiseera kino. Okufumiitiriza ku kyokulabirako kyabwe kijja kukuyamba okwewaayo eri Yakuwa era obatizibwe. Ekyo kye kintu ekisingayo obulungi mu byonna by’oyinza okusalawo!

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Abasamaliya bavvuunuka batya ebyali bibalemesa okubatizibwa?

  • Sawulo ow’e Taluso ne Koluneeriyo bavvuunuka batya ebyali bibalemesa okubatizibwa?

  • Abakkolinso bavvuunuka batya ebyali bibalemesa okubatizibwa?

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

a Ebyafaayo by’ow’oluganda Tsuyoshi Fujii bisangibwa mu Awake! eya Agusito 8, 2005, lup. 20-23.

b Laba ku jw.org/lg. vidiyo ‘Kiki Ekikulemesa Okubatizibwa?’

c EKIFAANANYI: Baganda baffe ne bannyinaffe nga baaniriza abo abava okubatizibwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza