Ennyanjula
Wandyagadde okubeera mu nsi omutali ntalo? Bangi bandyagadde, naye bawulira nti ekyo tekisoboka. Bayibuli eraga ensonga lwaki abantu tebasobola kumalawo ntalo. Ate era eraga ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti ensi esobola okubaamu emirembe era nti ekyo kinaatera okubaawo.
Mu magazini eno ekigambo “entalo” kitegeeza okulwanagana okubaawo wakati w’amawanga oba ebibiina by’eby’obufuzi. Amannya agamu gakyusiddwa.