Amagezi Bayibuli g’Ewa ku Kituufu n’Ekikyamu Gasobola Okutuyamba
Weetegereze engeri Bayibuli gy’eyambyemu abantu bukadde na bukadde mu bintu bina.
1. Obufumbo
Abantu balina endowooza ez’enjawulo ku bufumbo ne ku ekyo ekisobozesa obufumbo okubaamu essanyu.
BAYIBULI EGAMBA NTI: “Buli omu ku mmwe agwanidde okwagalanga mukyala we nga bwe yeeyagala kennyini; n’omukyala asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.”—Abeefeso 5:33.
KYE KITEGEEZA: Katonda ye yatandikawo obufumbo, n’olwekyo amanyi ekyo omwami n’omukyala kye balina okukola obufumbo bwabwe okusobola okubaamu essanyu. (Makko 10:6-9) Omwami n’omukyala buli omu bw’afaayo ku byetaago bya munne, obufumbo bwabwe bubaamu essanyu. Omwami ayagala mukyala we amulabirira era amuyisa mu ngeri ey’ekisa. Era n’omukyala assaamu omwami we ekitiibwa, amuwagira era ayogera naye mu ngeri eraga nti amussaamu ekitiibwa.
AMAGEZI AGALI MU BAYIBULI GAKOLA: Quang ne Thi ababeera mu Vietnam, baali balowooza nti obufumbo bwabwe tebusobola kubaamu ssanyu. Quang teyayisanga mukyala we mu ngeri ey’ekisa. Agamba nti: “Saafangayo ku nneewulira za Thi, era emirundi mingi nnamuswazanga.” Thi yali ayagala tugattululwe. Thi agamba nti: “Nnawulira nga sikyasobola kwesiga mwami wange oba okumussaamu ekitiibwa.”
Oluvannyuma, Quang ne Thi baamanya ekyo Bayibuli ky’eyigiriza era n’engeri y’okukolera ku Abeefeso 5:33 mu bufumbo bwabwe. Quang agamba nti: “Ekyawandiikibwa ekyo kyannyamba okukiraba nti nnina okuba ow’ekisa eri Thi, okumwagala, okumulabirira, era n’okufaayo ku nneewulira ze. Ekyo bwe nkikola, Thi yeeyongera okundaga okwagala n’okumpa ekitiibwa.” Thi agamba nti: “Gye nkoma okukolera ku magezi agali mu Abeefeso 5:33 ne nzisaamu omwami wange ekitiibwa, gy’akoma okunjagala era mpulira nga nnina obukuumi n’emirembe.”
Okumanya ebisingawo ebikwata ku bufumbo, soma Zuukuka! Na. 2 2018, erina omutwe “Ebintu 12 Ebisobozesa Amaka Okuba Amanywevu” ku jw.org/lg.
2. Engeri y’Okuyisaamu Abalala
Abantu batera okuyisa obubi bannaabwe olwa langi yaabwe, eggwanga, endabika yaabwe, eddiini, oba endowooza ez’enjawulo ze baba nazo ku kwegatta.
BAYIBULI EGAMBA NTI: “Muwenga abantu aba buli ngeri ekitiibwa.”—1 Peetero 2:17.
KYE KITEGEEZA: Bayibuli teyigiriza kusosola bantu olwa langi yaabwe, eggwanga, oba okusosola abalyi b’ebisiyaga. Mu kifo ky’ekyo, etukubiriza okuwa abantu bonna ekitiibwa, ka babe baavu oba bagagga, ba langi ki, oba ggwanga ki. (Ebikolwa 10:34) Tulina okuyisa abantu bonna mu ngeri ey’ekisa era ne tubawa ekitiibwa, ne bwe kiba nti enzikiriza zaabwe n’enneeyisa yaabwe bya njawulo ku byaffe.—Matayo 7:12.
AMAGEZI AGALI MU BAYIBULI GAKOLA: Daniel yagambibwa okutwala abantu abava mu nsi z’omu Asiya ng’ab’obulabe eri ensi ye. N’ekyavaamu, yakyawa abantu bonna abaali bava mu nsi za Asiya era yabavumiranga mu lujjudde. Agamba nti: “Nnalowoozanga nti nnali nnwanirira nsi yange, era endowooza yange n’enneeyisa yange nnali sibitwala nti bibi.”
Oluvannyuma Daniel yamanya ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. Agamba nti: “NnaIina okukyusiza ddala endowooza yange. Nnalina okutunuulira abantu nga Katonda bw’abatunuulira. Katonda talina muntu yenna gw’asosola, k’abe ng’ava mu nsi ki.” Daniel era agamba nti: “Kati bwe nsanga abantu, sirowooza na gye bava. Njagala abantu bonna, era nnina emikwano mu bitundu ebitali bimu eby’ensi.”
Okumanya ebisingawo, soma, Zuukuka! Na. 3 2020, erina omutwe, “Waliwo Ekiyinza Okumalawo Obusosoze?” ku jw.org/lg.
3. Ssente
Abantu bangi baluubirira okuba abagagga basobole okuba abasanyufu n’okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.
BAYIBULI EGAMBA NTI: “Amagezi kya bukuumi nga ne ssente bwe ziri eky’obukuumi, naye ensonga lwaki okumanya kwe kusinga okuba okw’omugaso y’eno: Amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.”—Omubuulizi 7:12.
KYE KITEGEEZA: Ssente tuzeetaaga, naye tetusobola kuba bakakafu nti zijja kutuyamba okuba abasanyufu oba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. (Engero 18:11; 23:4, 5) Okukolera ku magezi agava eri Katonda agasangibwa mu Bayibuli, kye kiviirako omuntu okufuna essanyu erya nnamaddala n’okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.—1 Timoseewo 6:17-19.
AMAGEZI AGALI MU BAYIBULI GAKOLA: Cardo abeera mu Indonesia, yakola nnyo okusobola okugaggawala. Yagamba nti: “Nnalina buli kimu abantu kye beegomba. Nnagendanga yonna gye nnayagalanga, nnagula amamotoka, amayumba, n’ebintu ebirala eby’ebbeeyi.” Ekiseera kyatuuka ssente Cardo ze yalina ne ziggwaawo. Yagamba nti: “Omuntu yabba ssente zange era okutemya n’okuzibula nga ssente zonna ze nnali nkoledde okumala emyaka mingi ziweddewo. Nnamala emyaka mingi nga nkola n’amaanyi okusobola okugaggawala, naye ku nkomerero, nnasigala sirina kintu kyonna era nnatandika okuwulira nga sirina mugaso.”
Cardo yatandika okukolera ku magezi Bayibuli g’ewa ku ssente. Kati amaanyi ge takyagamalira ku kunoonya bya bugagga. Agamba nti: “Kati mpulira nnina eby’obugagga ebya nnamaddala, kubanga nnina enkolagana ennungi ne Katonda. Nneebaka otulo, era nnina essanyu erya nnamaddala.”
Okumanya ebisingawo ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ssente laba ekitundu, “Obuyigirize Obwa Waggulu ne Ssente Binaakuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?” mu Omunaala gw’Omukuumi Na. 3 2021, ku jw.org/lg.
4. Okwegatta
Abantu balina endowooza ez’enjawulo ku kwegatta ki okukkirizibwa.
BAYIBULI EGAMBA NTI: “Mwewale ebikolwa eby’obugwenyufu. Buli omu ku mmwe agwanidde okumanya engeri y’okufugamu omubiri gwe mu butukuvu ne mu kitiibwa, nga temululunkanira bikolwa bya kwegatta ng’amawanga agatamanyi Katonda bwe gakola.”—1 Abasessalonika 4:3-5.
KYE KITEGEEZA: Bayibuli etuteerawo ekkomo ku ngeri gye tulina okukkusaamu okwegomba kwaffe okw’okwegatta. Ekigambo “obugwenyufu” kizingiramu obwenzi, obwamalaaya, okwegatta okubaawo wakati w’abantu abatali bufumbo, okulya ebisiyaga, n’okwegatta n’ensolo. (1 Abakkolinso 6:9, 10) Okwegatta kirabo okuva eri Katonda, era ayagala kubeewo wakati w’omusajja n’omukazi abafumbiriganiddwa mu mateeka.—Engero 5:18, 19.
AMAGEZI AGALI MU BAYIBULI GAKOLA: Omukyala ayitibwa Kylie abeera mu Australia agamba nti: “Nnalowooza nti bwe nnandyenyigidde mu bikolwa eby’okwegatta nga siri mufumbo, nnandiwulidde nga nnina obukuumi era nti njagalibwa. Naye ekyo si bwe kyali. Bwe nnabyenyigiramu nnatandika okuwulira nga sirina bukuumi era nnamenyeka omutima.”
Oluvannyuma, Kylie yayiga Bayibuli era n’atandika okukolera ku ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku kwegatta. Yagamba nti: “Nkiraba nti emisingi gya Katonda giriwo kutukuuma, n’okutuwonya ebizibu. Kati mpulira nnina obukuumi era njagalibwa, olw’okuba nkola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala. Okukolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli kimponyezza ebizibu bingi!”
Okumanya ebisingawo soma ekitundu, “Bayibuli Eyogera ki ku Musajja n’Omukazi Okubeera Bombi nga si Bafumbo?” ku jw.org/lg
Omutonzi waffe atuyamba okumanya ekituufu n’ekikyamu. Wadde ng’oluusi kiyinza obutaba kyangu kunywerera ku mitindo gye egy’empisa, bwe tuginywererako tuganyulwa. Tuba bakakafu nti tujja kufuna essanyu ery’olubeerera.