LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w21 Okitobba lup. 14-17
  • Engeri gy’Oyinza Okuddamu Okuzimba Enkolagana Yo ne Yakuwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Engeri gy’Oyinza Okuddamu Okuzimba Enkolagana Yo ne Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • OKUSOOMOOZA KW’OYINZA OKWOLEKAGANA NAKWO
  • WEETEEREWO EBIRUUBIRIRWA BY’OSOBOLA OKUTUUKAKO
  • TOGGWAAMU MAANYI!
  • ‘Yita Abakadde’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Yakuwa Akutwala ng’Oli wa Muwendo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Abakadde—Mweyongere Okukoppa Omutume Pawulo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Toli Wekka, Yakuwa Ali Naawe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
w21 Okitobba lup. 14-17
Ow’oluganda awulira ng’asobodde bw’alowooza ku biseera n’amaanyi ebyetaagisa okuzzaawo ennyumba ye esaanyeewo.

Engeri gy’Oyinza Okuddamu Okuzimba Enkolagana Yo ne Yakuwa

BULI mwaka, abantu bangi bakomezebwawo mu kibiina kya Yakuwa. Lowooza ku ‘ssanyu eringi eriba mu ggulu’ omuntu bw’akomawo eri Yakuwa! (Luk. 15:7, 10) Bw’oba nga wakomezebwawo mu kibiina, beera mukakafu nti ekyo kyasanyusa nnyo Yesu, bamalayika, awamu ne Yakuwa. Kyokka, ng’ofuba okuddamu okuzimba enkolagana yo ne Yakuwa, oyinza okwolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Okumu ku kusoomooza okwo kwe kuliwa, era kiki ekisobola okukuyamba?

OKUSOOMOOZA KW’OYINZA OKWOLEKAGANA NAKWO

Bangi basigala balumirizibwa omuntu waabwe ow’omunda oluvannyuma lw’okukomezebwawo mu kibiina. Lowooza ku Kabaka Dawudi. N’oluvannyuma lwa Yakuwa okumusonyiwa ebibi bye, yagamba nti: “Ensobi zange ennyingi zinsukkiriddeko.” (Zab. 40:12; 65:3) Mu ngeri y’emu, omuntu bw’akomezebwawo mu kibiina, omuntu we ow’omunda ayinza okusigala ng’amulumiriza oba ayinza okusigala ng’awulira obuswavu okumala emyaka mingi. Isabelle,a eyamala emyaka 20 nga mugobe yagamba nti, “Nnakisanga nga kizibu nnyo okukikkiriza nti Yakuwa yansonyiwa.” Bw’oggwaamu amaanyi, ate oyinza okuddamu okuddirira mu by’omwoyo. (Nge. 24:10) Ekyo tokikkiriza kukutuukako.

Abalala batya nti bayinza obutasobola kukola byonna ebyetaagisa okusobola okuzzaawo enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Oluvannyuma lw’okukomezebwawo mu kibiina, Antoine agamba nti: “Nnawulira ng’eyali yeerabidde byonna bye nnakolanga ng’Omukristaayo.” Enneewulira ng’eyo, eyinza okulemesa omuntu okwenyigira mu bujjuvu mu nteekateeka ez’eby’omwoyo.

Ng’ekyokulabirako, omuntu alina ennyumba ye eyonooneddwa ennyo oluvannyuma lw’akatyabaga okugwawo, bw’alowooza ku biseera n’amaanyi ebyetaagisa okusobola okugizzaawo, ayinza okuwulira ng’aweddemu amaanyi. Mu ngeri y’emu, bw’oba nga wakola ekibi eky’amaanyi ekyaviirako enkolagana yo ne Yakuwa okwonooneka, oyinza okuwulira nga kijja kukwetaagisa okufuba ennyo okusobola okuzzaawo enkolagana yo ne Yakuwa. Naye Yakuwa asobola okukuyamba.

Yakuwa atukubiriza nti: “Kaakano mujje tutereeze ensonga.” (Is. 1:18) Olina bingi by’okoze okusobola ‘okutereeza’ ensonga wakati wo ne Yakuwa. Era Yakuwa musanyufu nnyo olw’okufuba kw’okoze. Kirowoozeeko: Owadde Yakuwa eky’okuddamu eri Sitaani amusoomooza.​—Nge. 27:11.

Bw’okomyewo eri Yakuwa, kiraze nti ofuba okumusemberera, era asuubiza nti naye ajja kukusemberera. (Yak. 4:8) N’abalala basanyufu okulaba nti okomyewo mu kibiina. Naye ekyo tekimala. Kikwetaagisa okwongera okunyweza enkolagana yo ne Kitaawo ow’omu ggulu, Yakuwa. Ekyo oyinza kukikola otya?

WEETEEREWO EBIRUUBIRIRWA BY’OSOBOLA OKUTUUKAKO

Oyinza okuba ng’okyajjukira ebintu bye wayiga ebikwata ku Yakuwa ne ku bisuubizo bye ebikwata ku biseera eby’omu maaso. Naye kati weetaaga okuddamu okwenyigira mu bujjuvu mu bintu eby’omwoyo, gamba ng’okubuulira amawulire amalungi, okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, n’okubeerako awamu ne bakkiriza banno. Oyinza okweteerawo ebiruubirirwa nga bino.

Yogera ne Yakuwa buli lunaku. Kitaawo ow’omu ggulu akimanyi nti bw’oba ng’okyalumirizibwa omutima olw’ekibi kye wakola, kiyinza okukubeerera ekizibu okumusaba. (Bar. 8:26) Wadde kiri kityo, ‘nyiikirira okusaba,’ ng’otegeeza Yakuwa nti oyagala nnyo okuzzaawo enkolagana yo naye. (Bar. 12:12) Andrej agamba nti: “Omuntu wange ow’omunda yannumirizanga nnyo, era nnawuliranga obuswavu. Naye buli luvannyuma lw’okusaba, nnawuliranga ng’enneewulira eyo egenda ekendeera. Nneeyongeranga okuwulira emirembe.” Bw’oba tomanyi kya kwogerako ng’osaba, lowooza ku ssaala za Kabaka Dawudi eziri mu Zabbuli 51 ne 65.

Soma Bayibuli buli lunaku. Ekyo kijja kunyweza okukkiriza kwo era kikuyambe okweyongera okwagala Yakuwa. (Zab. 19:7-11) Felipe agamba nti: “Obutaba na nteekateeka ey’eby’omwoyo kye kyanviirako okunafuwa mu by’omwoyo ne ntuuka n’okukola ekibi eky’amaanyi. Nnali saagala kuddamu kukola nsobi eyo, bwe kityo nneeteerawo enteekateeka ey’okwesomesa obutayosa.” Naawe oyinza okukola kye kimu. Bw’oba ayagala okumanya ebintu by’oyinza okusomako, osobola okwebuuza ku mukwano gwo omukulu mu by’omwoyo akuyambe.

Zzaawo enkolagana yo ne bakkiriza banno. Abamu abakomawo mu kibiina batya nti abalala bayinza obutabasembeza. Larissa agamba nti: “Nnawulira obuswavu. Nnawulira ng’eyali aliddemu baganda bange ne bannyinaze mu kibiina olukwe. Enneewulira eyo nnagirina okumala ekiseera kiwanvu.” Beera mukakafu nti abakadde mu kibiina ne bakkiriza banno abakulu mu by’omwoyo baagala nnyo okukuyamba okuddamu okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa. (Laba akasanduuko, “Kiki Abakadde Kye Bayinza Okukola?”) Basanyufu okukiraba nti okomyewo mu kibiina era baagala obe musanyufu!​—Nge. 17:17.

Kiki ekiyinza okukuyamba okunyweza enkolagana yo ne bakkiriza banno? Weenyigire mu bujjuvu mu bintu bakkiriza banno bye bakola mu kibiina, gamba ng’okubaawo mu nkuŋŋaana n’okubuulira obutayosa. Ekyo kinaakuyamba kitya? Felix agamba nti: “Ab’oluganda baasanyuka nnyo bwe nnakomawo mu kibiina. Bandeetera okuwulira nti ndi wa muwendo era bandeetera akuddamu okuwulira nti ndi omu ku b’omu kibiina, nti Yakuwa yali asonyiye, era nti nsobola okweyongera okumuweereza.”​—Laba akasanduuko, “Kiki ky’Oyinza Okukola?”

Kiki ky’Oyinza Okukola?

Ddamu okwenyigira mu bujjuvu mu nteekateeka ez’eby’omwoyo

Omukadde ng’asabira wamu n’ow’oluganda akomyewo eri Yakuwa.

SABA YAKUWA OBUTAYOSA

Tegeeza Yakuwa nti oyagala nnyo okunyweza enkolagana yo naye. Abakadde nabo bajja kukusabira era bajja kusabira wamu naawe

Omukadde ng’asomera wamu n’ow’oluganda akatabo “Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa.”

SOMA BAYIBULI OBUTAYOSA

Beera n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa. Ekyo kijja kukuyamba okweyongera okwagala Yakuwa

Ow’oluganda ng’anyumya n’ab’oluganda abalala mu kibiina mu kiseera eky’okwesanyusaamu.

NYWEZA ENKOLAGANA YO NE BAKKIRIZA BANNO

Weenyigire mu bujjuvu mu bintu ebikolebwa mu kibiina, gamba ng’okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira

TOGGWAAMU MAANYI!

Sitaani ajja kweyongera okukuleetera ebizibu, ng’ayagala okugezaako okukulemesa okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa. (Luk. 4:13) Kola kyonna ekisoboka okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa kati.

Ng’ayogera ku ndiga ze, Yakuwa agamba nti: “Ebuze nja kuginoonya, ewabye nja kugikomyawo, efunye ekisago nja kugisiba, era n’enafuye nja kugizzaamu amaanyi.” (Ezk. 34:16) Yakuwa ayambye abalala bangi okuzzaawo enkolagana yaabwe naye. Beera mukakafu nti ayagala okukuyamba okweyongera okunyweza enkolagana yo naye.

Kiki Abakadde Kye Bayinza Okukola?

Omukadde ng’ayamba ow’oluganda okuddamu okuzimba ennyumba ye eyali essaanyeewo.

Abakadde balina kinene kye basobola okukola okuyamba abo ababa bakomezeddwawo mu kibiina okuddamu okuzimba enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Ka tulabe bye basobola okukola okubayamba.

Mubakakase nti baagalibwa. Omutume Pawulo yali akimanyi nti omuntu aba yeenenyezza asobola okuggwaamu amaanyi “olw’okunakuwala ennyo.” (2 Kol. 2:7) Asobola okuwulira obuswavu olw’ekibi kye yakola. Pawulo yagamba ekibiina nti: “Mubeere beetegefu okumusonyiwa n’okumubudaabuda.” Abo ababa bakomezeddwawo mu kibiina beetaaga okukakasibwa nti Yakuwa awamu ne bakkiriza bannaabwe babaagala nnyo. Ab’omu kibiina bwe beeyongera okubasiima n’okubayamba mu ngeri ezitali zimu, kiyinza okubayamba obutaggwaamu maanyi.

Musabire wamu nabo. Bayibuli egamba nti: “Okusaba kw’omutuukirivu kulina amaanyi mangi.” (Yak. 5:16) Larissa, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Nnabuulira abakadde ebyali binneeraliikiriza. Bansabira era baasabira wamu nange. Ekyo kyannyamba okukimanya nti abakadde baali tebannyiigidde. Baali baagala kunnyamba okuzzaawo enkolagana yange ne Yakuwa.” Theo agamba nti: “Abakadde bwe bansabira, kyandaga nti Yakuwa anjagala nnyo era andabamu birungi.”

Mubafuule mikwano gyammwe. Abo ababa bakomezeddwawo mu kibiina baba beetaaga emikwano. Omukadde ayitibwa Justin agamba nti: “Kirungi okufunangayo akadde okugenda nabo mu kubuulira, era n’ekisinga obukulu, okubakyalirako mu maka gaabwe. Baba beetaaga nnyo emikwano!” Omukadde omulala ayitibwa Henry agamba nti: “Abalala mu kibiina bwe balaba ng’abalala bafuba okufuula abo abaakomezebwawo mu kibiina mikwano gyabwe, nabo bajja kugezaako okukola kye kimu.”

Mubayambe okuba n’enteekateeka ey’okwesomesa. Mukwano gw’oyo eyakomezebwawo mu kibiina omukulu mu by’omwoyo, asobola okumuyamba okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa. Omukadde ayitibwa Darko agamba nti: “Bwe mba nnyumyako n’oyo eyakomezebwawo mu kibiina, mmubuulirako ku ebyo bye nnayize nga nneesomesa, era ne mmulaga nti nnyumirwa nnyo okusoma Bayibuli. Ate era nkola enteekateeka ne tubaako bye tusomera awamu.” Omukadde omulala ayitibwa Clayton agamba nti: “Mbakubiriza okusoma ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaayitako mu mbeera efaanana n’eyaabwe era n’okubaako bye babayigirako.”

Mubakyalireko okubazzaamu amaanyi. Abo ababa baakomezebwawo mu kibiina bayinza okuba nga batwala abakadde ng’abalamuzi. Naye kati baba beetaaga nnyo okutwala abakadde ng’abasumba. (Yer. 23:4) N’olwekyo mubawulirize bulungi era mubasiime. Mufube okuwuliziganyanga nabo. Weetegereze omukadde omu ayitibwa Marcus ky’agamba nti kye bakola nga bakyalidde oyo eyakomezebwawo mu kibiina okumuzzaamu amaanyi. Agamba nti: “Tubasomera Ebyawandiikibwa, tubasiima, era ne tubakakasa nti tuli basanyufu nnyo okulaba nti baafuba okukomawo eri Yakuwa, era nti ne Yakuwa musanyufu nnyo. Nga tetunnaba kubasiibula, tussaawo olunaku olulala olw’okuddamu okubakyalira.”

a Amanya mu kitundu kino gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza