LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb26 Maaki lup. 11-16
  • Apuli 13-19

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Apuli 13-19
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2026
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2026
mwb26 Maaki lup. 11-16

APULI 13-19

ISAAYA 52-53

Oluyimba 18 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

[Ekifaananyi ku ddiba]

Yesu nga bagenda okumukomerera

1. Yesu Yayoleka Okwagala Kungi

(Ddak. 10)

Isaaya yagamba nti Yesu yandinyoomeddwa (Is 53:3; Mat 26:​67, 68; w10 11/15 lup. 7 ¶2)

Yesu yandikkiriza okubonyaabonyezebwa (Is 53:7; w19.02 lup. 11 ¶15)

Okwagala kwaleetera Yesu okwewaayo okubonyaabonyezebwa asobole okutuukiriza ekigendererwa kya Katonda, n’okuwaayo obulamu bwe olw’ebibi byaffe (Is 53:​10-12; Yok 14:31; 15:13)

Yesu abikkiddwa ku maaso era abakulu b’eddini bamwetoolodde. Omu ku bakulu b’eddini amukuba ekikonde ng’eno abalala bwe bamujerega.

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Is 52:11—Ebyogerwako mu lunyiriri olwo bikwata bitya ku Bakristaayo? (it “Ebintu Bya Yakuwa” ¶2)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

(Ddak. 4) Is 53:​3-12 (th essomo 10)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Mutegeeze ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli (lmd essomo 4 akatundu 4)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Buulira omuntu ng’okozesa ekimu ku ebyo ebiri mu ebyongerezeddwako A, mu katabo Yoleka Okwagala. (lmd essomo 3 akatundu 3)

6. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 5) WAMUSANGA NNYUMBA KU NNYUMBA. Buulira omuntu eyajja ku mukolo gw’Ekijjukizo ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli. (lmd essomo 8 akatundu 3)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 20

7. Beera Mukwano gwa Yakuwa—Ekikolwa Ekisingayo Ekyoleka Okwagala

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Ekifaananyi okuva mu vidiyo “Beera Mukwano gwa Yakuwa​​—⁠Ekikolwa Ekisingayo Ekyoleka Okwagala.” Yesu ng’afuga nga Kabaka mu ggulu.

Mulabe VIDIYO. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Lwaki tuyinza okugamba nti ssaddaaka ya Yesu kirabo?

  • Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ssaddaaka ya Yesu?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) lfb essomo 76-77

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 57 n’Okusaba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza