LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb25 Maaki lup. 12-13
  • April 21-27

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • April 21-27
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2025
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2025
mwb25 Maaki lup. 12-13

APULI 21-27

ENGERO 10

Oluyimba 76 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Tuyinza Tutya Okufuna Essanyu Erya Nnamaddala mu Bulamu?

(Ddak. 10)

Ekimu ku ebyo ebitusobozesa okufuna essanyu mu bulamu kwe kuba abanyiikivu mu kuyamba abantu okumanya ebikwata ku Yakuwa(Nge 10:4, 5; w01-E 7/15 lup. 25 ¶1-3)

Okuba omutuukirivu kisinga okuba n’eby’obugagga (Nge 10:15, 16; w01-E 9/15 lup. 24 ¶3-4)

Emikisa gya Yakuwa gye gireetera omuntu okuba n’essanyu erya nnamaddala (Nge 10:22; it-1-E lup. 340)

Bannyinaffe ku lukuŋŋaana olunene nga beegudde mu kafuba.

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Nge 10:22—Lwaki ekyawandiikibwa ekyo kigamba nti omukisa gwa Yakuwa “tagugattako bulumi” ate ng’abaweereza be bafuna ebizibu bingi? (w06 6/1 lup. 17 ¶18)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

(Ddak. 4) Nge 10:1-19 (th essomo 10)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Omuntu akugamba nti takkiririza mu Katonda. (lmd essomo 4 akatundu 3)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Mulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. (lmd essomo 4 akatundu 4)

6. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Laga omuntu engeri gy’ayinza okuzuulamu ebintu ebiyinza okumukwatako ku jw.org (lmd essomo 9 akatundu 4)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 111

7. Mikisa Ki Egigaggawaza Abaweereza ba Katonda?

(Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo.

Emikisa Yakuwa gy’awa abaweereza be mu nnaku zino enzibu gituyamba okweyongera okumuweereza n’okuba abasanyufu. (Zb 4:3; Nge 10:22) Musome ebyawandiikibwa bino wammanga, oluvannyuma obuuze abawuliriza engeri emikisa gya Yakuwa gye gitugaggawazaamu.

  • Is 65:13

  • Luk 11:13

  • Yok 13:35

Abamu basobodde okugaziya ku buweereza bwabwe ne bongera okuba abasanyufu.

Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Abavubuka​​—Mutambulire mu Kkubo Erinaabayamba Okufuna Emirembe!” 1. Harley. 2. Anjil. 3. Carlee.

Mulabe VIDIYO Abavubuka​—Mutambulire mu Kkubo Erinaabayamba Okufuna Emirembe! Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Biki by’oyigidde ku Harley, Anjil, ne Carlee?

8. Lipoota y’Ekitongole Ekikola ogw’Okuzimba Eya 2025

(Ddak. 8) Okwogera. Mulabe VIDIYO.

9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 25 ¶8-13, akasanduuko ku lup. 229

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 115 n’Okusaba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza