LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb23 Ssebutemba lup. 13
  • Yamba Abo Abatettanira bya Ddiini Okumanya Omutonzi Waabwe

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yamba Abo Abatettanira bya Ddiini Okumanya Omutonzi Waabwe
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Laba Ebirala
  • Okutuuka ku Mitima gy’Abo Abatalina Ddiini
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Kozesa Bulungi Ebyo bye Tukozesa Okuyigiriza Abantu Bayibuli
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Okuyigiriza Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Funa Obukakafu
    Zuukuka!—2021
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
mwb23 Ssebutemba lup. 13
Mwannyinaffe ng’abuulira omukazi.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yamba Abo Abatettanira bya Ddiini Okumanya Omutonzi Waabwe

Ofunamu enkenyera okubuulira abantu abatettanira bya ddiini ng’olowooza nti bayinza obutakuwuliriza? Bwe kiba kityo, kijjukire nti abantu bangi abaali batettanira bya ddiini nga mw’otwalidde n’abo abaali batakkiriza nti eriyo Katonda, bafuuse Abajulirwa ba Yakuwa. Ebiseera ebisinga kye baali beetaaga kwe kubayamba okufuna obukakafu obulaga nti Katonda gyali.​—Bar 1:20; 10:14.

MULABE VIDIYO KIJJUKIRE NTI ABANTU ABATALINA KUKKIRIZA BASOBOLA OKUFUNA OKUKKIRIZA!​—ABANTU ABATETTANIRA BYA DDIINI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EKIBUUZO KINO:

Ekyokulabirako kya Tommaso kisobola kitya okukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu okubuulira abantu abatettanira bya ddiini?

Engeri y’okukikolamu

Omuntu bw’akugamba nti takkiririza mu Katonda, beera wa kisa, yogera naye mu ngeri ey’amagezi, era bwe muba mukubaganya ebirowoozo kirage nti ofaayo ku ndowooza ye ne ku nneewulira ye. (2Ti 2:24) Kubaganya naye ebirowoozo ku nsonga eziyinza okumusikiriza. Mwetegefu okukubaganya ebirowoozo ku bukakafu obuleetedde abantu bangi okukkiriza nti eriyo Omutonzi? Bwe kiba bwe kityo, kozesa ebitabo ne vidiyo ebitegekeddwa okuyamba abantu ku nsonga eyo. Brocuwa Was Life Created? ne The Origin of Life​—Five Questions Worth Asking bigattiddwa ku ebyo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli okutuyamba okubifuna amangu.

Mu kusooka oyinza okutya okukubaganya ebirowoozo n’omuntu atakkiriza nti eriyo Katonda. Lwaki tosaba omubuulizi alina obumanyirivu okukuyamba? Ate era, kijjukire nti Yakuwa asobola okutuyamba okutuuka ku mitima gy’abo abalina endowooza ennuŋŋamu, ne bwe kiba nti mu kusooka baali tebakkiriza nti Katonda gyali.​—Bik 13:48.

Brocuwa “Was Life Created?”
Brocuwa “The Origin of Life​—Five Questions Worth Asking.”
    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza