LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb23 Ssebutemba lup. 7
  • Abasumba Abakola Ennyo Okuyamba Abantu ba Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Abasumba Abakola Ennyo Okuyamba Abantu ba Katonda
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Laba Ebirala
  • ‘Yita Abakadde’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Engeri Abakadde Gye Bayinza Okulaga Aboonoonyi Okwagala n’Obusaasizi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Ab’Oluganda​—⁠Muluubirira Okuweereza ng’Abakadde mu Kibiina?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Abasumba, Mukoppe Abasumba Abasinga Obukulu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
mwb23 Ssebutemba lup. 7

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abasumba Abakola Ennyo Okuyamba Abantu ba Katonda

Abantu bangi tebeesiga abo abali mu buyinza. Lwaki kiri bwe kityo? Olw’okuba abantu bangi ababa mu buyinza bakozesa bubi obuyinza bwabwe nga baagala okwekkusa. (Mi 7:3) Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti abakadde mu kibiina batendekeddwa okukozesa obuyinza bwabwe okuyamba abantu ba Yakuwa!​—Es 10:3; Mat 20:​25, 26.

Obutafaananako ab’obuyinza mu nsi, abakadde mu kibiina bakola omulimu gwabwe ogw’okulabirira abantu ba Yakuwa, olw’okuba baagala Yakuwa n’abantu be. (Yok 21:16; 1Pe 5:​1-3) Nga bakolera wansi w’obulagirizi bwa Yesu, abakadde bayamba buli mubuulizi mu kibiina okuwulira nti wa mu maka ga Yakuwa era n’okumuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Bazzaamu endiga za Yakuwa amaanyi, era basitukiramu okuyamba abo ababa beetaaga obujjanjabi obw’amangu oba abo ababa bagwiriddwako obutyabaga. Bw’oba weetaaga obuyambi, totya kutuukirira omu ku bakadde mu kibiina kyo.​—Yak 5:14.

Ekifaananyi okuva mu vidiyo “Abasumba Abafaayo Ku Ndiga.” Ow’oluganda omukadde mu kibiina ng’agwa Elias mu kafuba.

MULABE VIDIYO, ABASUMBA ABAFAAYO KU NDIGA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Mariana yaganyulwa atya mu buyambi obwamuweebwa abakadde?

  • Elias yaganyulwa atya mu buyambi obwamuweebwa abakadde?

  • Ebyo by’olabye mu vidiyo bikutte bitya ku ngeri gy’otwalamu emirimu abakadde gye bakola?

Tegeeza omukadde . . .

  • ng’osenguse oba ng’okyusizza ennamba yo ey’essimu

  • bw’oba ng’oyolekagana n’ekizibu eky’amaanyi

  • bw’oba ogenda kumala ekiseera kiwanvu nga toliiwo

  • bw’oba olina obulwadde obw’amaanyi oba ng’oweereddwa ekitanda

  • bw’oba okoze ekibi eky’amaanyi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza