LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb23 Jjanwali lup. 5
  • Weeyongere Okwesiga Ebyo Ebiri mu Kigambo kya Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weeyongere Okwesiga Ebyo Ebiri mu Kigambo kya Katonda
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Laba Ebirala
  • Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Okusoma Bayibuli Buli Lunaku n’Okunoonya Amagezi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Ebinaakuyamba Okusigala ng’Oli Mwesigwa eri Yakuwa ng’Olina Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olubaako Omulabirizi Akyalira Ebibiina Olwa 2025-2026
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
mwb23 Jjanwali lup. 5
Ebifaananyi: Mwannyinaffe nga yeesomesa Bayibuli. 1. Akola ekipande ekiraga ebiseera abantu aboogerwako mu Bayibuli we baabeererawo. 2. Asoma “Enkyusa ey’Ensi Empya” gye tukozesa mu kwesomesa eri ku jw.org. 3. Akebera mmaapu eraga ensi ezoogerwako mu Bayibuli. 4. Akuba ekifaananyi kya kabona asinga obukulu era awandiika amannya g’ebitundu by’ekyambalo ky’ayambadde.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weeyongere Okwesiga Ebyo Ebiri mu Kigambo kya Katonda

Ekigambo kya Katonda kisobola okukyusa obulamu bwaffe. (Beb 4:12) Kyokka okusobola okuganyulwa mu magezi n’obulagirizi ebikirimu, tulina okuba abakakafu nti ddala ‘kigambo kya Katonda.’ (1Se 2:13) Tuyinza tutya okweyongera okwesiga ebyo ebiri mu Bayibuli?

Soma Ekigambo kya Katonda buli lunaku. Bw’oba okisoma, weetegereze obukakafu obulaga nti Yakuwa ye yakiwandiisa. Ng’ekyokulabirako, weetegereze okubuulirira n’amagezi ebiri mu kitabo ky’Engero era olabe engeri gye bituyambamu mu bulamu.​—Nge 13:20; 14:30.

Noonyereza. Manya obukakafu obulaga nti ddala Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Kozesa Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, wansi w’omutwe, “Bayibuli” ne “Yaluŋŋamizibwa Katonda.” Ate era osobola okweyongera okulaba obukakafu obulaga nti ddala obubaka obuli mu Bayibuli tebwakyuka nga weekeneenya Ebyongerezeddwako A3 mu Enkyusa ey’Ensi Empya.

MULABE VIDIYO, ENSONGA LWAKI .  .  . TUKKIRIRIZA MU KIGAMBO KYA KATONDA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO WAMMANGA:

  • Ebyo ebyazuulibwa ku kisenge kya yeekaalu ye Karnak mu Misiri, bikakasa bitya nti ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda bituufu?

  • Tumanyira ku ki nti ebyo ebiri mu Bayibuli tebyakyusibwamu?

  • Okuba nti Bayibuli weeri n’okutuusa leero, kikukakasa kitya nti Kigambo kya Katonda?​—Soma Isaaya 40:8

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza