LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb22 Noovemba lup. 11
  • Tosaanidde Kutya Nkomerero y’Enteekateeka Eno ey’Ebintu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Tosaanidde Kutya Nkomerero y’Enteekateeka Eno ey’Ebintu
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Laba Ebirala
  • Sigala ng’Oli Mwesigwa mu “Kibonyoobonyo Ekinene”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Amagedoni Mawulire Malungi!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Engeri Ensi Eno Embi gy’Ejja Okuzikirizibwamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Mubeere Bavumu ng’Enkomerero Egenda Esembera
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
mwb22 Noovemba lup. 11
Ow’oluganda ng’asoma ekitabo “Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!” Akuba akafaananyi nga malayika akuuma abaweereza ba Yakuwa ku lutalo Amagedoni.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Tosaanidde Kutya Nkomerero y’Enteekateeka Eno ey’Ebintu

Mu kiseera ekitali kya wala, obugumiikiriza bwa Yakuwa eri ensi ya Sitaani bujja kukoma. Amadiini ag’obulimba gajja kuzikirizibwa, amawanga gajja kwegatta wamu galumbe abantu ba Katonda, era Yakuwa ajja kuzikiriza abantu ababi ku lutalo Amagedoni. Abakristaayo beesunga nnyo ekiseera ekyo.

Kyo kituufu nti tetumanyidde ddala byonna ebinaabaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. Ng’ekyokulabirako, tetumanyi kiseera kyennyini ekibonyoobonyo ekinene lwe kinaatandika. Tetumanyi nsonga gavumenti kwe zinaasinziira okulumba amadiini. Tetumanyi kiseera amawanga kye ganaamala nga galumbye abantu ba Katonda, era n’ebinaazingirwa mu bulumbaganyi obwo tetubimanyi. Ate era tetumanyidde ddala Yakuwa ky’anaakozesa okuzikiriza abantu ababi ku lutalo Amagedoni.

Kyokka, Ebyawandiikibwa bitubuulira byonna bye twetaaga okumanya okutuyamba obutatya binaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, tukimanyi nti tuli mu kiseera ekisembayo ‘eky’ennaku ez’enkomerero.’ (2Ti 3:1) Tukimanyi nti ekiseera ekinaayitawo ng’amadiini galumbiddwa kijja ‘kukendeezebwako,’ eddiini ey’amazima ereme kuzikirizibwa. (Mat 24:22) Tukimanyi nti Yakuwa ajja kununula abantu be. (2Pe 2:9) Ate era, tukimanyi nti oyo Yakuwa gwe yalonda okuzikiriza abantu ababi n’okuwonyaawo ekibiina ekinene ku lutalo Amagedoni, mutuukirivu era wa maanyi.​—Kub 19:11, 15, 16.

Awatali kubuusabuusa, ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso bijja kuleetera abantu ‘okuzirika olw’okutya.’ Kyokka, bwe tusoma era ne tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yawonyaawo abantu be mu biseera eby’edda, era n’ebyo by’atubuulidde ebikwata ku biseera eby’omu maaso, tusobola ‘okuyimirira busimba ne tuyimusa emitwe gyaffe,’ nga tuli bakakafu nti okununulibwa kwaffe kunaatera okutuuka.​—Luk 21:26, 28.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza