Noovemba 7-13
2 BASSEKABAKA 5-6
Oluyimba 55 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Abali Naffe Bangi Okusinga Abali Nabo”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
2Sk 5:15, 16—Lwaki Erisa yagaana ekirabo Naamani kye yamuwa, era ekyo kituyigiriza ki? (w05 10/1 lup. 19 ¶2)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 2Sk 5:1-14 (th essomo 2)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Omulundi Ogusooka: Amawulire Amalungi—Zb 37:10, 11. Muyimirize vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza era obuuze ebibuuzo ebiragiddwa mu vidiyo.
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa emu ku nsonga abantu ze batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 12)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) lff essomo 08 ennyanjula n’akatundu 1-3 (th essomo 15)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Mugabenga”: (Ddak. 15) Kitundu kya kukubaganya birowoozo nga kya kukubirizibwa mukadde. Mulabe vidiyo, Tubeebaza Nnyo olw’Omwoyo Omugabi Gwe Mwoleka. Basiime olw’engeri ezitali zimu ze boolekamu omwoyo omugabi.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 26
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 30 n’Okusaba