OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Temweraliikiriranga”
Yakuwa yayambanga abantu abaavu mu Isirayiri ey’edda. Leero, Yakuwa ayamba atya abaweereza be abaavu?
Abayigirizza okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente.—Luk 12:15; 1Ti 6:6-8
Abayambye obuteenyooma.—Yob 34:19
Abayigirizza okuba abakozi abanyiikivu n’okwewala emize emibi.—Nge 14:23; 20:1; 2Ko 7:1
Abaleese mu kibiina Ekikristaayo ekirimu okwagala.—Yok 13:35; 1Yo 3:17, 18
Abawa essuubi.—Zb 9:18; Is 65:21-23
Embeera yaffe k’ebe ng’eneeba mbi etya, tetusaanidde kweraliikirira. (Is 30:15) Yakuwa ajja kutuwa ebyetaago byaffe eby’omubiri singa tusooka okunoonya Obwakabaka bwe.—Mat 6:31-33.
MULABE VIDIYO, OKWAGALA TEKULEMERERWA WADDE NGA . . . OLI MWAVU—CONGO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Ab’oluganda ababeera okumpi n’awafunirwa enkuŋŋaana ennene balaga batya okwagala abo ababa baze ku nkuŋŋaana ezo nga bava mu bifo eby’ewala?
Vidiyo eyo etuyigiriza ki ku kwagala Yakuwa kw’alina eri abaavu?
Ka tube nga tulina bintu byenkana wa, tuyinza tutya okukoppa Yakuwa?