LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb21 Maayi lup. 7
  • Yakuwa bw’Atukangavvula Kiba Kiraga nti Atwagala

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yakuwa bw’Atukangavvula Kiba Kiraga nti Atwagala
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Laba Ebirala
  • Okukangavvula—Bukakafu Obulaga nti Katonda Atwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Abaana Bo Osaanidde Kubakangavvula Otya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Kolera ku Kukangavvula Obe n’Amagezi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Yakuwa bw’Atukangavvula Kiba Kiraga nti Atwagala
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
mwb21 Maayi lup. 7
Abazadde bakaaba nga bali mu mulyango nga balaba mutabani waabwe agaanye okwenenya nga ava awaka.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa bw’Atukangavvula Kiba Kiraga nti Atwagala

Okusingira ddala okukangavvula kuba kuwa bulagirizi n’okuyigiriza, naye era kuzingiramu okuwabula n’okubonereza. Yakuwa atukangavvula tusobole okumusinza mu ngeri gy’asiima. (Bar 12:1; Beb 12:10, 11) Ebiseera ebimu, okukangavvula kuyinza okuleeta obulumi, naye kuleetera omuntu okukola ebikolwa eby’obutuukirivu n’okufuna emikisa. (Nge 10:7) Biki abo abawa okukangavvula n’abo abakufuna bye basaanidde okulowoozaako?

Oyo awa okukangavvula. Abakadde, abazadde, n’abalala bafuba nnyo okuwa okukangavvula mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala nga Yakuwa bw’akola. (Yer 46:28) N’okukangavvula okw’amaanyi kusaanidde okuweebwa okusinziira ku bwetaavu obuliwo era mu ngeri ey’okwagala.​—Tit 1:13.

Oyo aweebwa okukangavvula. Okukangavvula ka kube nga kuze mu ngeri ki, tetusaanidde kukugaana, wabula tusaanidde okufuba okukukolerako amangu ddala. (Nge 3:11, 12) Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna twetaaga okukangavvulwa, era okukangavvula kuyinza okutuweebwa mu ngeri ez’enjawulo. Tuyinza okufuna okukangavvula okuva mu ebyo bye tuba tusomye mu Bayibuli oba ebyo bye tuba tuwulidde mu nkuŋŋaana. Ate oluusi abamu bayinza okuba nga beetaaga okukangavvulwa akakiiko akalamuzi. Bwe tukolera ku kukangavvula okuba kutuweereddwa tuba tujja kufuna obulamu.​—Nge 10:17.

MULABE VIDIYO, “ABO YAKUWA B’AYAGALA B’AKANGAVVULA,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Abo Yakuwa b’Ayagala b’Akangavvula.’ Canon omuto ng’abuulira ne bazadde be.

    Obulamu bwa Canon bwali butya ng’akyali muto, era bwakyuka butya?

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Abo Yakuwa b’Ayagala b’Akangavvula.’ Canon omuvubuka ng’asisinkanye abakadde.

    Kukangavvula ki kwe yafuna okuva eri Yakuwa?

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Abo Yakuwa b’Ayagala b’Akangavvula.’ Oluvannyuma ng’akuze, Canon ayogerako n’abavubuka mu lukuŋŋaana lw’ekibiina.

    Yiga okwagala okukangavvula okuva eri Yakuwa

    Ekyokulabirako kye kituyigiriza ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza