LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb20 Ddesemba lup. 7
  • Wandyagadde Okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Wandyagadde Okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka?
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Laba Ebirala
  • Okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Masomero Ki Bapayoniya Ge Basobola Okugendamu?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Luubirira Obuyigirize Obuva eri Katonda
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Okugaziya Obuweereza Bwaffe
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Ddesemba lup. 7
Abayizi nga bali mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Wandyagadde Okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka?

Oli wakati w’emyaka 23 ne 65 era oli mu buweereza obw’ekiseera kyonna? Oli mulamu bulungi, era oli mwetegefu okuweereza wonna awali obwetaavu obusingako? Bwe kiba bwe kityo, wali olowoozezza ku ky’okujjuzaamu foomu ey’okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka? Okuva essomero eryo lwe lyatandikibwawo, ababuulizi nkumi na nkumi abafumbo, n’ab’oluganda ne bannyinaffe abali obwannamunigina, bajjuzizzaamu foomu eyo. Kyokka, ab’oluganda abali obwannamunigina beetaagibwa nnyo. Saba Yakuwa akuyambe okwagala okumuweereza mu ngeri esingako n’okukoppa Omwana we. (Zb 40:8; Mat 20:28; Beb 10:7) Oluvannyuma, baako enkyukakyuka z’okola mu nteekateeka zo osobole okutuukiriza ebisaanyizo ebyetaagibwa.

Abo abamaze okutendekebwa mu ssomero lino, bafunye nkizo ki ez’obuweereza? Abamu basindikiddwa okuweerereza mu bitundu gye boogera ennimi endala oba okubuulira mu bifo awayita abantu abangi mu bibuga ebinene. Abalala oluvannyuma balondebwa okuweereza ng’abalabirizi b’ebitundu, ng’abo abayambako abalabirizi b’ebitundu, oba ng’abaminsani. Ng’olowooza ku ebyo by’osobola okukola mu buweereza bwo, beera n’endowooza ng’eya nnabbi Isaaya eyagamba nti: “Nzuuno! Ntuma!”​—Is 6:8.

MULABE VIDIYO, ABAMINSANI​—BAKOZI MU MULIMU GW’AMAKUNGULA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Abaminsani​—Bakozi mu Mulimu gw’Amakungula.’ Abaminsani nga bali mu buweereza.

    Abaminsani balondebwa batya?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Abaminsani​—Bakozi mu Mulimu gw’Amakungula.’ Omuminsani ne mwannyinaffe omulala nga bayigiriza omukazi Bayibuli.

    Mirimu ki abaminsani gye bakola?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Abaminsani​—Bakozi mu Mulimu gw’Amakungula.’ Omuminsani aweerereza mu kibiina ekyogera olulimi lwa bakiggala ng’ayogera n’ow’oluganda ku kujjuzaamu foomu ey’obuweereza obw’enjawulo.

    Mikisa ki abo abaweereza ng’abaminsani gye bafuna?

Wandyagadde okumanya ebisingawo ebikwata ku Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka? Genda ku “Vidiyo” mu kitundu, Layibulale ekiri ku jw.org, olabe wansi w’omutwe, BYE TUKOLA > AMASOMERO N’OKUTENDEKEBWA. Olabe vidiyo Theocratic Schools in the Heart of Africa, Emikisa Egiva mu Kutendekebwa Yakuwa, ne SKE First Graduation.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza