LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb20 Ddesemba lup. 8
  • Weeyongere Okukozesa Magazini

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weeyongere Okukozesa Magazini
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Laba Ebirala
  • Kozesa Magazini ng’Obuulira
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Ekitundu Kino Kiyinza Kusikiriza Baani?
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Ddesemba lup. 8
Mwannyinaffe ayogerwa n’omukyala ku nsonga emu eyogerwako mu magazini ya ‘Zuukuka!’

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weeyongere Okukozesa Magazini

Okuva mu 2018, magazini ze tugabira abantu zibaddenga zoogera ku nsonga emu emu. Magazini ezo ze zimu ku bintu bye tukozesa okuyamba abantu okumanya ebikwata ku Katonda. N’olwekyo, tusaanidde okuzikozesa mu buweereza. Ate era tuyinza okutambulangako ne magazini entonotono bwe tuba tuliko gye tulaga oba nga tugenda okugula ebintu. Magazini zino tezitegekebwa nga za kukozesebwa kuyigiriza bantu Bayibuli, naye zisobola okuyamba abantu okwagala okumanya ebisingawo ebikwata ku Katonda.

Oluvannyuma lw’okutandika okunyumya n’omuntu, musomereyo ekyawandiikibwa era oyogere ku nsonga eyinza okumukwatako eyogerwako mu magazini. Ng’ekyokulabirako, bw’aba ng’alina abaana oba ng’alina ebimweraliikiriza oyinza okumugamba nti: “Nnina kye nnasomye ekikwata ku nsonga eyo. Wandyagadde nkikulageko?” Bw’okiraba nti yandyagadde okumanya ebisingawo, oyinza okumuwa kopi ya magazini oba okugimuweereza ng’okozesa essimu, ne ku mulundi gw’osoose okwogera naye. Wadde ng’ekigendererwa kyaffe ekikulu si kya kugaba magazini, magazini zisobola okutuyamba okuzuula abo abalina endowooza ennuŋŋamu.​—Bik 13:48.

2018

Ebifaananyi: Emitwe gya magazini ‘y’Omunaala gw’Omukuumi’ ne ‘Zuukuka!’ mu 2018. 1. ‘Bayibuli Ekyali ya Mugaso Leero?’ 2. ‘Ebiseera eby’Omu Maaso Biriba Bitya?’ 3. ‘Ddala Katonda Akufaako?’ 4. ‘Ekkubo Erireeta Essanyu.’ 5. ‘Ebintu 12 Ebisobozesa Amaka Okuba Amanywevu.’ 6. ‘Ebisobola Okuyamba Abo Abafiiriddwa Abantu Baabwe.’

2019

Ebifaananyi: Emitwe gya magazini ‘y’Omunaala gw’Omukuumi’ ne ‘Zuukuka!’ mu 2019. 1. ‘Katonda y’Ani?’ 2. ‘Ddala Obulamu Bwa Mugaso?’ 3. ‘Ddala Obulamu Bulina Kuba Bwe Buti?’ 4. ‘Ekiseera Kirituuka Ensi n’Eba nga Tekyalimu Bizibu?’ 5. ‘Ebintu Mukaaga Abaana Bye Beetaaga Okuyiga.’ 6. ‘Bayibuli Esobola Okukuyamba Okuba n’Obulamu Obulungi?’

2020

Ebifaananyi: Emitwe gya magazini ‘y’Omunaala gw’Omukuumi’ ne ‘Zuukuka!’ mu 2020. 1. ‘Okunoonya Amazima.’ 2. ‘Obwakabaka Bwa Katonda Kye Ki?’ 3. ‘Emikisa egy’Olubeerera Okuva eri Katonda.’ 4. ‘Okukendeeza ku Kweraliikirira.’ 5. ‘Ebibuuzo 5 Ebikwata ku Kubonaabona Biddibwamu.’ 6. ‘Waliwo Ekiyinza Okumalawo Obusosoze?’

Nsonga ki ezisinga okukwata ku bantu mu kitundu ky’obuuliramu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza