LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb20 Okitobba lup. 3
  • Enkolagana Yo ne Yakuwa Gitwale nga ya Muwendo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enkolagana Yo ne Yakuwa Gitwale nga ya Muwendo
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Laba Ebirala
  • Olina Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Yigiriza Abalala Okwagala Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Engeri gy’Oyinza Okusembereramu Katonda
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Weesige Yakuwa Bulijjo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Okitobba lup. 3
Ebifaananyi: Omusajja anyweza enkolagana ye ne Yakuwa. 1. Asaba. Akasongezo kasonze waggulu. 2. Asoma Bayibuli. Akasongezo kasonze wansi.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Enkolagana Yo ne Yakuwa Gitwale nga ya Muwendo

Abajulirwa ba Yakuwa tulina enkizo ey’enjawulo. Olw’okuba tuli Bakristaayo abeewaayo eri Yakuwa, tulina enkolagana ennungi ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, era enkolagana eyo tusobola okweyongera okuginyweza. Yatusembeza gy’ali ng’ayitira mu Mwana we. (Yok 6:44) Ate era, awuliriza okusaba kwaffe.​—Zb 34:15.

Tuyinza tutya okukuuma enkolagana gye tulina ne Katonda? Engeri emu gye tuyinza okukikolamu, kwe kwewala okukola ensobi Abayisirayiri gye baakola. Nga waakayita ekiseera kitono oluvannyuma lwa Yakuwa okukola endagaano nabo, baakola ennyana eya zzaabu ne batandika okugisinza. (Kuv 32:7, 8; 1Ko 10:7, 11, 14) Tuyinza okwebuuza nti: ‘Nneeyisa ntya nga njolekaganye n’ekikemo? Engeri gye nneeyisaamu eraga nti enkolagana yange ne Yakuwa ngitwala nga ya muwendo?’ Okwagala okw’amaanyi kwe tulina eri Kitaffe ow’omu ggulu kujja kutuyamba okwewala okukola ebintu by’akyawa.​—Zb 97:10.

MULABE VIDIYO, KUUMA ENKOLAGANA YO NE YAKUWA (BAK 3:5), OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekigambo “okwegomba” kirina makulu ki?

  • Lwaki tusaanidde okwewala omululu n’okusinza ebifaananyi?

  • Kakwate ki akaliwo wakati w’obwenzi n’okusinza ebifaananyi?

  • Lwaki abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina basaanidde okufaayo ennyo ku byetaago bya bannaabwe mu bufumbo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza