Okitobba 5-11
OKUVA 31-32
Oluyimba 45 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Mudduke Okusinza Ebifaananyi”: (Ddak. 10)
Kuv 32:1—Okuba mu mbeera enzibu tekyandireetedde muntu kusinza bakatonda balala (w09 5/15 lup. 11 ¶11)
Kuv 32:4-6—Abayisirayiri baagattika okusinza okw’amazima n’okw’obulimba (w12 10/15 lup. 25 ¶12)
Kuv 32:9, 10—Yakuwa yasunguwalira Abayisirayiri (w18.07 lup. 20 ¶14)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Kuv 31:17—Mu ngeri ki Yakuwa gye yawummula ku lunaku olw’omusanvu? (w19.12 lup. 3 ¶4)
Kuv 32:32, 33—Tumanya tutya nti enjigiriza egamba nti “bw’olokolebwa oba mulokole lubeerera” ya bulimba? (w87-E 9/1 lup. 29)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kuv 32:15-35 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Brenda akozesezza atya obulungi ebibuuzo? Kiki ky’akoze okulaga nnyinimu nti ajja kumuddira?
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 4 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma beera ng’amulaga vidiyo, Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? era mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 9)
Okwogera: (Ddak. 5 oba obutawera) w10 5/15 lup. 21—Omutwe: Lwaki Yakuwa Teyabonereza Alooni olw’Okukola Ennyana eya Zzaabu? (th essomo 7)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Enkolagana Yo ne Yakuwa Gitwale nga ya Muwendo”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Kuuma Enkolagana Yo ne Yakuwa (Bak 3:5).
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30 oba obutawera) jy sul. 135
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 90 n’Okusaba