OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebitonde Bituyigiriza Bitya Okuba Abavumu?
Yakuwa atuyigiriza engeri y’okwolekamu engeri ennungi ng’ayitira mu basajja n’abakazi aboogerwako mu Bayibuli. Kyokka, ebintu bye yatonda nabyo tusobola okubaako kye tubiyigirako. (Yob 12:7, 8) Empologoma, embalaasi, obukolwa, obunuunansubi, n’enjovu, bituyigiriza bitya okuba abavumu?
MULABE VIDIYO, YIGIRA KU BITONDE OKUBA OMUVUMU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Empologoma enkazi zooleka zitya obuvumu nga zikuuma abaana baazo?
Embalaasi zitendekebwa zitya ne ziba nga tezitya nga ziri mu ddwaniro?
Lwaki obukolwa tebutya misota gya busagwa?
Obunuunansubi bwoleka butya obuvumu?
Enjovu zooleka zitya obuvumu nga zirwanirira zinnaazo eziri mu kibinja kyazo?
Biki by’oyigidde ku bisolo ebyo ebisobola okukuyamba okuba omuvumu?