OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Osobola Okubuulira n’Okuyigiriza!
Mu kusooka, Musa yali alowooza nti tasobola kutuukiriza bulungi buvunaanyizibwa Yakuwa bwe yali amuwadde. (Kuv 4:10, 13) Naawe wali owuliddeko bw’otyo? Oyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa? Weebuuza oba ng’osobola okubuulira nnyumba ku nnyumba? Oba oyinza okuba ng’oli muvubuka atya okubuulira ku ssomero. Oba oyinza okuba ng’otya okubuulira mu bifo ebya lukale oba okubuulira ng’okozesa essimu. Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu. (1Pe 4:11) Beera mukakafu nti asobola okukuyamba okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bw’akuwadde.—Kuv 4:11, 12.
MULABE VIDIYO, BEERA MUVUMU . . . OMUBUULIZI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Mwannyinaffe Aoyama yalina kizibu ki?
Biki ebyamuyamba okuba omuvumu?—Yer 20:7-9
Miganyulo ki gye yafuna olw’okugaziya ku buweereza bwe?
Bizibu ki Yakuwa by’asobola okutuyamba okuvvuunuka mu buweereza?