LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb20 Jjuuni lup. 8
  • Engeri gye Tuyinza Okukozesaamu Ebiri mu Kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Engeri gye Tuyinza Okukozesaamu Ebiri mu Kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Laba Ebirala
  • Bye Tuyinza Okwogerako
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Engeri y’Okukozesaamu Ebiri mu Kitundu Bye Tuyinza Okwogerako
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Engeri y’Okutandikamu Okwogera n’Abantu nga Tukozesa Tulakiti
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Bye Tuyinza Okwogerako
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Jjuuni lup. 8

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri Gye Tuyinza Okukozesaamu Ebiri mu Kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako

Okuva mu Jjanwali 2018, Akatabo K’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe kabaddengamu ekitundu, Bye Tuyinza Okwogerako ku lupapula olusooka. Tuyinza tutya okukozesa ebiri mu kitundu ekyo?

Mwannyinaffe awa ekyokulabirako mu lukuŋŋaana lwa wakati mu wiiki.

Bw’Oba Owa Ekyokulabirako: Osaanidde okukozesa ekibuuzo, ekyawandiikibwa, n’eky’okulekawo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Naye ekyo tekitegeeza nti olina okukozesa ebigambo byennyini ebiri mu vidiyo ey’ekyokulabirako. Oyinza okukozesa embeera endala, ennyanjula endala, oba okunnyonnyola mu ngeri endala. Ate era osobola n’okugaba akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli wadde nga tekiragiddwa mu bulagirizi obukwata ku kitundu ekikuweereddwa.

Mwannyinaffe y’omu ali mu buweereza, asomera omukazi ekyawandiikibwa.

Bw’Oba mu Buweereza: Ekitundu, Bye Tuyinza Okwogerako, kyategekebwa okusobola okutuyamba okumanya ensonga ze tuyinza okwogerako mu buweereza. Singa omuntu ayagala okumanya ebisingawo, osobola okweyongera okunyumya naye oboolyawo ng’okozesa ebiri mu kitundu ky’okuddiŋŋana. Oyinza okukyusakyusa mu ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako oba okukozesa ennyanjula endala. Abantu b’omu kitundu kyo bayinza okukwatibwako bw’okozesa ennyanjula y’omwezi oguwedde oba ekyawandiikibwa ekirala. Abantu b’omu kitundu kyo baagala nnyo okwogera ku kintu ekyakabaawo mu kitundu kyabwe oba ekyakafulumira mu mawulire? K’ebe ngeri ki gy’osalawo okukozesaamu ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako, osaanidde okuba n’ekiruubirirwa ‘eky’okukola ebintu byonna olw’amawulire amalungi osobole okugabuulirako abalala.’​—1Ko 9:22, 23.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza