LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb19 Noovemba lup. 3
  • Weewale Okutwalirizibwa Omwoyo gw’Ensi ng’Otegeka Embaga

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weewale Okutwalirizibwa Omwoyo gw’Ensi ng’Otegeka Embaga
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Laba Ebirala
  • Amagezi Agasobola Okukuyamba Okuteekateeka Embaga Enaaweesa Yakuwa Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Embaga z’Obugole Ezisanyusa era Eziweesa Yakuwa Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Embaga z’Abajulirwa ba Yakuwa Ziba Zitya?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza
  • Yoleka Okukkiriza Kwo mu Ngeri Gye Weeyisaamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
mwb19 Noovemba lup. 3
Ekifaananyi ekiraga ab’omu maka nga bali ku mbaga

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weewale Okutwalirizibwa Omwoyo gw’Ensi ng’Otegeka Embaga

Abakristaayo abateekateeka okukola embaga balina ebintu bingi bye balina okusalawo. Bayinza okupikirizibwa okukola embaga ey’ebbeeyi ng’ezo ezitera okukolebwa mu kitundu kyabwe. Mikwano gyabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe bayinza okuba n’endowooza zaabwe ku ebyo ebirina okukolebwa ku mbaga. Misingi ki egiri mu Bayibuli egisobola okubayamba okukola embaga etajja kubaleetera kulumizibwa muntu waabwe ow’omunda oba okwejjusa?

MULABE VIDIYO, EMIKOLO GY’EMBAGA EGISANYUSA YAKUWA, OLUVANNYUMBA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Emisingi egiri mu byawandiikibwa bino gyayamba gitya Nick ne Juliana?

    • 1Ko 10:31

    • 1Yo 2:15, 16

    • Bag 5:19-21

    • 1Ti 2:9

  • Lwaki abo abagenda okukola embaga basaanidde okulonda ow’oluganda omukulu mu by’omwoyo okuba “kalabaalaba” w’omukolo gwabwe?​—Yok 2:9, 10.

  • Nick ne Juliana baasinziira ku ki okusalawo ebinaakolebwa ku mbaga yaabwe?

  • Ani avunaanyizibwa okusalawo ekyenkomeredde ku bikwata ku mukolo gw’embaga?​—w06 11/1 lup. 19 ¶10.

Ebifaananyi: Ebitundu ebiri mu vidiyo erina omutwe, ‘Emikolo gy’Embaga Egisanyusa Yakuwa.’ Nick ne Juliana, bateekateeka embaga yaabwe, era balina ebintu bingi eby’okusalawo. 1. Buli omu ku bo asaba. 2. Tabbuleeti n’empapula okuli bye banoonyerezza. 3. Boogera n’ab’eŋŋanda zaabwe ku nteekateeka y’embaga yaabwe. 4. Bateekateeka kaadi z’embaga nga bali wamu n’ab’eŋŋanda era n’emikwano
    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza