Yoleka Okukkiriza Kwo mu Ngeri Gye Weeyisaamu
‘Okukkiriza bwe kutabaako bikolwa nga kufudde.’—YAKOBO 2:17.
1. Lwaki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baayoleka okukkiriza n’ebikolwa?
OKUTWALIRA awamu, Abakristaayo abaasooka baayoleka okukkiriza kwabwe mu ngeri gye beeyisaamu. Omuyigirizwa Yakobo yakubiriza Abakristaayo bonna nti: “Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi.” Era yagattako nti: “Ng’omubiri awatali mwoyo bwe guba nga gufudde, era n’okukkiriza bwe kutyo awatali bikolwa nga kufudde.” (Yakobo 1:22; 2:26) Nga wayiseewo emyaka nga 35 oluvannyuma lw’okuwandiika ebigambo ebyo, Abakristaayo bangi baali bakyeyongera okwoleka okukkiriza kwabwe okuyitira mu bikolwa ebirungi. Naye eky’ennaku, abamu baali tebakola bwe batyo. Yesu yasiima abo abaali mu kibiina ky’omu Sumuna; kyokka bangi abaali mu kibiina ky’omu Saadi yabagamba bw’ati: ‘Mmanyi ebikolwa byo, ng’olina erinnya ery’okuba omulamu, naye oli mufu.’—Okubikkulirwa 2:8-11; 3:1.
2. Kiki Abakristaayo kye bandyebuuzizza ekikwata ku kukkiriza kwabwe?
2 N’olwekyo, Yesu yakubiriza abo abaali mu Saadi era n’abalala abandisomye ebigambo bye okwoleka okukkiriza kwe baalina mu kusooka eri amazima era n’okubeera obulindaala mu by’omwoyo. (Okubikkulirwa 3:2, 3) Buli omu ku ffe ayinza okwebuuza: ‘Kiri kitya ku bikolwa byange? Ebikolwa byange biraga bulungi nti nkola kyonna kye nsobola okwoleka okukkiriza kwange mu byonna bye nkola ne mu mbeera ezitakwatagana butereevu na kubuulira oba n’enkuŋŋaana z’ekibiina?’ (Lukka 16:10) Waliwo ebintu bingi mu bulamu ebiyinza okwogerwako, naye ka twogere ku kimu kyokka: okukuŋŋaana awamu okwesanyusaamu nga mw’otwalidde n’okugenda ku mbaga ez’Ekikristaayo.
Okukuŋŋaana Awamu Okwesanyusaamu nga Muli Batonotono
3. Ndowooza ki Baibuli gy’erina ku kukuŋŋaana awamu okusanyukamu?
3 Abasinga obungi ku ffe tusiima nnyo bwe tuyitibwa okukuŋŋaana awamu ne Bakristaayo bannaffe okusanyukamu. Yakuwa ‘Katonda musanyufu’ era ayagala abaweereza be babe basanyufu. (1 Timoseewo 1:11) Yaluŋŋamya Sulemaani okuwandiika ebigambo bino mu Baibuli: “Awo ne nsiima ebinyumu, kubanga omuntu talina kintu kyonna ekisinga obulungi wansi w’enjuba wabula okulyanga n’okunywanga n’okusanyukanga: kubanga ebyo binaabeeranga naye mu kutegana kwe ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde.” (Omubuulizi 3:1, 4, 13; 8:15) Okusanyuka ng’okwo kuyinza okubeerawo ku kijjulo ekitegekeddwa ab’omu maka oba ng’abasinza ab’amazima abatonotono bakuŋŋaanye wamu okwesanyusaamu.—Yobu 1:4, 5, 18; Lukka 10:38-42; 14:12-14.
4. Omuntu ateekateeka okuyita abantu okukuŋŋaana awamu okwesanyusaamu yandifuddeyo ku ki?
4 Bw’oba ng’oteekateeka okukuŋŋaana awamu n’abalala mu ngeri ng’eyo, osaanidde okulowooza ennyo ku ekyo ky’oteekateeka okukola ne bw’oba ogenda kuyita abakkiriza batono ku kijjulo oba okunyumyamu. (Abaruumi 12:13) Wandyagadde okulaba nti ‘ebintu byonna bikolebwa mu ngeri entegeke obulungi’ nga mukubirizibwa “amagezi agava waggulu.” (1 Abakkolinso 14:40, NW; Yakobo 3:17) Omutume Pawulo yawandiika nti: “Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw’ekitiibwa kya Katonda. Temuleetanga kyesitazza.” (1 Abakkolinso 10:31, 32) Bintu ki ebimu bye tusaanidde okufaako ennyo? Okulowooza ku bintu ebyo nga bukyali, kiyinza okukuyamba okukakasa nti ebyo gwe n’abagenyi bye munaakola bijja kwoleka okukkiriza kwammwe.—Abaruumi 12:2.
Okukuŋŋaana Okwo Kunaaba kwa Ngeri Ki?
5. Lwaki oyo ateeseteese omukolo yandirowoozezza nnyo ku ky’okugabula omwenge ne ku nnyimba?
5 Bangi abateeseteese enkuŋŋaana ng’ezo ez’okwesanyusaamu beebuuzizza obanga bandigabudde omwenge. Abantu basobola okusanyuka nga bakuŋŋaanye wamu ne bwe waba nga tewali mwenge. Kijjukire nti Yesu yagabula abantu abawerako ekijjulo—yabawa emigaati n’eby’ennyanja. Ebyawandiikibwa tebigamba nti yagabula omwenge mu ngeri ey’ekyamagero, wadde nga tukimanyi nti yali asobola okukikola. (Matayo 14:14-21) Singa osalawo okugabula omwenge, gabula ogusaanira, era kakasa nti waliwo eby’okunywa ebirala ebitatamiiza. (1 Timoseewo 3:2, 3, 8; 5:23; 1 Peetero 4:3) Tokaka muntu yenna okunywa ekintu kyonna ekiyinza okuluma “ng’omusota.” (Engero 23:29-32) Kiri kitya ku nnyimba? Bwe kiba nga mujja kukozesa ennyimba, awatali kubuusabuusa osaanidde okuzironda n’obwegendereza, ng’olowooza ku bigambo n’endongo. (Abakkolosaayi 3:8; Yakobo 1:21) Abakristaayo bangi bakisanze nti okuteekako Ennyimba z’Obwakabaka oba bo okuziyimba bennyini kifuula omukolo okuba ogw’essanyu. (Abaefeso 5:19, 20) Era kakasa nti eddoboozi teriba ddene nnyo ne mulemererwa n’okunyumya oba ne litaataaganya ab’oku muliraano.—Matayo 7:12.
6. Oyo akyazizza abalala ayinza atya okulaga nti okukkiriza kwe tekuli mu bigambo bugambo bwe kituuka ku mboozi ezinyumizibwa oba ku bintu ebirala ebikolebwa?
6 Nga bakuŋŋaanye wamu okwesanyusaamu, Abakristaayo bayinza okwogera ku bintu ebitali bimu, ne babaako bye basoma mu ddoboozi eriwulikika oba ne bawa ebyokulabirako. Singa abamu batandika okunyumya ebitasaana, mu ngeri ey’amagezi oyo abakyazizza ayinza okuzza emboozi ku kintu ekirala ekizimba. Era alina okulaba nti tewali n’omu yeefuga mboozi. Singa alaba nti omuntu omu atandise okwefuga emboozi, mu ngeri ey’amagezi abaako ky’akolawo okulaba nti n’abalala bagyenyigiramu era oboolyawo n’asaba n’abaana nabo okubaako kye boogera oba ayinza okuleetawo emboozi eyinza okukubiriza abalala okubaako kye boogera. Kino kijja kuviirako abato n’abakulu okusanyuka. Singa gwe omutegesi ensonga ozikwata mu ngeri ey’amagezi, abaliwo bonna bajja kukitegeera nti oli muntu ‘mwegendereza.’ (Abafiripi 4:5) Bajja kukiraba nti okukkiriza kwo tekuli mu bigambo bugambo naye kweyoleka mu mbeera zo zonna ez’obulamu.
Omukolo ogw’Okufumbiriganwa n’Ekijjulo ky’Embaga
7. Lwaki twandifuddeyo nnyo nga tuteekateeka omukolo ogw’okufumbiriganwa n’ebijjulo ebigenderako?
7 Omukolo ogumu ogw’enjawulo era ogw’essanyu, kwe kufumbiriganwa kw’Abakristaayo. Abaweereza ba Katonda ab’edda nga mw’otwalidde ne Yesu era n’abayigirizwa be, baabeerangawo ku mikolo ng’egyo egy’essanyu egyabeerangako n’ebijjulo. (Olubereberye 29:21, 22; Yokaana 2:1, 2) Kyokka mu kiseera kino, ebiriwo biraga nti kyetaagisa Abakristaayo okufuba ennyo okusobola okutegeka ekijjulo ky’embaga mu ngeri eyoleka nti tebagudde lubege era nti beegendereza. Kyokka emikolo nga gino kintu kya bulijjo ekibaawo mu bulamu ekiwa Abakristaayo omukisa okwoleka okukkiriza kwabwe.
8, 9. Ebikolebwa ku mbaga nnyingi byoleka bitya bye tusoma mu 1 Yokaana 2:16, 17?
8 Abantu abatamanyi oba abatafaayo ku misingi gya Katonda batwala embaga ng’omukolo kwe bafunira akakisa okukola ebintu ebitakkirizibwa oba balowooza nti ku mikolo ng’egyo ebintu ebitakkirizibwa biyinza okubuusibwa amaaso. Mu magazini emu ey’omu Bulaaya, omukyala omu eyali yakafumbirwa yayogera bw’ati ku mbaga ye: ‘Twatambulira mu kigaali ekyali kisikibwa embalaasi nnya era nga tuwerekerwako ebigaali ebirala ebitonotono ebyali bisikibwa embalaasi 12 n’ekimu nga kirimu bbandi. Oluvannyuma twafuna ekijjulo mawuuno era ne batukubira n’ennyimba ennungi ennyo; yali mbaga makeke. Yali ddala nga bwe nnayagala, nze nnali kwiini w’olunaku.’
9 Wadde ng’ebikolebwa mu buli nsi bya njawulo, ebigambo ebyo bikakasa ekyo omutume Yokaana kye yagamba nti: “Buli ekiri mu nsi, okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi.” Oyinza okukiteeberezaamu ng’Omukristaayo akuze mu by’omwoyo ayagala okukola embaga okuli ekijjulo mawuuno? Okwawukana ku ekyo, enteekateeka zaabwe ez’embaga zandiraze nti bagoberera ebigambo bino nti: “Akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”—1 Yokaana 2:16, 17.
10. (a) Ng’oyagala okukola embaga esaanidde, biki by’olina okulowoozaako? (b) Twandisazeewo tutya ku abo be tulina okuyita?
10 Abakristaayo abagenda okufumbiriganwa bandibadde n’endowooza ennuŋŋamu n’obutagwa lubege era Baibuli esobola okubayamba. Wadde ng’olunaku lw’embaga lukulu nnyo, bakimanyi nti eyo eba ntandikwa butandikwa ey’obufumbo bw’Abakristaayo ababiri abasuubira okufuna obulamu obutaggwaawo. Tekibeetaagisa kuba na kijjulo kya mbaga mawuuno. Bwe baba baagala okuyita abantu ku kijjulo, bajja kubalirira ssente ezeetaagisa n’okumanya kijjulo kya ngeri ki kye balina okuteekateeka. (Lukka 14:28) Mu bulamu bwabwe obw’Ekikristaayo, omwami y’ajja okuba omutwe gw’amaka. (1 Abakkolinso 11:3; Abaefeso 5:22, 23) N’olwekyo, omugole omusajja y’avunaanyizibwa okuteekateeka ekijjulo ky’embaga. Kya lwatu, ajja kwebuuza ku oyo gw’agenda okuwasa okusobola okusalawo be baagala okuyita ku kijjulo ky’embaga. Kiyinza obutasoboka okuyita mikwano gyabwe gyonna oba ab’eŋŋanda; n’olwekyo, beetaaga okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Abo abagenda okufumbiriganwa tebasaanidde kutya nti Bakristaayo bannaabwe abamu bwe batayitibwa, bajja kubanyiigira.—Omubuulizi 7:9.
“Omugabuzi w’Embaga”
11. Buvunaanyizibwa ki “omugabuzi w’embaga” bw’aba nabwo ku mbaga?
11 Singa abagenda okufumbiriganwa basalawo okuyita abantu ku kijjulo ky’embaga, bayinza batya okukakasa nti omukolo gusigala nga gwa kitiibwa? Okumala emyaka mingi, Abajulirwa ba Yakuwa balabye nga kya magezi okugoberera enkola eyali ku mbaga ey’e Kaana Yesu gye yaliko. Ku mbaga eyo kwaliko “omugabuzi w’embaga,” awatali kubuusa eyali omukkiriza ow’obuvunaanyizibwa. (Yokaana 2:9, 10) Mu ngeri y’emu, omugole omusajja ajja kulonda ow’oluganda akuze mu by’omwoyo okubeera omugabuzi w’embaga. Oluvannyuma lw’okumanya ebyo omugole omusajja by’ayagala, omugabuzi w’embaga ajja kukakasa nti bigobererwa ng’ekijjulo ky’embaga tekinnatandika ne mu kiseera kyennyini ng’ekijjulo ekyo kigenda mu maaso.
12. Kiki omugole omusajja ky’alina okulowoozaako ku bikwata ku kugabula omwenge?
12 Nga bwe twalabye mu katundu 5, abagenda okufumbiriganwa bayinza okusalawo obutagabula mwenge ku kijjulo ky’embaga kubanga kiyinza okuviirako abamu okutamiira, omukolo ne gwonooneka. (Abaruumi 13:13; 1 Abakkolinso 5:11) Naye bwe basalawo okugabula omwenge, omugole omusajja alina okukakasa nti omwenge gugabulwa mu ngeri ey’ekigero. Ku mbaga ey’e Kaana Yesu gye yaliko kwaliko omwenge era naye yabakolera omwenge omulungi. Era omugabuzi w’embaga yagamba nti: “Buli muntu asooka kussaawo nvinnyo nnungi; naye abantu bwe bakkuta [“batamiira,” NW] n’alyoka assaawo embi: naye ggwe oterese ennungi okutuusa kaakano.” (Yokaana 2:10) Awatali kubuusabuusa, Yesu teyaleetera bantu kutamiira kubanga yali akimanyi nti kikyamu. (Lukka 12:45, 46) Mu kwewuunya obulungi bw’omwenge ogwo, omugabuzi w’embaga yakyoleka nti yali alabye abantu nga batamidde ku mbaga ezimu. (Ebikolwa 2:15; 1 Abasessaloniika 5:7) N’olwekyo, omugole omusajja n’Omukristaayo omwesigwa gw’alonda okuba omugabuzi, balina okukakasa nti bagoberera okubuulira kuno: “Temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaggula.”—Abaefeso 5:18; Engero 20:1; Koseya 4:11.
13. Kiki abafumbo kye bandirowoozezaako singa bateekateeka okuba n’ennyimba ku kijjulo ky’embaga, era lwaki?
13 Nga bwe kiba eri enkuŋŋaana endala zonna ez’okwesanyusaamu, bwe waba aw’okubaawo ennyimba, mulina okulaba nti eddoboozi si ddene nnyo kisobozese abaliwo okuwulira ebyogerwa. Omukadde omu agamba nti: “Obudde bwe bugenda buwungeera, era nga n’emboozi egudde amakerenda era n’okuzina nga kutandise, batera okwongeza ku ddoboozi. Eddoboozi eryatandise ng’entono liyinza okweyongera ne liremesa n’abantu okunyumya. Ebijjulo by’embaga biwa abo abaliwo omukisa ogw’okubeerako awamu ng’ab’oluganda. Nga kyandibadde kya nnaku nnyo singa eddoboozi litumbulwa abantu ne balemererwa n’okunyumya!” Ne mu nsonga eno, omugole omusajja n’omugabuzi w’embaga balina okweyisa mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa, ne batalekera buvunaanyizibwa obw’okukola ku maloboozi n’ennyimba oyo gwe baba balonze oba gwe bapangisizza. Pawulo yagamba: “Buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu.” (Abakkolosaayi 3:17) Abagenyi bwe baddayo eka oluvannyuma lw’ekijjulo ky’embaga eyo bannajjukira nti ennyimba ezaakozesebwa zaalaga nti abafumbo baakola byonna mu linnya lya Yesu? Mazima ddala zandikyolese nti bakoze byonna mu linnya lya Yesu.
14. Bintu ki ebirungi Abakristaayo bye bandibadde bajjukira ku mbaga?
14 Mazima ddala embaga etegekeddwa obulungi ejjukirwako birungi. Adam ne Edyta, abamaze emyaka 30 nga bafumbo baayogera bwe bati ku mbaga emu: “Kyali kyangu okutegeera nti ddala embaga yali ya Kikristaayo. Kwaliko ennyimba ezitendereza Yakuwa awamu n’ebintu ebirala ebisanyusa. Ennyimba n’okuzina si bye byatwalibwa ng’ebintu ebikulu. Embaga yali nnungi ng’ezimba era byonna ebyakolebwa byali bituukagana n’emisingi gy’Ekikristaayo.” Kya lwatu, omugole omusajja n’omukazi balina kinene kye bayinza okukola okulaga nti okukkiriza kwabwe kuliko ebikolwa.
Ebirabo Ebiweebwa ku Mbaga
15. Kubuulirira ki okwa Baibuli okuyinza okugobererwa ku bikwata ku birabo by’embaga?
15 Mu nsi nnyingi ab’emikwano n’ab’eŋŋanda batera okuwa abafumbiriganiddwa ebirabo. Bw’oba ng’osazeewo okuwaayo ekirabo, kiki kye wandirowoozezaako? Osaanidde okulowooza ku bigambo by’omutume Yokaana ebikwata ku “kweraga olw’ebintu by’olina.” Okweraga ng’okwo teyakukwataganya na Bakristaayo abooleka okukkiriza kwabwe mu bikolwa wabula ‘n’ensi eggwaawo.’ (1 Yokaana 2:16, 17, NW) Okusinziira ku bigambo bya Yokaana ebyo ebyaluŋŋamizibwa, abaakafumbiriganwa bandirangiridde mu lujjudde amanya g’abo ababawadde ebirabo? Abakristaayo mu Makedoni ne mu Akaya baawaayo ebintu eri baganda baabwe abaali mu Yerusaalemi, naye tewaliwo kiraga nti amanya gaabwe gaalangirirwa mu lujjudde. (Abaruumi 15:26) Abakristaayo bangi abawaayo ebirabo ku mbaga tebandyagadde manya gaabwe kulangirirwa mu lujjudde. Ku bikwata ku nsonga eno, laba okubuulirira kwa Yesu okuli mu Matayo 6:1-4.
16. Abaakafumbiriganwa bayinza batya okwewala okuswaza abalala ku nsonga y’okuwaayo ebirabo?
16 Okulangirira amanya g’abo abawaddeyo ebirabo, kiyinza okuleetawo ‘okuvuganya’ okulaba ani asinze okuleeta ekirabo ekisingayo obulungi oba ebbeeyi. N’olwekyo, Abakristaayo abaakafumbiriganwa tebajja kulangirira mu lujjudde manya g’abo abawaddeyo ebirabo. Bwe galangirirwa kiyinza okuswaza abo abatabawadde kintu kyonna. (Abaggalatiya 5:26; 6:10) Kyo kituufu nti si kikyamu omugole omusajja n’omukazi okumanya oyo aba abawadde ekirabo. Kyokka, basobola okumumanyira ku kaadi gy’aba awandiiseeko erinnya lye n’agiteeka mu kirabo, naye ng’erinnya lye tebalina kulirangirira mu lujjudde. Bwe tuba tugula, nga tuwaayo oba nga tufuna ebirabo, ffenna tufuna omukisa okulaga nti ne ku nsonga ekwata ku birabo okukkiriza kwaffe kweyolekera mu bikolwa.
17. Abakristaayo bandibadde na kiruubirirwa ki ku bikwata ku kukkiriza kwabwe n’ebikolwa?
17 Awatali kubuusabuusa, okwoleka okukkiriza kwaffe tekikoma ku kuba na mpisa nnungi, okubaawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Ka buli omu ku ffe abeere n’okukkiriza okweyolekera mu buli kimu ky’akola. Mazima ddala, tusobola okwoleka okukkiriza kwaffe nga tukola ebintu ‘mu bujjuvu’ nga mw’otwalidde n’ebyo bye tukola mu mbeera z’obulamu ezoogeddwako waggulu.—Okubikkulirwa 3:2.
18. Ebigambo ebiri mu Yokaana 13:17 bikwata bitya ku mbaga z’Abakristaayo n’okukuŋŋaana awamu okwesanyusaamu?
18 Oluvannyuma lwa Yesu okuteerawo abayigirizwa be ekyokulabirako ekirungi ng’anaaza ebigere byabwe, yagamba nti: “Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola.” (Yokaana 13:4-17) Mu kitundu gye tubeera kiyinza okuba si kya bulijjo era nga tekyetaagisa okunaaza ebigere by’omuntu omulala, gamba ng’omugenyi akukyalidde mu maka go. Kyokka, nga bwe tulabye mu kitundu kino, waliwo embeera endala ez’obulamu mwe tuyinza okulagira okukkiriza kwaffe nga tuyitira mu bikolwa ebyoleka okwagala, nga mw’otwalidde n’ebyo ebikwata ku kukuŋŋaana awamu okwesanyusaamu n’embaga ez’Ekikristaayo. Tusobola okwoleka okukkiriza kwaffe okuyitira mu bikolwa ebiraga okwagala ka tube nga tufumbiriganwa oba nga tuyitiddwa ku mbaga oba nga tukuŋŋaanye wamu ng’Abakristaayo okwesanyusaamu.
Wandizzeemu Otya?
Oyinza otya okwoleka okukkiriza kwo
• Ng’oteekateeka okukuŋŋaana awamu n’abalala okwesanyusaamu?
• Ng’oteekateeka omukolo gw’okufumbiriganwa oba ekijjulo ky’embaga?
• Ng’owa abalala oba ng’oweebwa ebirabo by’embaga?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Ne bw’oba oyise abantu batono kolera ku “magezi agava waggulu”