Maayi 27–Jjuuni 2
ABAGGALATIYA 1-3
Oluyimba 106 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Nnamunenya Maaso ku Maaso”: (Ddak. 10)
[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo ky’Abaggalatiya.]
Bag 2:11-13—Abakristaayo Abayudaaya bwe baagenda eri Peetero, okutya abantu kwamuleetera okweyawula ku Bakristaayo ab’Amawanga (w17.04 lup. 27 ¶16)
Bag 2:14—Pawulo yawabula Peetero (w13 3/15 lup. 5 ¶12)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Bag 2:20—Ekinunulo osaanidde kukitwala otya, era lwaki? (w14 9/15 lup. 16 ¶20-21)
Bag 3:1—Lwaki Abaggalatiya Pawulo yabayita “abatalina magezi”? (it-1-E lup. 880)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Bag 2:11-21 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 2)
Okuyigira Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5 oba obutawera) bhs lup. 202 ¶18-19 (th essomo 6)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Engeri Ffenna Gye Tuyinza Okwenyigira mu Kulabirira Ebifo We Tusinziza”: (Ddak. 15) Kitundu kya kukubirizibwa mukadde. Oluvannyuma lw’okulaba vidiyo erina omutwe Okulabirira Ebizimbe Byaffe Mwe Tusinziza era n’okuddamu ebibuuzo, buuza ebibuuzo ow’oluganda akiikirira ekibiina kyammwe ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kulabirira Ekizimbe eky’Obwakabaka. (Bwe muba temumulina mu kibiina kyammwe bwe, buuza ebibuuzo omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde. Bwe kiba nti ekibiina kyammwe kyokka kye kikuŋŋaanira mu Kizimbe ky’Obwakabaka, buuza ebibuuzo ow’oluganda alabirira omulimu gw’okuddaabiriza ekizimbe kyammwe.) Tugoberera bulungi enteekateeka ey’okuyonja n’okuddaabiriza ekizimbe kyaffe eky’Obwakabaka? Tufuba okwewala obubenje? Biki ebikoleddwa gye buvuddeko, era biki ebikyetaagisa okukolebwako? Omuntu bw’aba alina obumanyirivu mu kukola ekintu ekimu oba bw’aba nga yandyagadde okuyiga ng’ayambako abo abalina obumanyirivu, kiki ky’asaanidde okukola? Ffenna tuyinza tutya okwenyigira mu mulimu gw’okulabirira Ekizimbe ky’Obwakabaka, wadde nga tuli mu mbeera za njawulo?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 68
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 72 n’Okusaba