Maayi 20-26
2 ABAKKOLINSO 11-13
Oluyimba 3 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Pawulo Yalina ‘Eriggwa mu Mubiri’”: (Ddak. 10)
2Ko 12:7—Pawulo yalina ekizibu eky’amaanyi ekyalinga eriggwa (w08 6/15 lup. 3-4)
2Ko 12:8, 9—Pawulo yasaba Yakuwa aggyewo ekizibu ekyo, naye Yakuwa yasalawo obutakiggyawo (w07 1/1 lup. 17 ¶17-18)
2Ko 12:10—Pawulo yeesiga omwoyo gwa Yakuwa n’asobola okutuukiriza obuweereza bwe (w18.01 lup. 9 ¶8-9)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
2Ko 12:2-4—‘Eggulu ery’okusatu’ ne ‘olusuku lwa Katonda’ biyinza kuba nga bitegeeza ki? (w18.12 lup. 8 ¶10-12)
2Ko 13:12—Ebigambo “okunywegera okutukuvu” biyinza kuba nga bitegeeza ki? (it-2-E lup. 177)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) 2Ko 11:1-15 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 2)
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 4 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe akatabo Bye Tuyiga. (th essomo 4)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Osobola Okugumiikiriza Wadde ng’Olina ‘Eriggwa mu Mubiri’!”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, “Amaaso ga Bamuzibe Galizibuka.” Tegeeza abawuliriza nti ebitabo bya bamuzibe oba abatalaba bulungi weebiri mu nnimi 47 eza bamuzibe, era nti waliwo n’ebirala ebisobola okubayamba. Ababuulizi bwe baba baagala ebitabo ebyo basobola okwogera n’ow’oluganda akola ku bitabo. Kubiriza bonna okufaayo ku abo abatalaba bulungi abayinza okubeera mu kibiina oba mu kitundu mwe babuulira.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 67
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 78 n’Okusaba