OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Engeri Omulimu gw’Okudduukirira Abakoseddwa Obutyabaga gye Gwaganyulamu ab’Oluganda mu Caribbean
Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ne leero tulina enkizo ey’okwoleka okwagala eri Bakristaayo bannaffe ababa bakoseddwa obutyabaga. (Yok 13:34, 35) Mulabe vidiyo, Okwoleka Okwagala—Okudduukirira Abaakosebwa Obutyabaga ku Bizinga, eraga engeri ab’oluganda gye baayambamu baganda baabwe ababeera ku bizinga by’omu Caribbean, oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino:
Ab’oluganda abeera mu Caribbean baakosebwa batya omuyaga oguyitibwa Irma n’oguyitibwa Maria?
Yakuwa ayambye atya ab’oluganda ababeera mu Caribbean ng’ayitira mu Bakristaayo bannaabwe?
Okwagala ab’oluganda kwe baabalaga kwabakwatako kutya?
Baganda baffe ne bannyinaffe bameka abeenyigira mu kuyamba ab’oluganda ababeera mu Caribbean?
Ffenna tuyinza tutya okwenyigira mu mulimu gw’okuyamba baganda baffe ababa bakoseddwa obutyabaga?
Okwatiddwako otya bw’olabye engeri ekibiina kya Yakuwa gye kyolekamu okwagala?