EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOKAANA 18-19
Yesu Yawa Obujulirwa ku Mazima
Yesu yawa obujulirwa ku mazima agakwata ku bigendererwa bya Katonda
MU BIGAMBO: Yabuulira n’obunyiikivu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda
MU BIKOLWA: Engeri gye yatambuzaamu obulamu bwe yalaga nti ebiri mu kigambo kya Katonda bituufu
Naffe abayigirizwa ba Yesu tuwa obujulirwa ku mazima
MU BIGAMBO: Tubuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda ne ku Kristo, Kabaka w’Obwakabaka obwo wadde nga tusekererwa
MU BIKOLWA: Tukiraga mu bikolwa nti tuwagira obwakabaka bwa Yesu nga tetubaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, era nga tweyisa mu ngeri esanyusa Katonda